Judith Tukahirwa Tumusiime (née Judith Tukahirwa) Munayuganda, mukugu mu ey'ebuuzibwako ku nsonga z'e by'obutonde bw'ensi, amazzi n'obuyonjo, era yali management executive. Ye yali Omumyuka w'akulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA). yalondebwa mu kifo ekyo mu Gwekkuminebiri 2012.[1] Yawummula nga 31 Ogwekkumi 2016, bweyatandiika okutaataganyizibwa okuva mu bannabyabufuzi n'ebitongole ebikuuma ddembe.[2]

Obuto bwe n'emisomo gye kyusa

Yazaalibwa mu Uganda mu myaka gya 1970. Tukahirwa yasomera ku Shimoni Primary School mu kibuga wakati ne Trinity College Nabbingo mu misomo gye egya O ne A-Levo. Yasomera ku Makerere Yunivasite, gye yatikkirwa Diguli eya Bachelor of Science Education in biology and chemistry. Oluvanyuma y'afuna Master of Science mu butonde bw'ensi n'ebyobugagga eby'ensibo nga nayo yagigya Makerere. Diguli mu by'obuyonjo n'okukwasaganya kazambi eya doctorate in urban sanitation and solid waste management yagifunira ku Wageningen University mu Netherlands. Essomo ekkulu eryali mu Diguli ye ey'okusatu ly'ali ku mulimu gw'ebitongole bya Gavumenti mu kuyonja ebibuga n'okukungaanya kazaambi mu East Africa.[3] Oluvanyuma yafuna okutendekebwa okuva mu John F. Kennedy School of Government ku Harvard University.[4][5]

Emirimu gye kyusa

Mu 1998, yatandiika okusomesa amasomo ga biology ne chemistry ku St. Mary's College Kisubi. Oluvanyuma lw'emisomo gye, yaweereza ng'akola eby'okunoonyereza ku pulojekiti y'ebyobutonde bwensi ku Nnyanja Nnalubaale mu Minisitule y'eby'ettaka n'amayumba nga yali evugirirwa Bbanka y'ensi yonna. Okutuuka okwetaba n'aba KCCA yali apangisiddwa ng'eyebuuzibwako ku nsonga z'okukwasaganya kazambi. Oluvanyuma y'alondebwa nga Dayilekita w'obujajjabi bw'abantu n'obutondebwensi. Mu Gwekkuminebiri 2012, Pulezidenti Yoweri Museveni yamulonda nga akulira ekitongole kya KCCA. Mu Gwekkumi 2016, yawummula okuva mu kifo ekyo.[6]

Obuvunaanyizibwa obulala kyusa

Mufumbo eri Edmund Tumusiime omukugu mu by'okuzimba era balina abaana bana. Tukahirwa era aweereza nga mmemba ku Kakiiko k'aba Dayilekita b'ekitongole ekikwasaganya okusengejja amazzi n'okugabunyisa ekya National Water and Sewerage Corporation, ekitongole kya Uganda ekisinga obunene.

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwamu kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya kyusa