Our Lady of Consolata Kisubi Hospital, oba Our Lady of Consolation Kisubi Hospital ddwaliro erimanyiddwa ennyo nga Kisubi Hospital, ddwaliro lya bwannannyini, eritagenderera kukola magoba mu masekati ga Uganda . Eddwaliro lino lisangibwa mu kitundu ky'e Kisubi mu Disitulikiti y'e Wakiso . Okuva mu Kampala okutuuka ku ddwaliro e Kisubi waliwo kiromita 35 nga okute ku luguudo oludda ku kisaawe ky'enyonyi Entebbe. [1][2]

Ebikwata ku Ddwaliro lino

kyusa

Eddwaliro lino lya ssaza lya Ekeleziya Katolika ekkulu erya Kampala era nga liddukanyizibwa abasiisita aba Missionary Sisters of Our Lady of Africa . Mu ddwaliro lino mulimu ebitanda okujjanjabibwa abalwadde ebiwerera ddala 110. Obujjanjabi mu ddwaliro lino bwettanirwa abantu okuva mu masaza Busiro ne Kyaddondo. Eddwaliro lino liwa obuweereza n'obujjanjabi obw’enjawulo omuli ekitongole ekigaba obujjanjabi obwamangu, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bajjanjabibwa nga bava waka, ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulongoosa, ekitongole ekivunaanyizibwa ku kujjanjaba ebitundu ebyenkizo (Urology),Ekitongole ekijjanjaba endwadde z'obwongo (neurosurgery),Ekitongole ekivunaanyizibwa ku magumba (orthopaedics), ekitongole ekivunaanyizibwa ku kujanjaba endwadde ezabulijjo (internal medicine),Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuzaalisa,ekitongole ekivunaanyizibwa ku kujjanjaba abaana (pediatrics), n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kujjanjaba ebitundu eby'enkizo ku mutwe omuli ennyindo, emimiro, n'ekiwanga (otolaryngology) . Mu ddwaliro luno mulimu waadi satu omulongoosebwa kwossa n'ekifo awajjanjabirwa abalwadde abayi eky’ebitanda bina . [3] [4]

Ebyafaayo

kyusa

Mu 1904, Congregation of the Missionary Sisters of Our Lady of Africa yatandikawo eddwaaliro e Kisubi okuyamba abo abatawaanyizibwa obulwadde bwa mongoota(Sleeping sickness) obwali buyitiridde mu kitundu ekyo mu kiseera ekyo. Mu myaka 110 ejiyise, ekifo kino ekyatandika nga kyakujanjaba balwadde ba mongoota kikuze ne kifuuka eddwaaliro erijjuvu, nga lirimu ebitanda 110. Eddwaliro lino era ligaba oluusi ligaba n'obujanjabi obw'obwerere. [5]

Mu 2019, eddwaaliro lino lyaggulawo ekifo awajjanjabirwa emitima, ekifo kino kijjanjaba mu ngeri eyekikugu era nga kirina n'obusobozi obusobozesa abasawo okussa obutundu obukolerere mu lulimi lwekisawo obuyitibwa catheter obuyamba okuwanirira omutima oba emisuwa egireeta omusaayi mu mutima okusobola okukola obulunji. Ebifo ebiyina obusobozi okujjanjaba omutima mu ngeri eyekikugu etyo mu Uganda biri bibiri byokka ga ekirara kisangibwa ku ddwaliro ly'emitima e Mulago eriyitibwa Uganda Heart Institute .[6]

Laba ne

kyusa

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B007'20.0%22N+32%C2%B032'13.0%22E/@0.1222222,32.5347557,392m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.1222222!4d32.5369444
  2. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/dir/Kampala/Kisubi+Hospital+(Our+Lady+of+Consolata+Kisubi+Hospital),+Nkima+Road,+Kisubi+Entebbe,+Kisubi/@0.1270939,32.4954211,12z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!2m2!1d32.5825197!2d0.3475964!1m5!1m1!1s0x177d8557736a6227:0x685403e48c6ecc8e!2m2!1d32.5369205!2d0.1218417!3e0
  3. http://www.monitor.co.ug/News/National/Kisubi-hospital-set-to-start-specialised-surgeries/-/688334/2690958/-/ehbvbvz/-/index.html
  4. https://web.archive.org/web/20150223004115/http://kisubihospital.org/whoweare.php
  5. https://www.newvision.co.ug/news/1298248/kisubi-hospital-free-surgery
  6. https://www.independent.co.ug/saved-by-kisubi-hospital/