Kitovu Hospital
Kitovu Hospital Mu bujjuvu St. Joseph's Hospital Kitovu ddwaliro erisangibwa ku kasozi Kitovu, mu kibuga Masaka, , mu massekkati ga Uganda .Eddwaliro lino lya bwannannyini era lijjanjaba nokuwa obuweereza abantu b'omukitundu naddala ekibuga Masaka n’ebitundu ebiriraanyewo. Eddwaliro lino era liyina n'ekitongole eky'abakugu ekivunaanyizibwa ku kujjanjaba n'okubudaabudda abakyala abayina okutonnya oba ekikulukuto ekiva ku kuzaala mu lufuutifuuti ekiyitibwa Fistula era nga obuweereza buno bwatandikibwa omusawo Dr. Maura Lynch . Ebifo ebijjanjaba endwadde eno biri mukaaga byokka okwetoolola eggwanga [1]
Endagiriro
kyusaEddwaliro lino lisangibwa mu kitundu ekiyitibwa Kitovu, mu kibuga Masaka, mu kitundu kya Buganda. Ekifo kino kyesudde kiromita nga musanvu mu mu bugwanjuba okuva ku ddwaliro lya gavumenti li Masaka Regional Referral Hospita, eddwaliro erisinga obunene mu bbendobendo lyemasaka era ewasindikibwa abalwadde ababa betaaga obujanjabi obw'ekikugu ennyo [2] Eddwaaliro lino era lyesudde kiromita nga 140 okuva mu kibuga ky'eggwanga ekikulu Kampala ewasangibwa eddwaliro ekkulu li Mulago National Referral Hospital.[3][4] Ensengeka z'ekitundu okutudde eddwaliro ly'e Kitovu ku maapu ze zino:00°20'36.0"S, 31°45'28.0"E (obusimba:-0.343333; Obukiika:31.757778). [5]
Ebikwata ku ddwaliro
kyusaKitovu hospital ddwaliro lya bwannannyini, eritagenderera kukola magoba, eriweereza abantu b'omukitundu era nga obwa nnanyini bwalyo buli mu mikono gye'ssaza lya Ekeleziya katolika ery'eMasaka era nga liyita mu kitongole kya Uganda Catholic Medical Bureau . Eddwaaliro lino liddukanyizibwa ekibiina kya Daughters of Mary Sisters, ekibiina kyabasiisita nga baana nzalwa ob'omukitundu. Mu ntandikwa, eddwaliro lino lyategekebwa okubaamu ebitanda okujjanjabirwa abalwadde naye nga kati ebibalo biraga nti eddwaliro lino liyina ebitanda 248.[6][7]
Eddwaaliro lino lirina enteekateeka y’ebyobulamu ebisookerwako eganyula abantu bonna, omuli n’ekifo awajjanjabirwa n'okubudaabuda abantu abayina akawuka ka mukenenenya akalwaaza siriimu. Ebitongole ebirala eby’enjawulo mu ddwaliro lino mulimu etterekero ly’omusaayi eriweereza ekitundu kya masaka ekigazi, ekitongole ekirabirira abaana abaakazaalibwa, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bujjanjabi obw'ekuusa ku ndya kwossa n'essomero eritendeka aba abakola mu bifo ewekkenenyezebwa endwadde (laboratory). Eddwaliro era liyina enkolagana n'essomero ly'abasawo ku yunivasite e Makerere erya Makerere University School of Medicine mweliweera abasawo abali mukugesebwa omukisa okutendekebwa mu ddwaliro lino. Obuweereza bw'eddwaliro lino tebukoma Masaka wokka wabula butwaliramu ne distulikiti eziriraanyewo okuli Sembabule, Lyantonde, Bukomansimbi, Kalangala, Kalungu, Kyotera, Lwengo ne Rakai . [8]
Eddwaaliro lya Kitovu wamu n'amwaliro amalala nga Eddwaaliro lya Mulago National Referral Hospital , Hoima Regional Referral Hospital , Nsambya Hospital ,Kagando Hospital wamu ne Lacor Hospital gayina obusobozi okujjanjaba obulwadde bw'okutonnya okuva ku kuzaala era nga ku bitanda ebiri mu ddwaliro lino 31 byawebwaayo kuwa buweereza obwo. [9] Waadi ya Fisitula e Kitovu yakyazaako Kabaka wa Buganda nga 11 Ogw'omukaaga 2019 mu kaweefube gwe yaliko mu kulwanyis obulwadde obwo nga ayita mu misinde gy'amazalibwa ge.[10]
Ebyafaayo
kyusaEddwaliro Kitovu hospital lyatandika oluvanyuma lw'omugenzi Ssaabasumba Joseph Kiwanuka (1899 - 1966), Omusumba mu Ekelezia y'abakatoliki omuddugavu eyasooka mu mawanga agasangibwa mu maserengeta g'eddungu Sahara okuyita abasiisita aba Sisters of the Medical Missionaries of Mary (MMM) era nga mu kifo kati ewatudde eddwaliro basooka kuteekawo kifo eky’obujjanjabi obusookerwako (First Aid) mu mwaka1955. Oluvannyuma kyatadika okuwa abalwadde obujanjabi naye nga tekigaba bitanda oba okubasuza era obwetaavu bwebweyongera, empeereza y’abalwadde okusuzibwa mu ddwaliro yatandikibwawo. Abasiisita aba MMM Sisters baaddukanya eddwaaliro lino okuva mu 1955 okutuuka mu 2001 lwe baalikwasa abaliddukanya leero. [11]
Laba nabino
kyusaEbiwandiiko ebijuliziddwa
kyusa- ↑ http://www.kitovu-hospital.org/departments/vvf-ward-obstetric-fistula-unit/
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Kitovu+Hospital,+P.O.Box+413,+Masaka/Masaka+Hospital,+Alex+Ssebowa,+Masaka/@-0.3370905,31.7296948,14z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x19d78efa4685e92f:0x6959a7a70b48be92!2m2!1d31.7573017!2d-0.3442488!1m5!1m1!1s0x19d78ebb9db30b6f:0x3735f21041acd7db!2m2!1d31.7359321!2d-0.3293044!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Kitovu+Hospital,+P.O.Box+413,+Masaka/Mulago+Hospital,+Kampala/@0.0013684,31.6062674,9z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x19d78efa4685e92f:0x6959a7a70b48be92!2m2!1d31.7573017!2d-0.3442488!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!3e0
- ↑ https://rotarydoctorbank.co.uk/kitovu-hospital-2/
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B020'36.0%22S+31%C2%B045'28.0%22E/@-0.3433333,31.7577778,392m/data=!3m2!1e3!4b1!4m2!3m1!1s0x0:0x0
- ↑ https://masakamedicalservices.org/works/kitovu-hospital#:~:text=It%20is%20a%20248%20bed,Catholic%20Medical%20Bureau%20(UCMB).
- ↑ https://rotarydoctorbank.co.uk/kitovu-hospital-2/
- ↑ https://masakamedicalservices.org/works/kitovu-hospital#:~:text=It%20is%20a%20248%20bed,Catholic%20Medical%20Bureau%20(UCMB).
- ↑ https://web.archive.org/web/20140219014612/http://www.fistulacare.org/pages/sites/uganda.php
- ↑ https://africanroyalfamilies.blogspot.com/2019/06/his-majesty-kabaka-of-buganda-visits.html
- ↑ https://www.eahealth.org/directory/search/organisations/kitovu-hospital