General Haji Abubaker Jeje Odongo Munnayuganda, munnamagye omukuukutivu era munnabyabufuzi. Mu Gwomukaaga 2021, yalondebwa ku Bwaminisita ow'ensonga z'ebweru.[1]

Jeje Odongo

Yaweerezaako nga Minisita ow'ensonga ez'omunda mu Kabinenti ya Uganda okuva mu 2016. Era yaweerezaako nga Minisita omubeezi owe byobutebenkevu/byobukuumi okuva mu Gwokubiri 2009 okutuusa mu Gwomukaaga 2016.[2]

Yalondebwa ku Bwaminisita w'ensonga z'omunda nga 6 Ogwomukaaga 2016.[3]

Ebyafaayo bye

kyusa

Jeje Odongo yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Amuria mu ttundutundu ly'e Teso, mu Buvanjuba bwa Uganda. Siniya ye yajisomera ku ssomero lya Ngora High School.[4] Yayingira amagye ga Uganda mu 1979. Y'omu ku balwanyi 27 abaatandika olutalo lw'ekiyeekera nga bali wamu ne Yoweri Museveni, abaalumba balakisi y'amagye eya Kabamba Military Barracks mu Gwokubiri 1981 okutandika olutalo lw'omunsiko olwa Ugandan Bush War, olutalo olwa wangaala okuva mu Gwokubiri 1981 okutuuka mu Gwokuna 1986. Jeje Odongo yakwatibwa oluvanyuma lw'olulumba olwasooka lwa NRA era yasibibwa mu kkomera ekkulu erya Luzira Maximum Security Prison.[5]

Mu 1994, Jeje Odongo yali omu ku baserikale ekkumi abaakiikirira eggye lya Uganda mu Constituent Assembly ababaga ssemateeka wa Uganda mu 1995. Mu 1996, yalondebwa okudda mu bigere bya Colonel Sserwanga Lwanga nga omuwi wa magezi u ssomo ly'amateeka mu ggye lya Uganda erya Uganda People's Defense Force (UPDF). Era ne mu 1996, yesimbawo ku bw'omubaka owa Disitulikiti y'e Amuria mu Paalamenti ya Uganda. Yawangula era nalondebwa ku bwa Minisita ow'ebyokwerinda amangu ddala nga yaakayingira Paalamenti.

Mu 1998, yalekulira ekifo kye mu Paalamenti n'ekifo mu Kabinenti n'alondebwa ng'omuduumizi w'amagye, ng'asikira Major General Mugisha Muntu. Yaweereza nga omuduumizi w'amagye okutuuka mu 2001, lwe yasikizibwa Major General James Kazini. Mu 2001, yalondebwa nga Minisita owa guno na guli, ekifo kye yalimu okutuuka mu 2004. Mu 2004, ng'atuuse ku ddala lya Lieutenant General, Jeje Odongo yalondebwa nga Minisita omubeezi ow'ebyobutonde.

Wakati wa 2001 ne 2006, yali omu ku basirikale ekkumi abakulu mu ggye lya UPDF abakiikirira amaggye ga Uganda mu Paalamenti y'a Uganda ey'omunaana.[6] Mu Gwokutaano 2008, Jeje Odongo yatikirwa Diguli mu Master of Arts mu nteesaganya nenkolagana ez'ebweru mu Yunivasite ya Nkumba.[7] Mu Gwokubiri nga 6, 2009, yakuzibwa ku bwa General era nalondebwa ku bwa Minisita omubeezi ow'ebyokwerinda.[8] Oluvanyuma lw'emyaka musanvu mu kifo ekyo, wabula yalondebwa nga Minisita ow'ensonga z'omunda ku lukalala lwa Kabinenti olwalangirirwa mu Gwomukaaga nga 6. 2016.[9]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa

 

Ebijulizo ebirala okuva ebweru

kyusa

Template:S-start Template:S-mil Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:End

  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/105545
  2. https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
  3. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2020-06-25. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/Ngora-High-marks-100-years-as-Teso-education-anchor/688342-2349696-4wa59fz/index.html
  5. https://web.archive.org/web/20140530024449/http://business.highbeam.com/3548/article-1G1-87056546/jeje-odongo-reveals-nra-roots
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
  8. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  9. https://www.scribd.com/document/314964607/New-Cabinet