Judy Rugasira Kyanda

Musubuuzi Munnayuganda, era Omusubuzi we Ttaka

Judy Rugasira Kyanda yazaalibwa nga 31 Ogwomunaana, 1972. Mukyala munayuganda munnabizineesi, omutandisi w'emirimu era omukugu mu by'okugula n'okutunda ettaka n'ebizimbe era ng'ayavunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu mu kitongole ekya Knight Frank Uganda Limited kati okumala emyaka 25, ekitongole kyebuzibwako kunsonga z'okugula n'okuutunda ettaka n'ebizimbe.

Ebyafaayo n'okusoma

kyusa

Judy yazaalibwa Henry ne Martha Rugasira, kitaawe yali musajja musuubuzi, omukugu eyebuzibwako ku by'obukulembeze era omutandisi w'emirimu nga ekiseera kimu ye yekka eyalina ekkolero ly'ennoni ezikozesebwa muUganda era nga nnyina yali akola mu Uganda Development Bank.

Judy yatandika okusomakwe ku Buganda Road Primary School for Primary 1 okutuuka mu kibiina ekya 6 nga tagenda mu United Kingdom (UK). Bwe yali mu Bungereza, yagenda ku ssomero lya Ellerslie School, Malvern College oluvannyuma neyeegatta ku University of Reading gye yafuna Bsc. (Hons) mu Land Management.[1] Oluvannyuma yafuna diguli mu International Real Estate okuva mu yunivasite y'emu.[1]

Ng'amaze diguli ye esooka, Judy yegatta ku Mason, Owen and partners, ekitongole eky'aba ppunta abakafu mu Mayfair London. Mu 1995, yakomawo e Uganda n'akola n'omukozi we ebiseera ebyo Steven Bamwanga, omukugu mu byenfuna by'ettaka eyali mukwano gwa kitaawe.[1] Oluvannyuma lw'emyaaka ena ng'akolera mu Uganda, yaddayo okusoma diguli ye ey'okubiri ku University of Reading gyeyayiggibwa ekitongole ekya Knight Frank okubeera ng'ay'avunaanyizibwa ku nkola yakyo ey'emirimu mu Uganda ekifo ky'abaddemu okuva olwo.

Judy ye yali omumyuka w'omukulembeze w'ekibiina kya Association Of Real Estates Agents(AREA) Uganda, wakati wa 2012 ne 2014, ye yali Senkulu wʼekibiina ekya Africa Real Estates Society (AFRES) era yali memba wa Enterprise Group Uganda.

Mu 2017, Judy yalondebwa minisita ow'ebyettaka, amayumba n'enkulaakulana ey'ebibuga Betty Among ng'omukulembeze w'akakiiko k'abappunta akafuzi.

Obulamu bwe

kyusa

Mufumbo eri Leopold Kyanda, omukulu mu magye aga Uganda People's Defence Force (UPDF).

Ebyawandiikibwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0