Kiryowa Kiwanuka
Kiryowa Kiwanuka Nsumikambi Mugambe amanyikiddwa ennyo nga Kiryowa Kiwanuka Munnayuganda, munnamateeka, munnabizinensi ate nga munnabyabufuzi nga yakolako nga Attorney General wa Uganda mu kabinenti ya Uganda. yalondebwa mu kifo ekyo nga 8 ogwomukaaga 2021, nga yadda mu kifo kya William Byaruhanga, eyagobebwa kabinenti.[1][2][3]
Obuto bwe n'okusoma
kyusaKiwanuka ateeberezebwa okuba nga yazaalibwa mu Uganda mu 1972. Kitaawe ye mugenzi Jimmy Mugambe Kiwanuka nga naye Munnayuganda. Jjajja we azaala taata we yali Jolly Joe Kiwanuka, nga naye munnayuganda eyattibwa Idi Amin mu myaka gya 1970.[4]
Kiryowa obuto bwe yabumala mu Nairobi Kenya, famire ye gye yawangangukira mu lutalo, nga tebannadda Uganda mu 1980. Yasomera Budo Junior School mu misomo gye egisooka. Awo n'akyusa n'adda ku Kings College Budo gye yasomera Olevel. "A" yagisomera Makerere College School. Mu 1993, yaweebwa ekifo e Makerere University, gye yasomera amateeka.[4]
Kiryowa Kiwanuka yatikkirwa e Makerere University, ne ddiguli ya Bachelor of Laws. Awo n'agenda ku Law Development Centre gye yatikkirwa Diploma in Legal Practice. Yaweebwa ekifo mu Uganda bar mu 1997. Oluvannyuma yafuna Master of Laws in Petroleum Law and Policy mu University of Dundee in Scotland.[4][5]
Emirimu
kyusaNga tannaweeba mulimu, Kiwanuka yali omu ku baatandikawo K and K Advocates & Solicitors Uganda, nga eno yali ya Kampala law firm.[4] Nga 8 ogwomukaaga 2021, yalondebwa nga Attorney General wa Uganda.[6]
Amaka
kyusaKiryowa musajja mufumbo eri Sarah Kiwanuka gwe yasisinkana mu 1997. Bazadde ba baana bana. Yali muto wa Bakadde Kiwanuka, akola obunnamateeka mu United Kingdom.[4]
Emirimu emirala
kyusaKiryowa Kiwanuka akola ku kakiiko akakulembera Petroleum Authority of Uganda, okuva mu 2015. Era akola nga ssentebe wa Express Football Club, ekibiina ky'abasambi b'omupiira mu Uganda.[5]
Laba
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/final-cabinet-list-jessica-alupo-new-vice-president-3430616
- ↑ https://www.independent.co.ug/kk-born-for-the-bar/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/70596-ag-kiryowa-kiwanuka-is-the-wrong-man-for-the-wrong-job
- ↑ 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 The Independent (3 May 2016). "KK: Born For The Bar: Interview". The Independent (Uganda). Kampala. Retrieved 9 June 2021.
- ↑ 5.0 5.1 "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-23. Retrieved 2021-09-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.independent.co.ug/new-cabinet-museveni-drops-kutesa-10-ministers/