John Ruganda
John Ruganda (30 Ogwokutaano 1941 okutuuka nga 8 Ogwekkumineebiri 2007) ye muwandiisi w'emizannyo eyali asinga okuba omumanyifu mu Uganda. Ng'oggyeeko omulimu gwe ng'omuwandiisi w'emizannyo, Ruganda era yali pulofeesa mu University of North, South Africa, University of Nairobi, ne Makerere University.
Yazaalibwa mu Fort Portal n'afiira mu kibuga kya Uganda ekikulu ekya Kampala.
Emizannyo gya Ruganda "gyoleka embeera y'eby'obufuzi n'embeerabantu mu Buvanjuba bwa Afirika oluvannyuma lw'okufuna obwetwaze". Yatwalibwa okuba omuntu eyakola ennyo mu kutumbula eby'okuzannya katemba mu Buvanjuba bwa Afirika. The Burdens (1972) ne The Floods (1980) bifuuse ekitundu ku bisomesebwa mu masomo ga litulica.
Ebiwandiiko
kyusaEmizannyo
kyusa- The Burdens, Kampala, Uganda, National Theatre, Janwali 1970
- Black Mamba, Kampala, 1972
- The Good Woman of Setzuan, by Bertolt Brecht, byvvuunulwa mu Swahili by Ruganda, Nairobi, Nairobi University Players, November 1978
- The Floods, Nairobi, French Cultural Centre, 1 Ogwokusatu 1979
- Music without Tears, Nairobi, Nairobi University Players, Ogwokusatu 1982
- Echoes of Silence, Nairobi, 1985
- Shreds of Tenderness
Ttivvi
kyusa- he Secret of the Season, screenplay by Ruganda, Voice of Kenya, Ogwokusatu 1973
- The Floods, omuzannyo gw'oku lutimbe ogwawandiikibwa Ruganda, Voice of Kenya, Ogwokuna 1973
- The Illegitimate, omuzannyo gw'oku lutimbe ogwawandiikibwa Ruganda, Voice of Kenya, Ogwomunaana 1982
Eby'okusoma ebirala
kyusa- Horn, "Uhuru to Amin: The Golden Decade of Theatre in Uganda," Literary Half-Yearly, 19, no. 1 (1978): 22-49
- Peter Nazareth, "Africa under Neocolonialism: New East African Writing," Busara, 6, No. 1 (1974): 19-32
- Mineke Schipper, Theatre and Society in Africa (Johannesburg: Ravan Press, 1982).