Jennifer Musisi

Nnankulu w'ekitongole kya Kampala Capital City Authority

 

Jennifer Semakula-Musisi

Jennifer Semakula Musisi Munayuganda eyakuguka mu by'amateeka era akulira emirimu mu kitongole. Ye mukulembezze eyasooka mu Bloomberg Harvard City Leadership Initiative ku kifo ekiyitibwa Ash Center ekya Harvard Kennedy School mu Cambridge mu Massachusettsmu ggwanga lya Amerika. Yaweebwa ekifo kino mu Gwusooka ogwa 2019.[1][2]

Yakolako nga akulira eby'emirimu mu kitongole ekidukanya emirimu mu kibuga kya Kampala. Yaweebwa ekifo kino mu Gwokuna mu 2011 nga kyamukwasibwa Pulezidenti wa Uganda, oluvannyuma lw'okutondebwawo kw'ekitongole ekibya ekyadira abadukanya emirimu mu kibuga Kampala ekya Kampala City Council. Yayingira mu ofiisi eno nga 15 Ogwokuna mu 2011. Nga 27 Ogwokubiri u 2014, Pulezidenti wa Uganda yaddamu n'amuwa ekisanja kya myaka emirala esatu, okutandika okuva nga 14 Ogwokuna mu 2014.[3] Endagaano ye baddamu nebagizza bugya mu Gwokuna mu 2017, emutwaale okuva nga 15 Ogwokuna mu 2017, okutuuka nga 14 Ogwokuna mu 2020.[4] Wabula, nga 15 Ogwekumi mu 2018, yawaayo ebaluwa ye ey'okulekulira nga eyali akulira eby'emirimu mu KCCA, okutandika nga 15 Ogwekumineebiri mu 2018.[5]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Musisi yazaalibwa mu Kampala mu bitundu by'amasekati ga Uganda, mu myaka gya 1960. Yakola S4 ye ku Tororo Girls Schools mu Disitulikiti ye Tororo nga tanaba kugenda ku King's College Buddo erisinganibwa mu Disitulikiti ye Wakiso gyeyatuulira S6. Yatikirwa okuva ku Budo nga y'akulembedde ekibiina kye mu 1982. Yawerezaako nga omumyuka weyali akulira abayizi gyeyali asomera mu kaseera ako.[6][7]

Mu 1982, yayingira Yunivasite ye Makerere, yunivasite ya Uganda esinga okubeera ekadde,[8] ng'eno gyeyasomera amateeka. Yatikirwa ,mu 1986 ne Diguli mu By'amateeka. Omwaka ogwadirira, yafuna Dipulooma mu by'okwenyigira mu by'amateeka okuva kutendekero lya Law Development Centre, nga lino lisinganibwa mu Kampala, ekibuga kua Uganda ekikulu. Oluvannyuma, yafuna Diguli ey'okubiri mu by'okudukanya emirimu mu bitongole okuva ku Yunivasite ye Makerere. Alina empapula ezimukiriza okwenyigira mu by'okudukanya n'okukwanaganya emirimu, eby'emisolo n'amateeka okuva mu matendekero ag'enjawulo okulu erya Harvard Law School ne Yunivasite ya George Washington esinganibwa mu ggwanga lya Amerika.[6][9] Olukalala lw'empapula zeyafuna ne pulogulaamu z'okutendekebwa Musisi zeyafuna zeezino wansi.

Eby'okusoma n'ebiwandiiko bye ebirala

kyusa

Emirimu gye

kyusa

Musisi munamateeka, ng'era looya mu kkooti enkulu eya Uganda era adukanya eby'emirimu mu kaseera akagere, ng'ali obumannyirivu obw'amaanyi mu mateeka, okudukanya emirimu wamu n'ebyafaayo by'okubeera omukulembezze.[10] Yatendekebwa ku Yunivasite ye Makerere, mu Kampala wamu n'amatendekero amalala okuli Yunivasite ya George Wshington Yunivasite, Harvard Business School wamu ne Harvard Law School.[6]

Musisi yakolako nga omuwaabi wa gavumenti akaseera akatono mu ofiisi ya saabawaabi wa gavumenti, neyeeyongerayo nga omumyuka w'omuwandiisi kunsonga z'amateeka ku Yunivasite ye Makerere. Ebiseera ebyo yeeyali akulira eby'amateeka ku kitongole kya Uganda ekivunaanyizibwa ku by'okuwooza omusolo ekya (URA). Ekifo kino baakirinyisa okudda ku kamisona avunaanyizibwa ku by'amateeka n'ensonga z'akakiiko mu kitongole kyekimu, ekifo kyeyawerezaamu emyaka egyali giwera. Ng'ali wamu ne Allen Kagina, Musisi yeeyakulemberamu n'okuteeka munkola pulogulaamu y'okwebulula n'okuzimba mu kitongole kya Uganda Revenue Authority ekivunaanyizibwa ku by'okuwooza omusolo mu Uganda.[6][9]

