Julia Kibubura ye mukyala eyasookera ddala okwesimbawo mu kifo ky'obufuzi ekyobukulembeze nga Chief we Gombolola mu Bugwanjuba bwa Uganda.[1][2][3][4] Abanakyaalo bamuyita nga Omwami ekivunuulizibwa nga Sir mu lungereza.[4] Harry St. George Galt eyali sub commissioner avunaanyizibwa ku bintu byomu bugwanjuba mu mwakaa gwa 1905 yamulonda nga chief we Gombolola . Mu kitiibwa ky'omwoyo gwe, Kibubura Girls' Secondary school ly'abulibwa mu linnya lye kubanga yali omulwaanyi w'okusoma kw'abanji, okusingila ddala ow'abawala.[4][3] Ye yali diviner wa Kabaka we Ankole.[1]

Obuto bwe

kyusa

Elinnya lye elya Kibubura mu lulimi Orunyakitara lye ‘okububura’ elivunuzibwa nga ‘okuwuluguma kw'empologoma’.[5]

Kibubura yazaalibwa mu Ibanda eri omusawo w'ekinansi owa Omugabe Mutabuka. Yakakibwa okw'ekweeka nga taata we, omulaguzi ow'amaanyi n'omusajja w'eddagala weyekobaana ne Mukwenda eyagalibwa mu biseera by'okulwanira obuyinza ne Ntare-V. Mukwenda bamuwangula era oluvanyuma yalina okuduka.[4]

Kibubura, muganda we omuwala Kishokye ne baganda be abalenzi badukira Bunyoro, eyali, efugibwa wansi wa Omukama Kabalega. Oluvanyuma bakomawo mu Ankole nga bayitidde mu kukoowoola kw'emizimu (Okubandwa). Nga abavuunuzi wakati wensi y'emizimu n'abantu, bayanirizibwa nga abazira era ne baweebwa eddembe mu Ankole. Mu kuwanyisa, bakozesa emandwa yaabwe, Nyakashambi okukuuma Ankolee eri obulabe bwonna. Ababuulizi b'ediini bwe bajja Kibubura yasuulawo emandwa era n'abatizibwa.[4][6]

Julia Kibubura yabatizibwa mu mwaka gwa 1903 era olwamaliriza ye n'abasomi amakumi abbiri mu battaano ne batambuza ebigere paka Mbarara okubatizibwa. Yadayo mu Ibanda era yali wa nkizo nyo mu kuzimba ekkanisa esooka eyakolebwa mu tosi ne sengenge. Oluvanyuma mu myaka jya 1970 ekkanisa bagimenya n'ebazawo kati St. Paul church of Uganda Ibanda omugenzi Archbishop Luwum gye yateekako ejinja ly'omusingi mu mwaka gwa 1976[1][7][8]

Muzukulu wa Kibubura omulenzi amanyikiddwa Michael Kibeeherere[9]

Obutabanguko

kyusa

Waliwo ebigambo ebitambula mu Ibanda mbu Kibubura yaganza Harry St George Galt era y'ensonga lwaki yamulonada nga chief we Gombolola mu Bugwanjuba bwa Uganda. Kibubura's yewunisa banansi bomu Ibanda kubanga mu kiseera ekyo, abakyala abakulembeze balinyirirwa nga.| Naye, Michael Kibeeherere, muzukulu wa Julia Kibubura omulenzi, yegaana ebyali byogerwa mbu beganza mu buba nagamba nti "Kiburura yali muntu ow'ekitiibwa , owempisa n'obukakamu, atasobolera ddala kwetaba mu bwenzi," mu mwaka gwa 2016.[2]

Laba ne

kyusa
  1. Janet Museveni
  2. Janani Luwum
  3. Galt Memorial
  4. Kibubura Girls' Secondary School

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1461994
  2. 2.0 2.1 https://www.bukedde.co.ug/articledetails/1821 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content
  3. 3.0 3.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1503133
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 https://www.mountainslayersuganda.com/the-beauty-and-mystery-of-ibanda/
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/education/kibubura-school-culture-reason-for-ogs-success-1834584
  6. https://www.africabib.org/rec.php?RID=087725835
  7. https://allsaintskampala.org/news/northwest-ankole-diocese-a-fulfillment-of-late-archbishop-luwums-prophecy/
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/oped/commentary/luwum-s-prophecy-and-birth-of-northwest-ankole-diocese-1718890
  9. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1821