Jimmy Spire Ssentongo (yazaalibwa mu Gwomunaana nga 14, 1979) Munnayugand omukenkufu, omuyivu, omuwandiisi mu biwaandiiko ebifulumizibwa mu lujegere (columnist), omukubi n'omusiizi w'ebifaananyi bya bantu, muwandiisi w'ebitabo, era omukubi w'ebifaanayi ebinyonyola ku mbeera eliwo mu gwanga oba mu bulamu bwa bulijjo ayitibwa editorial cartoonist. Mukenkufu (Associate professor) w'essomampisa n'essoma ly'obuntu ku Yunivasitte ya Uganda Martyrs University (UMU).[1] Era asomesa eby'empisa n'enkola z'okunoonyereza ku [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere].[2][3]

Ebimukwatako n'emisomo kyusa

Dr. Ssentongo alina PhD mu mbeera z'abantu mu mawanga nemisomo gy'entabaganyabantu okuva mu Yunivasitte ya Humanistic Studies mu Holland gye ya wolereza nga 26 Ogwekumi 2015;[2] Master's mu by'empisa ne Public Management (Makerere University), Master mu Sayansi mu By'enjigiriza by'obuwangaazi (London South Bank University – Commonwealth Fellowship), a BA mu ssomabibuuzo ( Philosophy) (Urbaniana), era ne Dipulooma mu Ssomabibuuzo (Philosophy) n'emisomo gy'eddiini (Apostles of Jesus Philosophicum, Nairobi).[4] Abadde mu nkugaana za post-doctoral fellowships nga omugenyi omunoonyereza ku nkugaana y'emisomu gye ki Firika (Yunivasitte ya Cambridge) era omunoonyereza mu pulogulaamu ya African Humanities Program (AHP).[2][5][6] Spire agambibwa okufulumya cartoon we eyassokera ddala mu mwaka gwa 2005 mu Cartoon Theater, olupapula oludukanyizibwa omukubi wa cartoon Katz eyali akola ne Daily Monitor mu bissera ebyo.[7]

Emirimu kyusa

Ssentongo ye mutandisi wa Center for African Studies ku Yunivasitte ya Uganda Martyrs University (UMU). Nga ojeeko okuba nti ye mukulembeze w'ebyokunoonyereza n'okufulumya ebiwandiiko ku UMU, akola nga omusunsuzi wa UMU monograph series, Mtafiti Mwafrika (Omunoonyeereza omu Firika), n'ekitabo kya Uganda Martyrs University Book Series. Mu wandiisi w'ebiwandiiko ebifulumizibwa mu lujegere era [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Editorial_cartoonist omukubi w'ebifaanayi ebinyonyola ku mbeera eliwo mu gwanga oba mu bulamu bwa bulijjo ayitibwa editorial cartoonist] n'olupapula lw'amawulire olwa The Observer newspaper.[8] Byayagala mu kunoonyeereza bye by'empisa n'emisomo gy'obuntu, okusingira ddala ku pluralism (okubeera n'enkyuukakyuuka). Era ali nnyo mu misomo gy'okufugibwa n'okujyawo okufugibwa, okusingira ddala mu Afirika.[9][10]

Engule kyusa

Mu 2021, Spire yasiimibwa n'afuna engule ya Janzi Award ku lw'ebikolwa bwe mu kyebulungulo (field).[11] Yasiimbiwa ku lw'ebikolwa bwe mu kukuba cartoon, eky'amuweesa omutwe /ekitiibwa ky'omukubi wa Cartoon asinga ekya Outstanding Cartoonist. Era yafuna okusunsulibwa ku lw'obukugu bwe obw'enjawulo nga nonfiction writer ne cartoonist.[12][13]

Mu 2016, Spire yali ku lukalala lw'engule za Uganda National Journalism Awards 2016 ezikola ne The Observer newspaper mu kibinja eky'okusunsula Cartoon ekya Editorial Cartooning category omwo mwe yali mu kifo ekisooka nga first runner-up ne Chrisogon Atukwasize eyali akola n'olupapula lwa Daily Monitor.[14]

Dr. Spire afuna engule ya Civil Liberties Award mu 2023 olw'ebikolwa bye mu kuwolereza civil liberties mu Uganda. Engule yamuweebwa Chapter Four Uganda[<span title="This claim needs references to reliable sources. (November 2023)">citation needed</span>]

Nga 8 Ogwekuminoogumu 2023, Dr. Jimmy Spire yasiimibwa nga omulwaanirizi w'eddembe ly'abantu assukulumye ow'omwaka 2023 mu mikolo gya national symposium ejyategekebwa mu Jinja okujyaguza olunaku lw'abalwanirizi b'eddembe mu mawanga gonna olwa International Day of Human Rights Defenders.[15]

Nga 2 Ogwokuna mu mwaka gwa 2024, Dr. Spire yali omu ku bassattu abaali basunsundwa ekibiina kya the EU Delegation to Uganda ku lwengule ya the EU Human Rights Defenders Award 2024.[16]

