Jinja Hospital
Eddwaaliro lya Jinja Regional Referral Hospital erimanyiddwa ennyo nga Jinja Hospital eddwaliro erisangibwa mu kibuga Jinja mu buvanjuba bwa Uganda . Ekifo kino ekigweramu ebitanda 600 lye ddwaaliro erisinga obunene mu buvanjuba bwa Uganda, wadde ng’abalwadde abalala bangi baweebwa ebitanda okusukka ku busobozi bwakyo obwakkirizibwa, nga bangi balina okwebaka wansi. [1]
Ekifo werisangibwa
kyusaEddwaaliro lino lisangibwa wakati mu kibuga Jinja, si wala nnyo okuva ku nsibuko y’omugga Kiira . Lino ddwaliro lya Regional Referral Hospital eritwala disitulikiti okuli Bugiri, Iganga, Jinja, Kaliro, Kamuli, Luuka, Mayuge, Namayingo , Kayunga n'ebitundu by'e Buikwe . [2] Eddwaaliro lino lisangibwa kiro mita 84 (52 mi) ebuvanjuba bw'eddwaliro ly'eggwanga erya Mulago . [3] Endagiriro y'eddwaliro ly'e Jinja Regional Referral Hospital eri: 00°25'52.0"mambuka, 33°12'18.0"buvanjuba (Bukiika ddyo:0.431111; Bukiika kkono:33.205000). [4]
Okulambika
kyusaEddwaliro ly’e Jinja lye limu ku malwaliro e kkumi na asatu (13) agatwala ebitundu ebinene mu Uganda. Era lye limu ku malwaliro ekkumi n’ettaano (15) agaalondebwa nga agokugezeserezaako abasawo abatendekebwa abayizi abatikkirwa mu masomero g’obusawo mu Uganda mwe bayinza okutendekebwa omwaka mulamba nga balabirirwa abawi b’amagezi n’abakugu mu by’obusawo n’okulongoosa ebiragiddwa. Mu kiseera kino eddwaaliro lino ligenda mu maaso n’okuddaabirizibwa okw’amaanyi nga kivudde ku nsimbi eziriwo okuva mu gavumenti okukulaakulanya kapito. [1]
Ekitongole ekirabirira abalwadde abayi
kyusaMu Gwomusanvu 2009, ekitongole ekipya eky’abalwadde abayi eky’ebitanda 20 kyatandikibwawo. Ensimbi z’okuzimba zaawebwayo: 1. Ekibiina kya Rotary club e Jinja mu Disitulikiti 9200 2. Ekibiina kya Rotary club ekya Eugene, Oregon, Amerika mu Disitulikiti 5110 3. Gavumenti ya Uganda ng'eyita mu minisitule y'ebyensimbi okuteekateeka n'enkulaakulana y'ebyenfuna .
Ebyuma ebiyimirizaawo obulamu mu kitongole ekirabirira abalwadde abayi byaweebwayo: 1. Assist International, ekitongole ky’obwannakyewa ekisangibwa mu California, Amerika ne 2. General Electric, ekitongole ky’Amerika ekikola ebyuma eby’obujjanjabi eby’omulembe n'ebyuma ebirala ebyesigikka ebikozesebwa.
Laba nabino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2020-11-01. Retrieved 2024-09-27.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20110927230021/http://newvision.co.ug/D/8/17/431634/Jinja_Hospital
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Mulago+Hospital,+Kampala/Jinja+Regional+Referral+Hospital,+Rotary+Rd,+Jinja/@0.3917402,32.6094004,10z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!1m5!1m1!1s0x177e7b9ad9e6532b:0x168afcf76f804f0a!2m2!1d33.2053335!2d0.4301143!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B025'52.0%22N+33%C2%B012'18.0%22E/@0.4311111,33.205,392m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.4311111!4d33.205