Juliet Kyinyamatama Suubi
SUUBI JULIET KYINYAMATAMA
Obuzaale Munnayuganda
Obutuuze Munnayuganda
Gye yasomera: Uganda Christian University, University of Geneva
Emyaka mw'akyaakidde: 2011 - okutuusa leero
Ekifo: Mmemba wa Paalamenti
Juliet Kyinyamatama Suubi (yazaalibwa nga 22 Ogwekkumineebiri / December 1988) Munnayuganda, munnabyabufuzi era nga mmemba wa Paalamenti. Mu 2011, yalondebwa okubeera omubaka omukazi owa Disitulikiti y'e Rakai mu Paalamenti ya Uganda, n'addamu okulondebwa mu kifo kye kimu mu kulonda kwa bonna okwa 2016 era bwe yeesimbawo omulundi ogwokusatu ku kifo kye kimu yalondebwa mu kwa 2021 n'addayo mu Paalamenti ng'omubaka omukazi owa Disitulikiti y'e Rakai mu Paalamenti ya Uganda.[1][2]
Yavuganya ku bwannamunigina oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kamufu k'ekibiina kya National Resistance Movement.[3][4]
Ebyobuyigirize bwe
kyusaYatuulira ebigezo bye ebya Pulayimale (PLE) mu Ronald Ruta Primary School e Lyantonde mu 2001. Mu 2005 yatuula S4 ye ku ssomero lya Valley College erisangibwa e Bushenyi, era ng'eno gye yatuulira n'ebya S6 mu 2008.[5] Mu 2012 yatikkirwa Ddiguli ye esooka eya Bachelor's degree of Social Work and Social Administration ku Uganda Christian University. Oluvannyuma yasoma satifikeeti mu byobulamu eya Global Health okuva mu University of Geneva mu 2013 .[6]
Obuvunaanyizibwa obulala bw'akoze
kyusaObuvunaanyizibwa | Ekitongole | Ebbanga mwe yakolerayo |
---|---|---|
Maneja mu kuddukanya emirimu gy'okuyamba abanaku | Partners in Health | 2013-2014 |
Mubeezi wa Maneja | Partners in Health | 2012-2013 |
Mmemba wa Paalamenti | Paalamenti ya Uganda | 2011 okutiisa leero |
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusaEzenyongeza
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-07. Retrieved 2021-04-08.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.independent.co.ug/tag/juliet-kyinyamatama/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-07. Retrieved 2021-04-08.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/losers-in-nrm-polls-vow-to-return-as-independents-1934442
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-07. Retrieved 2021-04-08.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-07. Retrieved 2021-04-08.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)