Juliane Okot Bitek
Juliane Okot Bitek (yazaalibwa 1966), era amanyikiddwa nga Otoniya J. Okot Bitek, nzaalwa ya Kenya nga yakulira mu Uganda, muwandiisi era musomesa ng'abeera, asomesa era akolera mu Vancouver, British Columbia, Canada. Amanyikiddwa olw'ekitabo ky'ebitontome kyeyawandiika ekya 100 Days, ebiraga olutalo olwamala ennaku 100 mu 1994 olwalimu okutta abantu mu kirindi e Rwanda, mu kutebereza nti Abatutsi 800,000 ne Abahutu be battibwa.[1] Abadde omu kubawandiisi abawandiika mu bitabo by'ebitontome omuli mu 2019 New Daughters of Africa: An International Anthology of Writing by Women of African Descent, ekyasunsulwa Margaret Busby.[2]
Ebimukwatako
kyusaOtoniya Juliane Okot Bitek yazaalibwa mu Kenya mu 1966 nga bazadde be baali basenga mu Uganda.[3][4] Kitaawe yali omugenzi Okot p'Bitek, Omutontomi Omucholi era nga Omukenkufu. Ng'akula, Okot Bitek yali ayagala nnyo okusoma era yakubirizibwa bazadde be okuwandiika.[5][6] Omulundi gwe ogwasooka okufulumya ekkitontome kya yalina emyaka 11.[3]
Mu 1990, yasenguka okuva mu Uganda n'asenga ku ttaka lya Musqueam, Squamish, n'abantu ba Tsleil Waututh.[7] Alina Diguli mu kusiiga ebifaananyi eya Bachelor of Fine Arts ne mukuwandiika ebiyiiye (1995), Diguli ey'okubiri eya Master of Artsdegree mu Lungereza okuva ku University of British Columbia. Mu Gwokutaano 2020, yamaliriza PhD mu Interdisciplinary Studies okuva ku UBC's Liu Institute for Global Issues .[8]
Okot Bitek era mwagazi nnyo ow'enyimba za Leonard Cohen. Alina abaana babiri.[9]
Emirimu gye
kyusaOkot Bitek Musiizi w'abifaananyi Nnakinku, mutontomi, muwandiisi, mukenkufu, era musomesa ow'akaseera ku Emily Carr University of Art and Design mu ssomero lya Faculty of Culture + Community.[10] Emirimu gye mulimu emiramwa gy'obuwanganguse, amaka, obuvo n'abo abali ku mawanga.
Okot Bitek awandiise ebitontome bingi nnyo ebifulumiziddwa mu ngeri ez'enjawulo omuli obutabo bwa magaziini ne mu mpapula z'amawulire nga ARC, Whetstone, Fugue, ne Room of One’s Own. [11] Mu 2017, ekitontome kya ekya "Trees Line the Street" kyafulumizibwa mu kitabo kya Transition, Issue 124: Writing Black Canadas. [12] Mu Gwokusatu 2021, awandiise mu The Capilano Review mu mikolo etaano, wakati wa 2017 ne 2019. Ekitabo kye yasooka okufulumya ky'ali kituumiddwa Words in Black Cinnamon: A collection of Poetry era kyafulumizibwa mu 1998.[13]
Mu 2018, omulimu gwe ogwa "Sentry" kyatekeebwa mu kungaanyizo ly'ebiwandiiko erya Love Me True, ebiwandiiko ebyogera ku kusomoozebwa, essanyu, ebibeerawo mu nkolagana ey'ebbanga eddene.[14] Emirimu gye gifuulumiziddwa mu biwandiko nga Great Black North: Contemporary African Canadian Poetry (2012), ne Revolving City: 51 Poems and the Stories Behind Them (2015),[15] ne New Daughters of Africa: An International Anthology of Writing by Women of African Descent (2019).[16]
