Kookolo[[1]] kibinja kya ndwadde ezireetera obutoffaali bw’omubiri okukula mu ngeri etali ya bulijjo era ng’alina obusobozi bw’okusaasaanira mu bitindu by’omubiri ebirala. Si buli kizimba nti kibeera ne kookolo. Okugeza, waliwo ebizimba ebitasasaanira bitundu bya mubiri birala.

kookolo

Obubonero

kyusa

Obubonero okulabirwa kookolo kuliko: okuzimbazimba, okuvaamu omusaayi okutali kwa bulijjo, ekifuba ekitawona, okukendeera kw’obuzito bw’omubiri mu ngeri etategeerekeka n’enkyukakyuka mu ntambula y’emmmere mu kyenda n’ebirala. Wadde ng’obubonero obwo busobola okubeera nga bwa kookolo wabula era busobola n’okuleetebwawo ensonga endala. Waliwo ebika bya kookolo ebisukka mu kikumi ebimannyiddwa era nga bitawaanya nnyo abantu.

Ebireeta kookolo

kyusa

Okunywa ssigala kikola ebitundu 22 ku buli bantu ekikumi abafa kookolo. Ekkumi ku kikumi eky’abantu abafa kookolo bo bafa lwa mugejjo, endya embi, obutakozesa mubiri dduyiro n’okunywa omwenge. Ebintu ebirala ebivaako kookolo kuliko; okusemberera awokyerwa ebyuma ebbugumu ne liyingira mu mubiri wamu n’ebyo ebijamawaza obutonde. Mu nsi ezikyakula, ebitundu abiri ku kikumi ebya kookolo bireetebwawo endwadde nga Omusujja gw’Ekibumba (Hepatitis B ne C) n’endwadde ezireetera ensusu z’abantu okulwala agatulututtu. Ensonga zino kye zikola kwe kugenda nga zikyusa endagabutonde ezibeera mu butoffaali bw’omubiri. Enkukakyuka y’endagabutonde y’omuntu y’esooka okubaawo nga kookolo tannaba kukula mu muntu. Ebitundu 5-10% ebya kookolo bireetebwawo ebizibu mu nzimba y’entondwa y’omuntu eyina okuba nga yasikirwa okuva ku bazadde b’omuntu.

Engeri y’okukebera kookolo

kyusa

Kookolo asobola okuzuulibwa mu mubiri gw’omuntu ng’ayita mu kukeberebwa okw’enjawulo. Kino kyongera okukakasibwa ng’omuntu akeberebwa ng’ayita mu kukubwa ebifaananyi n’ebyuma ebiraba mu mubiri munda era n’okuggyibwako akanyama okukakebera n’ebyuma okuzuulira ddala oba nga kookolo mwali mu mubiri.

Engeri y’okutangiramu kookolo

kyusa

Kookolo asinga obungi asobola okutangirwa ng’omuntu yeewala okufuuweeta ssigala, okukuuma omubiri nga guzitowa ekimala, obutanywa nnyo mwenge guyitiridde, okulya ennyo enva endiirwa, ebibala wamu n’emmere ey’empeke. Kuno kw’ogatta okugemebwa okuva eri ebirwadde eby’enjawulo, obutalya nnyo nnyama nga teyidde bulungi, n’okwewala okwokyebwa ennyo akasana. Okukeberebwa amangu n’ekyuma kiyamba okuziyiza kookolo w’omumwa gwa nnabaana ne kookolo ow’omu byenda. Wabula ku kookolo ow’omu mabeere kino kikyatankanibwa okuba nga kikola bulungi. Okubudaabudibwa okw’amaanyi kwetaagibwa eri abo abalina kookolo akulidde ddala. Emikisa gy’omuntu akwatiddwa kookolo gisinziira ku kika kya kookolo omuntu ky’alina wamu n’omutendera obulwadde kwe butuuse mu kiseera omulwadde w’atandikira obujjanjabi. Mu baana abali wansi w’emyaka ekkumi n’etaano abo abasobola okuwangaala emyaka etaano nga balina kookolo bali ku bitundu 80%, yo mu Amerika bali ebitundu 66%.

Kookolo mu nsi yonna

kyusa

Mu mwaka gwa 2012 abantu abakunukkiriza mu bukadde kkumi na buna mu emitwalo kkumi be baakwatibwa kookola okwetoolola ensi yonna nga oggyeeko abo abaakwatibwa kokoolo w’olususu. Kino kyaviirako abantu abawerere ddala obukadde munaana mu emitwalo abiri okulusuulamu akaba; kwe kugamba, bye bitundu kkumi na bina ku kikumi ku bantu bonna abaafa mu mwaka ogwo. ebika bya kokoolo ebisinga okweerisa enkuuli mu basajja mulimu; kokoolo wa mawugwe, kookolo w’obusajja, kookolo w’ebyenda wamu ne kookolo w’omu lubuto. Mu mwaka gwa 2012 abantu obukadde 14,010,000 be baafuna ekirwadde kya kookolo, okwo nga tobaliddeeko kookolo wa lususu. Yaleetera abantu obukadde munaana n’emitwalo abiri okufa; ebyo bye bitundu kkumi na bina n’obutundutundu mukaaga (14.6%) ku kikumi ku muwendo gw’abantu abafa mu nsi yonna.

Kookolo asinga okutawaanya abasajja kuliko; kookolo w’amawuggwe, kokoolo w’obusajja, kookolo w’ebyenda ne kookolo w’omu lubuto. Mu bakyala ebika bya kookolo ebisinga okubatawaanya kuliko; kookolo w’amabeere, ow’omu byenda, ow’amawuggwe n’ow’oku mumwa gwa nnabaana. Singa kookolo ow’olususu abeera ng’abaliddwa ku bika bya kookolo ebirala, olwo abakyala abafuna kookolo baba bawera ebitundu 40%. Mu baana abato kokoolo w’omu musaayi ssaako n’ebizimba by’oku bwongo bye bisinga okulabika ennyo. Mu mwaka gwa 2012 abaana abali wansi w’emyaka 15 abali eyo mu mitwalo kkumi na mukaaga n’ekitundu (165,000) be bakeberebwa kookolo. Emikisa gy’okufuna kookolo gigenda gyeyongera buli omuntu lwakula era n’embeera y’obulamu nga bw’egenda ekyuka. Kookolo asinga kulabikira mu nsi ezaakula edda. Ensimbi ezisaasaanyizibwa mu kujjanjaba kookolo ziteeberezebwa okuba mu ddoola za Amerika $1.16 buli mwaka nga bwe kyali mu 2010.