Kiiza Eron
Eron Kiiza (yazaalibwa mu Gw'omunaana nga 12, 1983) mutontomi, Munnayuganda munnamateeka era mukuumi w'ebyobutonde.[1] Ye mutandisi w'ekibiina ekya Kizza & Mugisha Advocates Attorneys era munnamateeka mu Kkooti enkulu eya Uganda, memba mu kibiina kya Uganda Law Society era ne East African Law Society.[2][3] Eron era muwanguzi w'engule ey'obulwanirizi bw'eddembe eya EU Human Rights Defenders Award mu 2022.[3][4]
Obuto bwe n'obuyigirize
kyusaEron yazaalibwa mu ddwaliro lya Kabale Hospital mu Disitulikiti y'e Kabale mu Bugwanjuba bwa Uganda eri Asiimwe Maud (Nnyina)ne Mbabazi Alban (taatawe) era yakuzibwa mu Disitulikiti y'e Ntungamo.[1] Yatandika okusoma ku ssomero lya Rukura Primary School era oluvanyuma yegatta ku Kituga day and boarding primary school ku misomo gye egya pulayimale. Oluvanyuma lwa Pulayimale, Eron yegatta ku Muntuyera High School ku misomo gye egya Ssekendule gyonna okumala emyaka mukaaga. Alina Diguli esooka eyamateeka eya Bachelor of Laws Degree (LLB) okuva ku Yunivasite eya Uganda Christian University (UCU) era ku Diguli y'esooka yayongerako Dipulooma mu by'amateeka eya Post Graduate Diploma in Legal Practice gyeyafuna ku ssomero lya Law Development Centre, mu Kampala .[1] Eron era yagattako amasomo agenjawulo ku Yunivasite ya Uganda Martyrs University, ne Yunivasite ya University of Pretoria, Media Legal Defense Initiative, 2015 USA’s International Visitor Leadership Program (IVLP), Internet Governance Forum (IGF) era ne Stockholm Internet Forum eya 2019.
Emirimu
kyusaMu kaseera ke akassekendule, Eron yalowooza nti ayinza okufuuka munnamawulire oluvanyuma lw'okubeera omukulembeze era omusomi w'amawulire ku ssomero lya Muntuyera High school. Era memba mu kibiina kya bannamateeka ekya Uganda Law Society Rule of law Committee ne Human Rights Cluster era n'akakiiko akawabuzi aka Advisory Committee of Network for Public Interest Lawyers (NETPIL).
Emisango
kyusaMu 2021, Eron yali omu kubalwanirira okuteebwa kwa Nicholas Opiyo munnamateeka w'eddembe ly'abantu eyali yakwatibwa oluvanyuma lw'ebyali biyitingana ku nsonga za ssente ezakumpanyizibwa.[5] Eron yeyakulembera kakuyege ow'okulemesa okusaanyawo Ekibira kya Bugoma mu Disitulikiti y'e Hoima mu Bukiikakkono bwe Buvanjuba bwa Uganda.[5] Yakiikirira ekibiina ky'abantu abasukka mu 3000 abaali bawakanya eky'okugibwawo kw'ebyalo ebitaano omuli Kambuye, Kyabaana, Kikoono, Lwensanga ne Kanseera mu Disitulikiti y'e Mubende olwa George Kaweesi okuva ku katundu akapimibwa aka Yiika 322.5.[6] Eron yali munnamateeka era omulwanirirzi wa Kakwenza Rukirabashaija mu kaseera weyali mu kuwozesebwa.[7][8]
Obulamu bwe
kyusaEron mufumbo eri Sylvia Tumwebaze era abafumbo bano balina abaana ab'obuwala babiri. Awoomerwa nnyo ensujju, lumonde, obutiko, n'enkoko enganda nga emmere gy'asinga okwagala.[1]
Engule
kyusa- Engule y'obulwanirirzi bw'eddembe ly'abantu eya EU Human Rights Defenders Award mu 2022.
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu eby'ebweru
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 https://observer.ug/lifestyle/58411-eron-kiiza-remembers-that-arrival-in-kampala
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-30. Retrieved 2022-05-15.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 3.0 3.1 https://www.eeas.europa.eu/delegations/uganda/three-shortlisted-2022-eu-human-rights-defenders-award_en
- ↑ https://namati.org/network/member/eronkiiza/
- ↑ 5.0 5.1 https://www.independent.co.ug/lawyer-eron-kiiza-shortlisted-for-prestigious-eu-human-rights-defenders-award/
- ↑ http://nilepost.co.ug/2019/09/30/mubende-land-case-over-20-lawyers-escort-eron-kiiza-as-he-responds-to-cid-summons/
- ↑ https://allafrica.com/stories/202201100013.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/123632