Justine Khainza era amanyikiddwa nga Khainza Justine (yazaalibwa nga 30 Ogwomukaaga mu mwaka gwa 1982) Munnayuganda ow'ebyobufuzi era social worker.[1] Ye mubaka omukyaala akiikirira Disitulikitii ya Bududa mu Paalamenti ya Uganda. ey'omwenda n'ekumi[1][2][3] Mmemba w'ekibiina eky'ebyobufuzi ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement] political party.[1][4] Mu kwa Pulezidentti n'ababaka ba Paalamentti aka 2021, yawungulwa Agnes Nandutu kati omubaka omukyaala akiikirira Disitulikitti y'e Bududa mu Paalamentti ya Uganda ey'ekumineemu.[5][6][7][8]

Khainza, Justine.jpg

Emisomo

kyusa

Mu mwaka gwa 1996, yatuula ebibuuzo bye ebikomekereza Pulayimale ebya Primary Leaving Examinations okuva mu Buckley High School.[1] Yafuna Uganda Certificate of Education okuva mu Tororo Girls School mu mwaka gwa 2000.[1] Mu mwaka gwa 2002, yafuna Uganda Advanced Certificate of Education okuva mu somero lya Ndejje S.S. Mu mwaka gwa 2004, Yafuna satifikeetti mu bukulembeze okuva mu Miracle Bible College. Yatiikibwa ne diguli mu Development Studies mu mwaka gwa 2006 okuva mu Yunivasitte y'e Makerere. Mu mwaka gwa 2007, yafuna satifikeetti mu Administrative Officers Law Course okuva mu Law Development Centre, Kampala. Diguli ye eya Masters mu Public Health Leadership yamuweebwa Uganda Christian University, Mukono mu mwaka gwa 2014.[1]

Emirimu nga taneegatta mu by'obufuzi

kyusa

Mu mwaka gwa 2009, yakola nga attendekebwa mu ktongole ky'ebyenyonyi ekya Civil Aviation Authority of Uganda. Wakati wa 2006 ne 2008, yaweereza nga Coordinator wa Mt Elgon Christian Fellowship Association, Bududa.[1]

Eby'obufuzi

kyusa

Okuva mu mwaka gwa 2011 okutuusa 2021, yaweereza nga Mmemba wa Paalamentti muPaalamentti ya Uganda ey'omwenda n'eyekumi.[1] Mu mwaka gwa 2020, yakakasibwa mu kulonda kwa[./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement] nga amaliriza okuwangula mu kulonda okusooka.[9]

Obuvunaanyizibwa obulala

kyusa

Yaweereza ku Kakiiko k'Ebyembalirira[10] ne ku kakiiko k'ebyobulimi n'okulunda mu Paalamentti ya Uganda.[1][11]

Obulamu bwe

kyusa

Mufumbo.[1] Ebikolwa bye eby'eddembe bya kusoma, mizannyo n'okulambula. Alina okwagala okwenjawulo mu campaign z'ebyobulamu mu bantu, okukunga abakyaala n'abavubuka mu kubazaamu amaanyi mu nsonga z'ebyenfuna, n'okututumula eby'emizannyo mu bavubuka.[1]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=215
  2. https://reliefweb.int/report/uganda/aid-relief-comes-budududa-after-disastrous-landslides
  3. https://nilepost.co.ug/2020/05/19/mps-concerned-about-delayed-electrification-project/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-03. Retrieved 2024-04-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/two-kicked-out-of-bududa-woman-mp-2021-race-3217538
  6. https://www.independent.co.ug/tag/justine-khainza/
  7. https://www.pmldaily.com/news/politics/2020/08/race-to-2021-polls-journalist-tests-the-political-waters-as-the-women-seat-goes-to-the-wire.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-21. Retrieved 2024-04-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://chimpreports.com/bududa-nrm-election-tribunal-validates-justine-khainzas-victory/
  10. https://parliamentwatch.ug/committee/committee-on-budget/
  11. https://www.mpscanug.com/profile/khainzajustine/