Mu kitongole ekivunaanyizibwa mu by'okuwooza omusolo, Musisi yeeyingira mu kukola ebirina okugobererwa, okukola eby'amateeka n'okuyisa enkyuka kyuka mu birina okukolwa, wamu n'okukola ebirina okukolwa ku kakiiko akakulu akadukanya ekitongole. Yali musaale mu by'okukola enteeka teeka mu by'enfuna n'okubidukanya. Mu kaseera kano, yeeyalina obuvunaanyizibwa mu birina okugobererwa, okwefananyiriza eteeka ly'okutegeeza ebibeera bikoleddwa mu kampuni nga tebiri ku mulamwa, nga lino lyali lyakwongera kulinyisa buntu bulamu wamu n'okulwanyisa obuli bw'enguzi. Ebimu ku byeyasinga okutuukako lye ttaka lya yiika omunaana ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'okuwooza omusolo kwekyazimba ekitebe kyakyo ekikulu era kwekiri n'okutuuka kati. Yeeyali omukulembeeze era omu kubasaale mukulaba nga omutitimbe gw'ensiimbi guzuulibwa ogwali gubanjibwa gavumenti, nga muno mwalimu emisolo egiva mu kusima amafuna n'emirimu egy'efanannyiriza. Omulimu gwe ogw'okubeera Kamisona w'avunaanyizibwa ku by'amateeka n'ensonga z'akakiiko, byalimu okukolera awamu n'akulira ba Kamisona s also involved working closely with the Commissioner General n'abakulira abadukanya emirimu, akakiiko k'abakulira ekitongole wamu n'abakozi abawerako nga muno mwemwali ne minisitule za gavumenti, akakiiko akajulirwa akavunaanyzibwa ku by'emisolo wamu n'ekitongole ekiramuzi.[6]

Mu 2011, Pulezidenti wa Uganda yaddamu n'amuwa Musisi ekifo ky'okubeera akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'emirimu mu kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority. Yakulemberamu okutondebwawo n'okutekebwa munkola okukyuka kw'engeri ekibuga gyebaali bakidukanyaamy okuva ku gavumenti z'ebitundu,okutuuka mu kubeera ekifo ky'abkungu wansi wa Gavumenti eya wakayi.[6] IMu gwokusatu mu 2014, endagaano ye bagiza bugya, nga yali yakumala emyaka emirala esatu, ng'etambula okuva nga 15 Ogwokuna mu 2014, okutuuka nga 14 Ogwokuna mu 2017.[11]Endagaano ye yayongerezeebwaayo nebagizza bugya okutuuka mu Gwokuna mu 2017, okutambula okuva nga 15 mu Gwokuna mu 2017, okutuuka nga 14 Ogwokuna mu 2020.[4] Wabula nga 15 Ogwekumi mu 2018, yawaayo enpapula zze ez'okulekulira nga eyali akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga kya Kampala ekya KCCA, okutandika nga 15 Ogwekumineebiri mu 2018, nga agamba yali tafuna ssente zimala kudukanya kitongole ga muno mwe mwali n'okufuna obutakaanya okuva ku bavunaanyizibwa ku by'ekikugu mu kitongole kino ekivunaanyizibwa ku by'emirimu mu Kampala, banabyabufuzi, ekyayongera okukalubya ebyo ebyalina okutukibwaawo mu kukyusa kyusa n'okutambuza emirimu mu kibuga wamu n'ekitongole.[5]

Mu kwogerakwe nga asiibula, Musisi yawaayo ebyaapa 250 ebyali eby'ekitongole ekivunaanyzibwa ku by'okudukanya eby;emirimu mu Kampala (KCCA, nga ebirala 56 bikyakolebwaako, nga awamu bye byapa 306.[12]

By'atuseeko

kyusa

Mu mirimu gye ng'ali mu bitongole eby'enjawulo, Musisi akulembeddemu abantu ab'enjawulo era abwerako, nga asobodde okutuuka kubuwanguzi, nga obumu bwebuno wansi:[5]

