Jovrine Kyomukama Kaliisa (yazzalibwa nga 17 Ogwomunaana 1975) Munnayuganda ow'ebyobufuzi era mukyala munnabizinensi.[1][2] Ye mukyaala akiikirira disitulikitti ye Ibanda era ali mu kibiina eky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement .[1][3][2][4] Mu kulonda kwa 2021-2026, ye yali omukyaala ey'esimbawo okukiikirira Disitulikitti ye Ibanda wansi w'ekibiina eky'ebyobufuzi ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement], naye teyawangula kalulu.[5]

Emisomo kyusa

Yasomera ku St Helens Primary School, Nyamitanga ebigezo ebikomekeleza Pulayimale ebya Primary Leaving Examinations mu 1989 era oluvanyuma ne yegatta ku Lugogo Hall Centre okusoma Uganda Certificate Of Education mu 2011.[1] Alina Uganda Advanced Certificate of Education okuva mu Buganda College, Wakiso mu 2013.[1][6]

Emirimu nga tanegatta mu by'obufuzi kyusa

Okuva mu mwaka gwa 2005 okutuusa kati, abadde nga akola nga Dayirekita wa Crane Coaches Ltd. Wakati wa 1994 ne 1997, yakola nga omuweereza ku Ladiiyo ku Radio Uganda.[1] Mu mwaka gwa 1998–2002, yaweereza nga Manager w'ebyokutunda mu kitongole kya Sales International Uganda.[1] Okuva mu 2002 okutuusa 2005, yali akolera mu kitongole kya UGAWood Construction Company nga Manager.[1][6]

Eby'obufuzi kyusa

Okuva mu mwaka gwa 2016 okutuusa na kati, Jovrine yaweereza nga Mmemba wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda.[1] Bwe yali mu Paalamenti ya Uganda, yaweereza ku kakiiko ka HIV/AIDS & n'endwadde ezizifaanana era ne ku kakiiko ka Public Service and Local Government.[1][6] Mu mwaka gwa 2020, yakwaatibwa era n'asibibwa ku Police ya Ibanda Police ku lw'egulo lwo lw'okuna olw'okumenya endagiriro za COVID-19, nga agaba sente n'okunoonya akalulu mu saawa z'okutambula zaweddeko dda.[7] Mu Paalamenti ey'ekumi, yali mmemba w'ekibiina kya Uganda Women Parliamentary Association.[8]

Obulamu bwe kyusa

Mufumbo.[2] Mu biseera bye eby'eddembe asoma era nawuga era alina okwagala okungi mu kukola emirimu jy'entababuvubwawama (community).[1]

Laba ne bino kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=107
  2. 2.0 2.1 2.2 "Archive copy". Archived from the original on 2021-07-31. Retrieved 2024-04-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.mpscanug.com/profile/kaliisa-jovrine/
  4. https://chimpreports.com/mps-warned-off-operation-wealth-creation/
  5. http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=97
  6. 6.0 6.1 6.2 http://ibandacommunity.com/aspirant.php?profile=97
  7. https://trumpetnews.co.ug/breaking-ibanda-woman-mp-kaliisa-arrested-hours-to-nrm-primaries/
  8. https://web.archive.org/web/20210418030533/http://uwopa.or.ug/content/members-uwopa-10th-parliament

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya kyusa