Joan Acom Alobo
Joan Acom Alobo munnabyabufuzi Omunnayuganda aweereza mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu . Ono ye Mubaka Omukyala ow'ekibuga Soroti ng'ali wansi w'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya ekya Forum for Democratic Change. Alobo akola nga omumyuka wa Ssentebe w’ekibiina kya Teso Parliamentary Group, era nga ye Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change Youth League.
Omulimu gwe mu by'obufuzi
kyusaAlobo bwe yeegatta ku Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu, yasuubiza okukwasaganya n’okukolagana n’ababaka ba Palamenti abaviira mu bibiina by’obufuzi eby’enjawulo olw’okugasa Uganda ng’alayira. Akola ku kakiiko akavunaanyizibwa ku Sayansi, Tekinologiya n’Obuyiiya mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu.
Okukwatibwa
kyusaAlobo yasoowagana ne Poliisi ye Soroti olw’okumulemesebwa okusisinkana abatunzi b’omu katale ku bizibu abasuubuzi bye boolekagana nabyo oluvannyuma lw’okukkirizibwa okuva mu Poliisi. Ono yakwatibwa wamu ne Anna Adeke ne bannabyabufuzi n'abalala basatu abalwanirira eby'obufuzi oluvannyuma lw’okusika omugwa ne poliisi mu Kasangati Town mu Disitulikiti y’e Wakiso nga bagezaako okutambula okugenda mu maka g’eyali yeesimbawo ku bwa pulezidenti, Kizza Besigye eyasibirwa mu makaage.