  • Yazimba ekifo kivinaanyizibwa ku by'emirimu wamu n'okulakulanya eby'emikono ekiyitibwa Uganda Employment Service Bureau and Skills Development Centre
  • Yatandikawo pulogulaamu eyitibwa I-serve okuyamba okuyigiriza abeera baakatikirwa n'emirimu gy'emikono
  • Yatandikawo ekifo ky'eby'obulimu n'obulunzi ekya Kyanja Agricultural Resource Centre okulalulanya eby'obulimu n'obulunzi mu bibuga
  • Yatansikawo ekifo kya Kyanja Concrete Yard f okuyamba ku by'okuzimbisibwa nadala ebizimbe n'enguudo
  • Yaleeta ebikosezebwa eby'enjawulo mu maIwaliro nadala aga KCCA Health centers gamba nga okujanjaba ensigo, mu Kisenyi Health Centre, wamu n'ebifo 10 webajanjabira ammanyo
  • Yaziimba abakyala webazaalira mu ddwaliro lye Kawaala ne Kitebi
  • Yalinyisa omutindo gw'eddwaliro lye Kawempe ne Kirundu negabeera nga gasobola okubeeramu ebitanda 200
  • Yatandikawo ebibiina by'obwegasi 6 okuyamba abakozi ba KCCA nadala abavunaanyizibwa ku by'ekikugu, eby'obulamu, abasomesa, ba dereeva, abakwasaganya eby'amateeka wamu n'abakola mu kasasiro ne kazambi okutereka ssente
  • Yatandikawo ebikujuko ebibeera mu Kampala ebyali nga ebya buli mwaka
  • Yatandikawo akatale ka Kampala akaaliwo nga buli Ssande
  • Yazimba akatale k'e Wandegeya nga kagendamu abantu 2000
  • Yafuna n'okutandika akatale ka USAFI akalikp yiika 6 wamu n'ekizimbe kya Transport Terminal Complex
  • Yategeka olukiiko lwa Buvanjuba ne Masekati g'ebibuga bya Afrika olwali olw'okubikulakulanya
  • Yaddamu okutereeza eby'entambula by'abantu eby'egaali y'omuka
  • Yatandikawo olukiiko lw'abavunaanyizibwa ku by'amazzi n'eby'obuyonjo mu Kampala
  • Yatandikawo olukiiko mu Kampala oluvunaanyzibwa ku by'entambula y'abantu nadala abava ebweru
  • Yatandikawo ekibiina mu Kampala nga kiyamba mu kungaanya kasasiro ekiyitibwa Kampala Solid Waste Management Private Sector Platform
  • Yatandikawo ekyakutuuma enguuso kya Kampala amannya, nga kuno kwekwali okuwa amayumba enamba wamu ne pulojekiti y'okulaga ekifo wekisinganibwa
  • Yatandikawo bizineensi empya era ez'enjawulo mu Kampala omuli ez'okudukanya ettaka, okukwataganya ebiyinza okugwawo wamu n'okufa ku bakasitoma
  • Yatandikawo webasiimira abakozi ba KCCA olw'emirimu gyebabeera bakoze
  • Yategeka olukiiko lwokka olwali mu Afrika nga lulina entegeza y'ebibuga by'ebiseera by'omumaaso
  • Yatandikawo enteekateeka evunaanyizibwa ku by'enkyuka kyuka by'embeera y'obudde mu Kampala eyitibwa Kampala Climate Change Action Plan
  • Yali kalabalaba w'okutandikawo enteekateeka ya Kampala Climate-Smart Capital Investment Plan
  • Yatereza ekifo kya bavubuka ekisinganibwa e Kabalagala
  • Yazza kiraabu ya KCCA FC ey'omupiira, n'agifuula ey'amaanyi ku semazinga wa Afrika
  • Yazimba ekisaawe kya Phillip Omondi amaka ga kiraabu ya KCCA FC nekibeera ekisaawe kya FIFA kyeyakiri mu Uganda nga kyakiwempe
  • Yatandikawo amateeka g'omubuvanjuba bwa Afrika ku mateeka agavunaanyizibwa ku biyingizibwa mu ggwanga.

Obulamu bwe

kyusa

Musisi mukyala mufumbo era alina abaana.[13][14][15]

Okusiimibwa n'awaadi

kyusa

Musisi abadde omu kubawereddwa awaadi ku mutendera gw'ensi yonna, ebitundu wamu n'eggwanga. Ezimu ku awaadi n'eby'amusiimibwa byeyafuna kuliko:

