Jennifer Driwaru (yazaalibwa mu 1982) munnabyabufuzi era mukyala musuubuzi wa Uganda, akiikirira abakyala mu Disitulikiti y’e Maracha mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu ali mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM).

Driwaru Jennifer

Gyenvudde n’obuyigirize

kyusa

Driwaru yazaalibwa era n’akulira mu ggombolola Yivu, Omuluka Loinya ku kyaalo Aliro East eri Orijaba John omuduumizi wa poliisi eyawummula eyakolanga ng’omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti (DPC) ne Florence Drijaru omusuubuzi.

Mu 1995, Driwaru yamaliriza ebigezo bye ebya Primary Leaving Examinations (PLE) okuva mu Maracha Primary School, O level ye mu 1999 ne A level (yakola LEG/Fine art) mu 2001 okuva mu Maracha Secondary School. Mu 2004, Yakola dipulooma mu by'enjigiriza n'ebyemikono oluvannyuma ne yeegatta ku Kyambogo University gye yafunira diguli esooka mu kulunggamya n'okubuulirira abantu mu 2012, dipuloma ya postgraduate mu Social Work and Social Administration mu 2014 okutuuka mu 2015.

Emirimu

kyusa

Yakolako ng’omusomesa, asomesa olulimi Olungereza mu Maracha Secondary School olwo n’akola mu ddwaaliro lya St. Joseph’s Hospital Maracha/ Ovujo Hospital ng’omukozi ku nsonga z’abantu wakati wa 2022 ne 2013. Mu 2007, Jennifer era yakolagana ne Baylor Uganda e Entebbe ng'abudaabuda abantu ng’omukugu. Era yakola n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa endagamuntu mu ggwanga ekya (NIRA) ng’omukungu avunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu 2014 oluvannyuma ng’omukozi w’ensonga z’abantu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kununula abantu (IRC) wakati wa 2017 ne 2019.

Ebikolwa ebyeyoleka

kyusa

Driwaru yagula ambyulensi bbiri eza disitulikiti y’e Maracha okuva mu ssente ezigambibwa nti zaamuweebwa okugula emmotoka.

Laba ne

kyusa

Olukalala lw’abakiise mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu

Ebijulizzidwa

kyusa