Ekitabo kye ekya 100 Days kyawandiikibwa okusinziira ku "nkolagana" eyali wakati wa omusiizi w'ebifaananyi ava e Kenya ng'awangalira mu America, Wangechi Mutu.[17] Nga 6 Ogwokuna 2014, Mutu yatandiika okuwanika ebifaananyi ku mutimbagano ng'abala okuva ku 100 okudda wansi. Okot Bitek bwe yalaba ebifaananyi, yakimanyilawo mu bwangu nti kwali kubala okwoleka okujaguza emyaka 20 oluvanyuma lw'okutta bantu mu kirindi okwali e Rwanda, era yali ayagala "ng'abalira wamu naye."[18] Okot Bitek yatuulirira Mutu okumukkirizisa okukolagana era nga Okot Bitek yakozesanga bubaka b'wokussimu okwanukula ebufaananyi bya Mutu. Gyebyagweera ng'ebijaguzo bisemberedde, ye ne Mutu baali bawanika ekitontome kimu ku buli kifaananyi buli lunaku okusobla okuteekawo embeera ey'okulaga okunyorwa n'okulumirirwa eri abakosebwa mu 1994.[9][17] Pulojekiti eno y'avaamu akatabo akafulumizibwa nga kayita mu the University of Alberta Press, ng'ebitontome 100 ku bbyo ebyali ekitundu ku pulojekiti eno bikyaliwo okusomebwako ku mukutu gwa Okot Bitek's website.[17]
Okot Bitek era abadde kitundu ku bikujjuko by'ensi yonna eby'okutontoma ebiwerako nga Fraser Valley Literary Festival (2020),[19] n'ebikujjuko bya Internacional de Poesía de Granada mu Nicaragua (2009),[20] ne the Medellín International Poetry Festival mu Colombia (2008).
Mu kaseera kano ye muwandiisi wa 2020/21 Ellen and Warren Tallman Writer in Residence ku Simon Fraser University,[21] era abadde Ambasada w'okutontoma mu kibuga kye Vancouver, ng'akola ne Vancouver Poet Laureate Rachel Rose.
bye yawangula
kyusaMu 2004, emboozi ya Okot Bitek ennyimpi eya "Going Home" yawangula empaka za 2004 Commonwealth Short Story Contest. yali emu ku zalabikira mu British Broadcasting Corporation ne Canadian Broadcasting Corporation.
Olugero lwe olwa "War No More" lwawangula mu mpaka za StopWar post-secondary essay competition mu 2005. Ekiwandiiko mu Iris Chang's The Rape of Nanking n'akyo kyawandiika mu 2006 era kyateekebwa mu kitabo ekikunganyizibwamu ebiwandiiko olw'eokuwangula ekiwandiiko ky'omwaka. Mu 2007, Okot Bitek yawangula mu Canada Council, abamuwangira mu kuwandiika emirimu emirala emiyiiye.
Okot Bitek's 100 Days, kye kimu ku bitabo bye ebyayitimuka ennyo mu mirimu gye. Mu 2017, kyafuna Awaadi ez'enjawulo omuli Glenna Luschei size for African Poetry,[22] the INDIEFAB Book of the Year Awards (Poetry), AAUP Book, Jacket & Journal Show, Book (Poetry and Literature, Jackets & Covers), era kavuganya mu mpaka endala nyingi.[23] John Keene, omu ku balamuzi b'empaka za 2017 Glenna Luschei award, yawandiika nti: "ekitontome kya In 100 Days, Juliane Okot Bitek kyeyaawandiika kyategeeza abantu ku biki eby'aliwo mu kutemulwa kw'abantu e Rwanda naye ennaku n'okubonabona ebyalimu, ebitontome bino byoleka okutulugunyizibwa omwali okutemulwa kwa famile ye n'abantu abalala bangi ebyaliwo ku mulembe gwa Idi Amin’s regime mu Uganda. The lyric beauty, intertextual depth, and metonymic power of Okot Bitek's poetry underscores the capacities of art and language to cast light into the darkest corners of our human experience, and bridge the gulfs that lie between us.2[24][11]
Ebitontome bye A Is for Acholi byavuganya mu mpaka za 2023 Pat Lowther Award.[25]
Emirimu gye
kyusa- "Day 62" poem from 100 Days.
