Jessica Rose Epel Alupo, asinga okumanyibwa nga Jessica Alupo, ye mumyuka wa Pulezidenti wa Uganda okuva nga 2021. Munnayuganda munnabyabufuzi, musomesa era munnamagye eyawummula. Emabegako, yaweerezaako nga minisita w'ebyenjigiriza wakati wa 2011 ne 2016. Yalondebwa ng'omubaka omukyala wa disitulikiti ye Katakwai.

Jessica Alupo
Jessica Alupo

Obuvo n'okusoma kyusa

Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Katakwi District nga 23 Ogwokutaano 1974. Yasomera ku Apuuton Katakwi Primary School. Oluvannyuma yagenda ku Kangole Girls School gye yakolera O-Level. A-Level yagisomera ku Ngora High School. Alupo yakolako ng'atunda ebyokulya ku ssomero lya sekendule bwe yali tannagenda kutendekebwa mu by'amagye ku Uganda Junior Staff College e Jinja. Alina diguli mu political science and linguistics, gye yafuna mu 1997 okuva ku ssettendekero ya Makerere . Diguli ye eyookubiri eyasooka mu international relations and diplomacy, yagifunira ku ssettendekero ya Makerere , mu 2008. Alina ne dipulooma ma public administration and management, gye yafuna mu 2008 okuva ku Uganda Management Institute (UMI). Diguli ye eyookubir mu public administration and management, yagifuna mu 2009, era okuva ku ssettendekero ya Makerere

Obumanyirivu kyusa

Okumala ebbanga eriwera, abadde akola mu bifo eby'enjawulo omuli:

  • Ng'omusomesa ku Katakwi High School mu tawuni y'e Katakwi, Katakwi disitulikiti, Bugwanjuba bwwa Uganda.Ng'omusomesa ku Uganda Urban Warfare Training School, Singo, Nakaseke disitulikiti, Masekkati ga Uganda
  • Ng'omukessi ku Chieftaincy of Military Intelligence, muKampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.

Mu 2001, yayingira ebyobufuzi nga yeesimabwo okukiikirira abakyala mu disitulikiti y'e Katakwi.Yeesimbirawo ki ttiketi y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM). Yawangula era n'addamu okulondebwa mu 2006. Mu 2009, yalondebwa nga minisita akola ku nsonga z'abavubuka n'abaana. Mu 2011, yaddamu okulondebwa okukiikirira konsituwensi ye mu Paalamenti. Mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu baminisita nga 27 Ogwokutaano 2011, yakuzibwa okuddaku kifo kya minisita ow'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo. Yaddira Namirembe Bitamazire, mu bigere eyaggyibwa ku bwa minisita.

Ebimikwatako ng'omuntu kyusa

Alupo mufumbo ne Innocent Tukashaba.Agambibwa okwagala okusoma, okukunga abantu mu kitundu, n'okutambula.[1][2]

Ebijuliziddwa kyusa

  1. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1008465/minister-jessica-alupo-introduces
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1007803/wedding-album