Campaign z'okumikutu kyusa

 
Dr. Spire Ssentongo Receiving an Award during Human Rights Convention 2023

Dr. Ssentongo abadde nga akozesa ebisigge bye okwogera mu by'entabaganya n'ebyobufuzi mu Uganda okumala emyaaka egisoba mu kkumi. Atunuulira nnyo kunsonga nga enguzi, obukulembeze, era n'eddembe ly'abantu. Okuva mu ntandikwa ya 2023, akulembedde campaigns z'okumikuttu mu nsonga ezz'enjawulo nga #KampalaPotholeExhibition, eyatandika nga Balaza, Ogwokuna 17 omwo abantu mwebaweerereza endowooza zaabwe ku nsonga ezikwaatagana ku mbeera z'enguuddo mu Kampala ekibuga Kya Uganda ekikulu nga bakozesa ebifaananyi nga bataddeko ebitongole ebivunaanyizibwa.[17][18][19] #UgandaHealthExhibition, Nga omwoleso ogw'asooka, campaign eno era yakwaata ebilowoozo by'abantu wanno n'ebitongole ebivunaanyizibbwa ku mikuttu gya yintanenti egyenjawulo, okusingira ddala Twitter ekyaleetebwa okudamu okuva mu bitongole bya Gavumenti eby'enjawulo n'abakungu, omwaali Pulezidenti, eyafulumya obuwumbi 6  obwa sente za Uganda okukozesebwa mu kuziba ebituli ebyaali mu nguudo.[20][21][22][23] Ekyaddako ku kino kyali #UgandaSecurityExhibition eyali ey'okulabisa ebituli ebbiri mu nsengekera y'ebyokwerinda kwa Uganda.[24][25][26]

Mu biseera byonna ebya campaign zinno, Dr. Spire yali mwelarikirivu ku bulamu bwe nga amaliriza okufuna ebiwaandiko by'okutiisibwatiisibwa nga amaliriza okulabisa obulema bwa Gavumenti ku mikuttu gya yintanenti.[27]

Ebiwandiiko kyusa

Ebitabo kyusa

  •  Ssentongo, Jimmy Spire. inquiry into a withering heritage. ISBN 9783844399646
  • Ssentongo, Jimmy Spire. inquiry into a withering heritage. the relevance of traditional baganda approaches to sustainable environmental conservation. ISBN 9789970090068
  •  Ssentongo, Jimmy Spire. Quarantines: my ordeal in uganda's covid-19 isolation centres. ISBN 9789970733026
  •  Ssentongo, Jimmy Spire. What i saw when i died. Makerere University. ISBN 9783844399646

Ebitabo by'asusudde kyusa

  • Decolonization Pathways.[8]
  • Higher Education for African Challenges of the 21st Century.[8]

Obulamu bwe kyusa

Dr. Spire mufumbo eri Diana nga Lecturer, mu the School of Distance and Lifelong Learning, Dipaatimentti y'emisomo gy'abakulu n'emisomo gy'entababuvobwaawamu ku Yunivasitte y'e Makerere.[28] Bafumbilwa mu mwaka gwa 2012.[29][30]

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

  1. https://observer.ug/news/headlines/77999-dr-spire-threats-to-my-life-are-serious-but-i-won-t-quit
  2. 2.0 2.1 2.2 https://africacartoons.com/cartoonists/map/uganda/ssentongo-jimmy-spire-2/bio/
  3. https://www.cartooningforpeace.org/en/dessinateurs/spire/
  4. https://news.mak.ac.ug/2023/11/huripectalks-a-podcast-by-huripec/
  5. http://196.43.180.12/library/index.php?c=staff&p=staff&user_id=NjY3
  6. https://umu.ac.ug/university_staff/prof-jimmy-spire-ssentongo/
  7. https://softpower.ug/dr-spire-the-cartoonist-behind-online-exhibitions-dominating-uganda-social-media-space/
  8. 8.0 8.1 8.2 https://www.africanbookscollective.com/authors-editors/jimmy-spire-ssentongo Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  9. https://observer.ug/viewpoint/77798-spire-ssentongo-and-the-difficult-life-of-an-activist
  10. https://www.independent.co.ug/jimmy-spires-this-country-laughs-a-lot-comedy-goes-online/
  11. https://spotlight.mag.ug/2021/12/13/the-janzi-awards-winners/
  12. https://umu.ac.ug/prof-jimmy-spire-wins-award/
  13. http://mbu.ug/2021/12/13/janzi-awards-2021-full-list-of-winners/
  14. https://acme-ug.org/2016/04/08/uganda-national-journalism-awards-2016/
  15. https://nilepost.co.ug/2023/12/09/cartoonist-spire-ssentongo-wins-human-rights-defenders-award/#:~:text=Cartoonist%20and%20academician%20Dr.Jimmy,held%20in%20Jinja%20on%20Friday.
  16. https://www.eeas.europa.eu/delegations/uganda/eu-human-rights-defenders-award-2024-%E2%80%93-three-shortlisted-nominees-announced_en?s=127
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2023-12-04. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. https://www.watchdoguganda.com/news/20230423/152527/meet-dr-jimmy-spire-ssentongo-an-academician-behind-the-viral-social-media-campaign-kampalapotholeexhibition.html
  19. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/entertainment/-kampalapotholeexhibition--4207696
  20. https://researchfindsug.com/dr-diana-responds-to-ugandahealthexhibition-campaign-on-twitter/
  21. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/cartoonist-spire-starts-another-campaign-for-change-in-health-sector-4210326
  22. https://www.voanews.com/a/ugandan-cartoonist-highlights-poor-health-care-via-social-media/7070365.html
  23. https://www.independent.co.ug/museveni-orders-release-of-sh6-billion-for-kampala-roads/
  24. https://www.watchdoguganda.com/news/20230528/154331/dont-give-up-on-the-struggle-dr-besigye-asks-threatened-dr-spire-ssentongo.html
  25. https://www.radiosimba.ug/poliisi-emenye-ebizimbe-byonna-uhrc/
  26. https://www.aljazeera.com/features/2024/3/31/humour-is-powerful-a-ugandan-cartoonist-takes-on-a-repressive-government
  27. https://dailyexpress.co.ug/2023/05/24/cartoonist-jim-spire-fears-for-life-after-exposing-govt-rot-on-social-media/
  28. https://paradigmforjustice.org/about-us/board-member/nampijja-dianah/
  29. "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-24. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  30. "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-24. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)