Jovah Kamateeka
Jovah Kamateeka amanyikiddwa nga Kamateeka Jovah Karamagi (yazaalibwa nga 6 Ogwokusatu mu mwaka gwa 1954) Munnayuganda ow'ebyobufuzi era administrator.[1][2] Ye mukyaala akiikirira Disitulikitti y'e Mitooma era nga ali mu kibiina eky'ebyobufuzi ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement] .[1][3][2][4] Mu Kalulu ka 2021-2026, Jovah yawangulwa mu kalulu eri Juliet Agasha Bashisha nga kati ye mukyaala akiikirira Disitulikitti y'e Mitooma wansi w'ekibiina eky'ebyobufuzi ekya NRM.[5][6]
Ebikwaata ku misomo
kyusaMu mwaka gwa 1966, yamaliriza ebigezo bye ebya Primary Leaving Examination okuva mu Mitooma Boys Primary School oluvanyuma yegatta ku Bwerayangi Girls Senior Secondary School okufuna Uganda Certificate of Education mu mwaka gwa 1970.[1] Mu mwaka gwa 1972, yamaliriza emisomo gye egya Uganda Advanced Certificate of Education okuva mu Gayaza High School.[1]Yegatta ku Yunivasitte y' e Makerere okufuna BA/ DIP ED (1976) era n'akomawo mu mwaka gwa 1982 okusoma Master of Arts.[1] Mu mwaka gwa 1985, yaweebwa Certificate in Law (Administrative Officers Law Course) okuva mu Law Development Centre, Kampala.[1] Oluvanyuma yegatta ku Uganda Management Institute mu mwaka gwa 1993 okufuna Dipulooma mu Public Administration & Management.[1] Mu mwaka gwa 1994, yegatta ku RIPA okufuna Certificate in Project Planning.[1] Yewandiisa okusoma Master of Business Administration ku ESAMI era n'agimaliriza mu mwaka gwa 2009.[1] Mu mwaka gwa 2010, Jovah yaweebwa Masters of Management Studies okuva ku ttendekero lya Uganda Management Institute.[1]
Emirimu gye nga ta n'egatta mu by'obufuzi
kyusaWakati wa 1982 ne 1988, yaweereza ku Yafiisi ya Pulezidenti nga omumyuuka w'omuwandiisi. Oluvanyuma yegatta ku Minisitule y'amazzi n'amasanyalazee wakati wa 1989-1990 era yakola nga omumyuuka w'omuwandiisi omukulu. Jovah era yaweereza nga Senior Assistant Secretary ku Constitutional Commission (1990-1993), era ne Minisitule ya Local Gavumentti (1993 – 1997). Yakolera ku State House NGA Principal Assistant Secretary okuva mu 1997 okutuusa 1999. Okuva 2002 okutuusa 2010, ye yali Under Secretary ku Uganda Law Reform Commission.[1]
Eby'obufuzi
kyusaOkuva mu mwaka gwa 2011 okutuusa 2021, yaweereza nga Mmemba wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda n'ekumi.
Yaweereza ku Professional Body nga mmemba omujjuvu ku African Association of Public Admin & Management and Common Wealth ASS for Public Admin & Management.
Ye yali ssentebbe ku k'akakiiko keby'eddembe ly'obuntu.[1][7] Era aweereza nga mmemba w'akakiiko ka bizinensi n'akakiiko k'ebyembalirira, Okuteekateeka n'enkulaakulana mu by'enfuna.[1] Mmemba w'akakiiko k'ensonga za Paalamenti ez'amatteka.[8][9]
Obulamu bwe
kyusaNamwandu.[1][2] Asoma n'okusisinkana abantu mu bissera bye eby'eddembe.[1] Jovah alina nnyo okwagala mu kusoma Baibuli kyakolera mu Mitooma Women DEV ASS, Okuteekateeka okusabira ewaka, n'okuweerera ba mu lekwa.[1] Era mmemba wa Yunivasitte council Awist, mmemba wa diocesan council mu bugwanjuba bw'Ankole era ye ssentebbe wa board y'ebyobulamu mu bugwanjuba.[1]
Laba ne bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 1.11 1.12 1.13 1.14 1.15 1.16 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=353
- ↑ 2.0 2.1 2.2 "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-03. Retrieved 2024-04-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.pmldaily.com/tag/ms-jovah-kamateeka
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/gen-otafiire-supporters-injured-in-campaign-fight-1637926
- ↑ https://www.independent.co.ug/tag/jovah-kamateeka/
- ↑ http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=412
- ↑ https://chimpreports.com/tag/jovah-kamateeka/
- ↑ https://theinsider.ug/index.php/2021/03/18/parliament-passes-the-probate-resealing-bill-2019-aimed-at-easing-administering-of-property-across-borders/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/94909
Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipediya
kyusa- Website ya Paalamenti ya Uganda
- Hon Kamateeka Jovah Woman Mp Mitooma 2021 ku Facebook
- jovah kamateeka ku Linkedin
- http://parliamentwatch.ug/wp-content/uploads/2020/07/Response-to-Parliament-on-a-Question-Raised-by-Hon.-Kamateeka-Jovah-on-Verification-and-Enrolment-of-New-Eligible-Beneficiaries-under-the-Social-Assistance-Grants-for-Empowerment-SAGE0001.pdf