Kiboijana Margaret N
Kiboijana Margaret N oluusi ayitibwa Kiboijana Margaret Namara munnabyabufuzi wa Uganda eyaweerezako ng'omubaka wa Uganda mu palamenti ya Uganda ey'omunaana n'ey'omwenda ng'ali mu Forum for Democratic Change mu Disitulikiti y'e Ibanda.
Ebyobufuzi
kyusaYali omu ku babaka ba palamenti abawakanya ekiteeso ky'etteeka erirwanyisa okweyimirirwa nga likyogerako ng'eritaali mu mateeka. Ekiteeso ky'okukyusa ssemateeka ekya Pulezidenti Museveni okugaana okweyimirirwa kw'abeekalakaasi, wamu n'abamenyi b'amateeka abalala kyali kikubaganyizibwako ebirowoozo mu kakiiko k'ekibiina ekifuga.[1] Era yali omu ku babaka abakyala abaali baagala okwesimbawo mu 2021-2026, Disitulikiti y'e Ibanda wansi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya NRM. Yali omu ku balonzi ba NRM abaalondebwa mu kalulu ka 2020 mu kakiiko k'ebyokulonda. Margaret mulwanirizi w'okulwanyisa obwaavu era agabidde abatuuze b'e Disitulikiti y'e Ibanda ensigo z'emwanyi, embuzi n'embizzi. Kiboijana awaddeyo obuyambi eri SACCO, amasomero n'amakanisa ag'enjawulo.[2]
Laba ne
kyusa- Olukalala lw'ababaka b'olukiiko lwa Uganda olw'omunaana
- Olukalala lw'ababaka b'olukiiko lwa Uganda olw'omwenda