- "Day 91" poem from 100 Days
- 100 Days
- "My Son is a Story"
- "Trees Line the Street"
- The Mundane, Sublime and Fantastical: 165 New Poems (26-30)
- Love Me Tender, ekyasunsulwa Jane Silcott ne Fiona Tinwei Lam
- The Great Black North: Contemporary African Canadian Poetry,ekyasunsulibwa Valerie Mason-John ne Kevan Anthony Cameron.
- Revolving City: 51 Poems and the Stories Behind Them, ekyasunsulibwa Wayne Compton ne Renée Sarojini Saklikar.
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/Juliane-Okot-Bitek-In-her-father-footsteps-/434746-4299066-83i0li/index.html
- ↑ https://www.nation.co.ke/lifestyle/weekend/New-Daughters-of-Africa-a-must-read-for-women-writers/1220-5422114-s2c04fz/index.html
- ↑ 3.0 3.1 https://www.festivaldepoesiademedellin.org/en/Revista/ultimas_ediciones/81_82/okot.html
- ↑ https://www.poetryinvoice.com/poems/poets/juliane-okot-bitek
- ↑ https://makewana.org/2015/06/interview-with-juliane-okot-pbitek/
- ↑ http://shortstorydayafrica.org/news/art-beyond-the-artist-is-created-in-the-moment-of-interaction-an-interview-with-juliane-okot-bitek
- ↑ https://thecapilanoreview.com/author/julianeokotbitek/
- ↑ https://open.library.ubc.ca/cIRcle/collections/ubctheses/24/items/1.0385981
- ↑ 9.0 9.1 https://zocalopoets.com/2014/05/01/the-rwanda-genocide-twenty-years-later-100-days-of-photographs-poems-by-wangechi-mutu-and-juliane-okot-bitek/
- ↑ https://www.connect.ecuad.ca/people/profile/343908
- ↑ 11.0 11.1 https://solopress.org/news/2017-12-31-African_Poetry_Prize/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/JSTOR_(identifier)
- ↑ http://www.warscapes.com/blog/rwanda-1994-100-days
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-04. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.anvilpress.com/books/the-revolving-city-51-poems-and-the-stories-behind-them
- ↑ https://www.ocadu.ca/event/cecily-nicholson-and-juliane-okot-bitek-lillian-allenforgetting-remembering
- ↑ 17.0 17.1 17.2 https://prismmagazine.ca/2016/03/18/who-wants-to-forget-and-who-wants-to-remember-an-interview-with-juliane-okot-bitek/
- ↑ http://www.warscapes.com/corona-notebooks/juliane-okot-bitek-uganda-and-canada
- ↑ https://the-peak.ca/2020/09/looking-forward-to-fall-with-sfus-newest-writer-in-residence-juliane-okot-bitek/
- ↑ https://vianica.com/sp/headline/300
- ↑ https://www.sfu.ca/english/writer-in-residence.html
- ↑ https://www.straight.com/arts/1011151/vancouver-poet-juliane-okot-bitek-wins-2017-glenna-luschei-prize-african-poetry
- ↑ https://www.straight.com/arts/1011151/vancouver-poet-juliane-okot-bitek-wins-2017-glenna-luschei-prize-african-poetry
- ↑ https://sppga.ubc.ca/news/juliane-okot-bitek-awarded-2017-glenna-luschei-prize-100-days/
- ↑ https://quillandquire.com/omni/league-of-canadian-poets-announces-2023-book-awards-shortlists/
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
kyusaLua error: Invalid configuration file.