Jennifer Ayoo Munnayuganda, Munnabyabufuzi era abaga amateeka mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu ng'aweereza ng'omubaka mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Kalaki District mu ttunduttundu lye Teso mu Buvanjuba bwa Uganda.[1][2] Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.(NRM)[3]

Emirimu egy'ebyobufuzi

kyusa

Ayoo yawangula mu kalulu k'abakwatira ekibina kya National Resistance Movement bendera nga yawangula Maria Gorretti Ajilo eyali omubaka mu Paalamenti owa Disitulikiti y'e Kaberamaido.[4] Oluvanyuma yalondebwa ku bwa mmemba mu Paalamenti mu kulonda kwa 2021.

Emirimu emiralas

kyusa

Ayoo yayambako mu kulwanyisa okusaasanya kw'ekilwadde kiluumiima mawuggwe nga yawaayo bbokisi z'eddagala ly'ekinansi erya Covidex n'ebyambalo ebikozesebwa okwetangira obulwadde (personal Protective Equipment(PPEs)) kw'otadde amazzi agafuuyirwa okutta obuwuka (Sanitizers), n'obukookolo. Okutona kwa Ayoo kwafunibwa abaali bakwasibwa obuvunaanyizibwa okulwanisa ekirwadde kino ba COVID-19 Task Force Committee aba Disitulikiti y'e Kalaki abaali bakulemberwa akiikirira Pulenzidenti (RDC), Paul Kalikwani[5]

Laba na bino

kyusa
  1. Olukalala lw'ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu
  2. Robinah Nabbanja
  3. Paalamenti ya Uganda
  4. National Unity Platform

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-22. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://trumpetnews.co.ug/list-who-was-elected-mp-in-uganda/
  3. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1530333
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/how-age-limit-vote-affected-mps-performance-in-polls-1934410
  5. https://redpepper.co.ug/2021/07/covid-19-fight-kalaki-woman-mp-ayoo-donates-covidex/