Kookolo w’obusajja
Enfaanana
kyusaOno ye kookolo akwata abasajja mu bitundu byabwe eby’ekyama era ng’akosa n’ensibuko y’enkwaso. Kookolo ono oluusi alabika mu bwangu ate olulala asobola obutalabika okumala ekiseera. Kookolo w’obusajja asobola okuva ku kitundu ekimu okudda ku birala naddala mu magumba wamu n’ebitundu eby’ensanjabavu. Kookolo ono oluusi ayinza obutaleeta oba okulaga akabonero konna. Oluvannyuma lw’ekiseera kino kisobola okuleetawo okubabuukirirwa, okufuuyisa omusaayi, obulumi mu bbunwe, omugongo oba mu kufuuyisa. Obubonero obujja oluvannyuma lw’ebbanaga eddene kwe kuwulira obukoowu nga kino kireetebwawo obutoffaali obukola omusaayi okubeera omutono ddala mu mubiri.
Ebisinga okwongeza ku mikisa gy’omuntu okulwala kookolo ono kwe kubeera ng’omusajja akuze mu myaka, okusikira endwadde okuva ku bazadde, wamu ne langi y’omuntu. Abasajja ebitundu 90% be bafuna obulwadde buno nga bawezezza emyaka egisukka 50. Okubeera n’owooluganda alina obulwadde buno, emikisa gy’okubufuna gikubisaamu mu gya bulijjo emirundi ebiri ku esatu. Ensonga endala ezisobola okuleeta kino kwe kukozesa ennyo ennyama oba ennyama ensibe mu mukebe, oba obutalya nva ndiirwa zimala. Kookolo w’abasajja akeberebwa nga bakozesa enkola ey’okumuggyako akanyama ne kateekebwa mu kyuma ne kakeberebwa. Awo asobola okukubibwa ebifaananyi abasawo balabe oba nga kookolo tasaasaanidde bitundu bya mubiri birala.
Okukeberebwa
kyusaOkukozesa ebyuma okukebera kookolo w’abasajja oluusi kiwakanyizibwa olw’ensonga nti kino kyongera ku buzibu buno wabula ate tekikendeeza ku bantu abafa olw’obulwadde buno. Ekitongole kya Amerika ekya United States Preventive Services Task Force kivumirira enkola eno olw’ensonga nti abantu bakeberebwa nnyo kyokka ng’ate obubonero obumu busigla nga bwekwese. Ekitongole kino era kyongerako nti ebirungi ebiri mu kukebera kuno tebisinga bulabe bukuvaamu. Okwongera mu mubiri ekiriisa ekya vitamin n’ebiriisa ebirala tekirina kye kiyamba mu kukendeeza ku bulabe bw’okufuna kookolo ono.
Kookolo asobola okuwona y’oyo akwata mu busajja mwokka nga tasaasaana. Singa abeera ng’asaasaanidde mu bitundu by’omubiri okugeza mu magumba eddagala erikendeeza obulumi n’obujjanjabi obulala bisobola okubeera eby’omugaso. Ebivaamu mu bujjanjabi buno bisobola okuyitamu okusinziira ku myaka omuntu gy’alina wamu n’ebizibu by’obulamu ebirala wamu n’engeri kookolo ono gy’asasaanyeemu oba gy’akosezzaamu omubiri.
Kookolo w’obusajja mu nsi yonna
kyusaMu nsi yonna kookolo ono akwata ekifo kyakubiri era ng’akwata kya kutaano mu bika bya kookolo ebisinga okutta abasajja mu nsi yonna. Mu mwaka gwa 2012 yakwata abntu akakadde kamu n’emitwalo kkumi era ng’emitwalo 307,000 be baalusuulamu akaba. Ye kookolo eyali asinga mu basajja okwetoloola amawanga 84 naddala mu nsi ezaakula. Omuwendo gw’abantu gugenze gweyongera mu mawanga agakyakula. Okukebera kookolo ono kwayongerwamu amaanyi mu myaka gya 1980 ne 1990. Mu kutunuulira abasajja abafa nga bafudde ndwadde ndala, ebitundu 30-70% bazuulibwa nga baalina kookolo ono naddala abo abaali basusse emyaka 60.