Jessica Eriyo (26 Ogwomunaana 1969 – 12 Ogwomunaana 2022) Munnayuganda, musomesa, munnabyabufuzi era akiikirira eggwanga mu ggwanga eddala. Yaweereza nga omumyuka w'omukulembeze w'akakiiko ka East African Community, (EAC), avunaanyizibwa kulinyisa sekita y'ebyenjigiriza. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 30 Ogwokuna 2012.

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Eriyo yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Adjumani nga 26 Ogwomunaana 1969. Yafuna Diguli esooka eya Bachelor of Arts in social science ne Dipuloma mu busomesa. Era yalina Satifikeeti bbiri; eya project planning and management ne satifiketi mu byuma bikalimagezi eya certificate in computer science. Yaweebwa Diguli ey'okubiri mu By'enkulakulana eya Master of Arts degree mu development studies okuva ku Ssentendekero wa Makerere.[1][2]

Emirimu gye egy'asooka

kyusa

Mu 1994, Eriyo yakola ng'omusomesa wa sekendule ku Kololo Senior Secondary School

 
Administration Block at Kololo Senior Secondary School, Kampala

mu Kololo, ekisangibwa mu Kampala, ekibuga kya Uganda era ekisinga obunene mu Ggwanga.[3] Wakati wa 1998 ne 1999, yali musomesa ku Our Lady Consolata Senior Secondary School. Yaweereza nga akwasaganya emiwndo gy'abantu mu Disitulikiti y'e Adjumani, okuva mu 1999 okutuusa mu 2001.

Emirimu gye egy'ebyobufuzi

kyusa

Yayingira mu by'obufuzi mu 2001, okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Paalamenti omukazi owa Disitulikiti y'e Adjumani. Yawangula era n'addamu nalondebwa mu 2006 ku kaadi yekibiina kya National Resistance Movement, era yaweereza mu Paalamenti okutuusa 2011. Mu kalulu k'eggwanga aka 2011, Yafiirwa ekifo kye eri Jesca Ababiku, ey'esimbawo ng'atalina kibiina.[4]

Okulonda kwa 2011
Okulonda kwa Uganda okwa bonna okwa 2011: Omubaka omukazi akiikirira Disitulikiti y'e Adjumani
Ekibiina Abeesimbyewo Obululu %
Talina kibiina Jesca Ababiku 17,037 51.38
National Resistance Movement Jesca Osuna Eriyo 14,231 42.92
Forum for Democratic Change Hellen Achan 1,145 3.45
Talina kibiina Mamawi Josephine Ujjeo 732 2.21

Eriyo yaweereza nga Minisita omubeezi ow'abutonde mu Kabinenti ya Uganda, okuva mu 2006 okutuusa 2011. Mu kukyusibwa ka Kabinenti nga 27 Ogwokutaano 2011,[5] yawandulwa nasikizibwa Flavia Munaaba.[5]

Mu Gwokuna 2012, Eriyo yalondebwa ku ky'omumyuka w'aomukulembeze w'ebyenkulakulana mu sekita y'ebyenjigiriza mu East African Community. Yadda mu bigere bya Beatrice Kiraso, Munnayuganda omulala eyaweereza mu kifo ekyo wakati w'oGwokuna 2006 n'Ogwokuna 2012.[1]

Ebimukwatako eby'omunda

kyusa

Eriyo yafiira mu Ddwaliro lya Kkookolo erya MD Anderson Cancer Center mu Houston, United States, gye yali afunira obujjanjabi bw'ekirwadde kya Kkookolo nga 12 Ogwomunaana 2022, ku myaka 52.[6]

Laba na bino

kyusa

 

Ebikulu

kyusa


Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. 1.0 1.1 http://www.eac.int/sg/index.php?option=com_content&view=article&id=72%3Adsg-productive-and-social-sectors&catid=30%3Adeputy-sgs&Itemid=76
  2. http://allafrica.com/stories/200607030604.html
  3. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1148030/nominees-await-mps-eur-approval-taking-offices
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-06. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 5.0 5.1 https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/former-environment-minister-jesca-eriyo-is-dead-3913078
kyusa