Judith Nabakooba
BBNabakooba Nalule Judith mukyala munnayuganda nga yazaalibwa nga ennaku z'omwezi 28 mukulukusa bitungotungo mu mwaka gwa 1977. Yaliko omwogezi w'ekitongole kya poliisi ya Uganda. Mu mwaka 2016 yalondebwa okubeera omubaka omukyala akiikirira ebbendobendo lya Mityana mu lukiiko lwa uganda olukulu. Mu kiseera kino y'akulira akakiiko akalondoola obutebenkevu ko n'ensonga ez'omunda mu ggwanga. Nga ali ku kaadi yekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM.r 1977
OBUYIGIRIZE
kyusaJudith Nabakooba yasomera mu masomero gano wammanga;
Yasomera Ndejje senior secondary school, nga eno bye yasomera okuva Ku kibiina ekisooka okutuukira ddala Ku kyomukaaga. Nga yatuula ebigezo ebyaka malirizo ebyekibiina ekyokuna my mwaka 1994 ko nebyokyomukaaga mu mwaka 1997. Olwo neyeegatta Ku ssetendekero was makerere nga eno gyeyabangulwa mu kuweereza Ku mpewo byeyafunamu diigiri mu mwaka gwa 2002. Ate oluvannyuma yeyongerayo nemisomo mu byobukulembeze nga Gino yagifunamu diploma mu ttendekero eriyitibwa chartered management institute erisasangibwa e Bungereza.
Mu 2012 yaddayo e makerere Ku ssetendekero nabanguka era nafuna diguli eyokubiri mu bye ddembe lyobuntu era nayongera okusoma ebyenzirukanya yebyemirimu nga muno yafunamu dipulooma nga eno yagisomera Ku ttendekero lya Uganda management institute mwaka 2013.
ENKOLA YEMIRIMO GYE
Wakati wemyaka 2004 ne 2015 Nabakooba yali akolera mu kitongole kya poliisi ya Uganda gye yawerereza mu bifo ebyobuvunaanyizibwa ebyenjawulo, gamba nga; okubeera omwogezi wekitongole kya poliisi ya Uganda, yaweerezako nga omuwandiisi wekibiina kya basirikale ba poliisi ekyokwekulakulanya ekimanyiddwa nga"Exodus Sacco ". Erabyweerezako nga omumyuka womukulu wa poliisi evunanyizibwa Ku byobufuzi mu mwaka 2014. Noluvannyuma naalekulira emirimu gyobusirikale bwa poliisi mu mwaka 2015 mu mwezi gwa ssebaaseka.
Mu kulonda kwa bonna okwategekebwa akakiiko kebyokulonda mu Uganda mu mwaka 2016, Nabakooba yesimbawo kunkifo kyomubaka omukyala owebbendobendo lya Mityana ara nakiwangula. Era nga yasimbibwawo ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM.
Nabakooba asanze okusoomoozebwa kungi, gamba nga; okuwakanyizibwa oboludda oluwabula gavumenti Ku nsonga Ku bbago lyokuggya ekkomo Ku myaka gyomukulembeze weggwanga ssako nokuwakanyizibwa banne Ku nsonga za alipoota ekwata Ku butabanguko obwali e Kaseese bee yalwawo okufulumizibwa.
In 2012 she acquired a Masters Rights from Makerere .[3]
In the 2016 general elections,Nabakooba was elected as Mityana District woman representative on the NRM party ticket.[4] During her tenure, she has faced criticism and threats over her position regarding the parliamentary Age-Limit bill [5] She has also faced criticism over the delayed Kasese Report.[6]