  1. Yafuna Honorary Doctor of Philosophy in Humanities okuva kutendekero lya United Graduate College mu Amerika mu Gusooka mu 2016
  2. Yafuna IHS Alumni International Urban Professional Award okuva mu Rotterdam ekibuga ekisinganibwa mu ggwanga lya The Netherlands mu 2018
  3. Yafuna eya African Virtuous Women Award, nga kayungirizi w'enkyukakyuka mu Afrika mu 2018, nga bali mu kibuga kya Abuja
  4. Yaweebwa awaadi ya Grand Global Award ey'okubeera omwesimbu n'okuyitimuka mu bukulembezze okuva kutendekero lya Global Leadership Training mu Amerika mu 2016.
  5. Yawangula ey'ebitundu ey'ebitongole ebiwa emirimu ku lw'ebirala wamu n'okudukanya nga akulira eby'emirimu, awaadi y'okukalo lwa Afrika nga omukyala asinga okusikiriza mu bizineensi ne mu gavumenti mu 2015 ne 2016
  6. Yawangula ey'ebitundu ey'ebitongole ebiwa emirimu ku lw'ebirala wamu n'okudukanya nga akulira eby'emirimu, awaadi y'okukalo lwa Afrika nga omukyala asinga okusikiriza mu bizineensi ne mu gavumenti mu 2015 ne 2016
  7. Award y'okubeera omukulembezze, awaadi ya Afrika ey'okukulembera, n'omudaali ogumusaamu ekitiibwa mu bya bizineensi, nga yali mu kibuga kya New York mu 2018
  8. Yalondebwa okubeera omu ku bakulembezze 100 abaawukana ku banaabwe mu mawanga agali mu luse olumu n'eggwanga lya Bungereza abaali baawukana ku banaabwe mu 2014 ne 205
  9. Awaadi eyamuweebwa Paul Harris Awards mu 2013 ne 2014 okuva mu kibiina kya balotale aba lotale y'ensi yonna.
  10. Vocational Award eya 2012 ne 2013 olw'okwewaayo n'awereza okuva mu kiraabu ya lotale eya Sunrise Kampala
  11. Satifikeeti y'okumwebaza okuva mu ba Inspirational Development Uganda
  12. Awaadi y'okumusiima okuva ku Yunivasite ye Makerere aba 82nd Guild Uganda
  13. Awaadi ya Airtel Woman of Substance mu 2013 olw'okubeera omuwereza omulungi eri abantu ba Uganda
  14. Awaadi Inspirational Woman of Uganda mu 2013 ey'okubeera omukulembezze ow'eky'okulabirako
  15. Awaadi ya Philadelphia City Citation eyamukwasibwa Meeya wa Philadelphia, Michael A. Nutter mu Gwomunaana ne Ogwomwenda mu 2012
  16. Omudaali gw'ebyo by'afunye mu buwereza obw'enjawulo eri eggwanga, nga guno gwava ku somero lya King's College e Budo mu 2008
  17. Awaadi y'okubeeta omuyizi eyali asinze okukola obulungi kusomero lya King's College e Budo mu bigezo bya S4 mu 1982
  18. Awaadi y'eggwanga ey'okubeera omuyizi eyakwata eky'okuna mu baasinga okukola obulungi mu Uganda mu bigezo bya S6 mu 1984

Byeyeetabamu

kyusa
  1. Looya ku kkooti enkulu eya Uganda wamu ne kkoto endala ezigyekusaako
  2. Kmisona w'okukuba ebirayiro
  3. Omu kubali mu lukiiko olugatta banamateeka
  4. Omu kubeebitiibwa abali mu kibiina ekigata abakuba pulaani z'ebizimbe ekya Uganda Society of Architects
  5. Omu kubali kukakiiko k'ekitongole kya Cities that Work organization
  6. Mubaka wa Uganda mu kitongole ky'amawanga amagate ekiyamba okulakulanya ebiruubirirwa by'abantu ekya UN Sustainable Development Goal 11[16]

Obuwanguzi bweyatuukako ng'akola nga akulira ekitongole kya KCCA

kyusa

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. https://chimpreports.com/jennifer-musisi-joins-harvard-universitys-world-cities-program/
  2. https://chimpreports.com/jennifer-musisi-joins-harvard-universitys-world-cities-program/
  3. http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-reappoints-Musisi-until-2017/-/688334/2244384/-/egaq9u/-/index.html
  4. 4.0 4.1 https://web.archive.org/web/20181016082757/http://www.monitor.co.ug/News/National/Musisi-Museveni-Lukwago-Kamya--Kampala--KCCA/688334-3876718-ilw519/index.htmlb
  5. 5.0 5.1 5.2 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1487733/jennifer-musisi-resigns-kcca-executive-director
  6. 6.0 6.1 6.2 6.3 6.4 6.5 6.6 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1333817/pakasa-forum-meet-panelist-jennifer-musisi
  7. http://www.newvision.co.ug/news/630834-face-to-face-with-jennifer-musisi.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-22. Retrieved 2024-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. 9.0 9.1 9.2 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1014697/musisi-kampala-eur-director
  10. https://www.monitor.co.ug/News/National/Musisi-joins-Bloomberg-Harvard-City-Leadership-Initiative/688334-4950326-hlc0xp/index.html
  11. http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-reappoints-Musisi-until-2017/688334-2244384-10r630kz/index.html
  12. https://www.monitor.co.ug/News/National/Musisi-celebrates-KCCA-exit-speech/688334-4895138-k645djz/index.html
  13. http://www.newvision.co.ug/news/645805-the-wife-side-of-musisi.html
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-31. Retrieved 2024-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-31. Retrieved 2024-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. "Archive copy". Archived from the original on 2024-02-26. Retrieved 2024-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa