Juliet Sekabunga Nalwanga musawo mu Uganda, ye musawo w'obwongo omukyala asooka mu nsi ye.[1][2][3][4][5][6] Mu mwaka gwa 2021 yali omu ku basawo b'obwongo e kumi na bassattu mu Uganda.[7] Mu mwaka gwa 2018 yali akolera mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital mu Kampala.[1][8]

Ebimukwatako n'emisomo

kyusa

Munnayuganda enzalwa ya Uganda. Taata we y'omugenzi Professor Sekabunga, Omulongoosabalwadde mu baana (pediatric surgeon) amanyikiddwa ennyo, eyakolera mu Mulago National Referral Hospital mu myaka jya 1970 ne 1980. Yalina maama we omuto eyali omusawo. Assima maama oyo okumusasulira ebisale by'esomero n'okubeera ekyokulabilako okusoma emirimu jy'amadagala.[9]

Yagenda mu maaso n'okusoma obusawo mu Yunivasitte ye Mbarara, okwagobererwa n'okutendekebwa mu ttendekero ly'elimu, ne ku Lira Regional Referral Hospital.[1] Yadayo ku Yunivasitte ye Mbarara okusoma degree y'obukugu mu madagala mu kulongoosa ebilwadde, omukyala eyasooka okukikola.[9] Oluvanyuma yayingizibwa muYunivasitte ye Makerere okusoma eby'obwongo ku Mulago National Referral Hospital, natikibwa mu mwaka gwa 2018. Yamala omwaka mulamba nga yetegereza n'okukuga mu kulongoosa endwadde z'obwongo mu baana (paediatric neurosurgery) ku The Hospital for Sick Children, eddwaliro elisomesa elya University of Toronto Faculty of Medicine, mu Toronto, Canada.[3] Omu ku basomesa be aba nayuganda yali omugenzi John Baptist Mukasa (1967 - 2021).[7][10]

Emirimu

kyusa

Bwe yamaliriza emisomo gy'okulongoosa obwongo (neurosurgery) mu Toronto, Canada, yakomawo e Uganda n'afuna omulimu mu ddwaliro lye Mulago National Referral Hospital nga omusawo w'abaana n'obwongo gwebeebuzaako era nga assistant lecturer mu byokulongoosa obwongo mu ttendekero lyeMakerere University School of Medicine. Akute ebifo by'okusomesa mu Mbarara University School of Medicine. Mu Gwokubiri 2023, Nalwanga yali mmemba wa faculty ku Uganda Christian University School of Medicine.[11][12]

Laba ne

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 https://www.thelancet.com/journals/laneur/article/PIIS1474-4422(18)30152-2/abstract
  2. http://mbu.ug/2018/09/12/meet-dr-nalwanga-juliet-sekabunga-ugandas-first-female-neurosurgeon/
  3. 3.0 3.1 https://www.wfns.org/newsletter/182
  4. https://thejns.org/focus/view/journals/neurosurg-focus/50/3/article-pE15.xml
  5. https://thejns.org/focus/view/journals/neurosurg-focus/50/3/article-pE9.xml
  6. https://globalhealth.duke.edu/news/dghis-michael-haglund-recognized-global-neurosurgery-achievements
  7. 7.0 7.1 http://www.theguardian.com/global-development/2021/aug/09/a-great-blow-to-uganda-surgeon-john-baptist-mukasa-dies-of-covid
  8. https://ugandafact.com/list-of-neurosurgeons-in-uganda/
  9. 9.0 9.1 https://opmed.doximity.com/articles/two-firsts-for-black-women-in-neurosurgery
  10. https://www.npr.org/sections/goatsandsoda/2021/07/17/1016897461/pandemic-loss-pioneering-ugandan-neurosurgeon-was-a-servant-of-the-people
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-03. Retrieved 2024-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://www.ugandapartners.org/2023/03/nalwanga-ugandas-first-female-neurosurgeon/

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya

kyusa