Joyce Bagala

munnamawulire wa Uganda

Joyce Bagala munnamawulire omunnayuganda era munnabyabufuzi. Ye yali akulira eby'amawulire ku Next Media, NBS terefayina.[1] Mu kulonda kwa bonna okwa 2021, ku tiketi ya National Unity Platform [2], yalondebwa ng'omubaka omukyala owa Mityana Disitulikiti[3].

Bagala Joyce Ntwatwa

Obulamu bwe obwasooka n'okusoma.

kyusa

Bagala Muganda.[4] Ava mu maka g'omugenzi Petero Ntwatwa, eyaweerezaako ng'omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda mu myaka gya 1960, Jjajjaawe azaala nnyina ye Levulandi William Ssewanyana Katula eyaliko ssaabawandiisi w'obudyankoni bw'e Mityana.[5] Yafiibwako bazadde be bombi ku myaka emiko n'akuzima maama we omuto, Josephine Esther Nansikombi.[6]

Yasomera ku Mityana Junior School, Gombe SS ne UMCAT School of Journalism and Mass Communication.[7][8]Oluvannyuma yeegatta ku Ssettendekero ya Makerere okusoma diguli mu by'amawulire.[9]

Olugendo lwe mu by'amawulire.

kyusa

Bagala yeegatta ku NBS mu 2016 era abadde akulira okusaka amawulire g'Oluganda Amasengejje ag'essaawa 1:00 ey'olweggylo.[10] Yakolako ku Radio One Uganda. Bagala yakolako ng'omusomi w'amawulire g'Olungereza ku Beat FM, Buddu FM ne Sanyu FM. Yatandikira okusaka amawulire g'Oluganda ku Sanyu FM.[11] Mu 2019, Bagala y'omu ku bakulu abaagobwa ku mulumu ku biragiro bya Uganda Communications Commission olw'okuweereza obutereevu okwekalakaasa kw'eyeegwanyiza obwa pulezidenti era omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi era amanyiddwanga nga Bobi Wine. Uganda Communications Commission yawummuza abakulu bonna ku mikutu gy'amawulire egy'enjawulo olwokuweereza kuno.[12] Yatiisatiisa okuwaaba omukutu olw'okugobwa mu bukyamu, okutalina kyakuvaamu.[13]

Mu 2019, yagambiwa okukomya olugendo lwe olwa Radio one olw'emyaka ekkumi n'ogumu okufuna obudde okukomawo mu kalulu akabindabinda aka 2021 n'omubaka omukyala aliko owa Mityana Disitulikiti, Judith Nabakooba. Bagala, wabula yasigaza omulimu gwe ku terefayina ya NBS.[14]

Ebyobufuzi bye.

kyusa

Mu 2019, yakoona ku by'okuwummula okuva mu mawulire ayingire ebyobufuzi. Wabula, yavuganya mu kalulu ka bonna aka 2016 n'awangulwa Judith Nabakooba eyali ku tikiti ya NRM ku ky'obubaka omukyala owa Mityana Disitulikiti. Emyaka esatu oluvannyuma era yeetaba mu kuvuganya ne kizibwe we Namuleme Esther Ntwatwa era bonna ne bawangulwa Nabakooba.[15]

Obulamu obulala.

kyusa

Bagala mufumbo n'abaana babiri.[16]

Laba ne

kyusa
kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://nilepost.co.ug/2019/05/06/joyce-bagala-threatens-to-sue-nbs-tv-over-dismissal/
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/National_Unity_Platform
  3. https://www.pmldaily.com/news/2021/01/four-journalists-set-to-grace-the-11th-parliament.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-27. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.spyuganda.com/joyce-bagala-quits-too-demanding-radio-one-job-to-go-bare-nuckles-with-nabakooba-for-mityana-mp-race/
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-27. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.newvision.co.ug/
  8. https://www.newvision.co.ug/news/1516410/women-media
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-27. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://nilepost.co.ug/2019/05/06/joyce-bagala-threatens-to-sue-nbs-tv-over-dismissal/
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-27. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://observer.ug/news/headlines/60570-ucc-suspends-3-nbs-tv-staff-over-bobi-wine-protests
  13. https://nilepost.co.ug/2019/05/06/joyce-bagala-threatens-to-sue-nbs-tv-over-dismissal/
  14. https://www.spyuganda.com/joyce-bagala-quits-too-demanding-radio-one-job-to-go-bare-nuckles-with-nabakooba-for-mityana-mp-race/
  15. https://newslexpoint.com/joyce-bagala-vows-join-politics/
  16. https://nilepost.co.ug/2019/07/27/why-couples-should-test-for-sickle-cell-before-marriage-joyce-bagalas-story/