Kyokuhairwa Kyaka Viccy (yafa 2008), era amanyiddwa nga Vicky Kyaka Kyokuhairwa, yali munnabyabufuzi wa Uganda mu Palamenti ya Uganda ey'omunaana ng'akiikirira Disitulikiti y'e Isingiro. Ye kansala wa Bukanga eyasooka mu myaka egya 90.

Obulamu bw'ebyobufuzi

kyusa

Kyokuhairwa yawangula okulonda kwa 2006 mu kifo ky'omukyala mu disitulikiti ye Isingiro n'obululu 94,258. eyamuddirira Kyokuhairwe Stella Masiko Kafureka yafuna obululu 10,739, ate Biriwuija Edith Mwebaze n'afuna obululu 7,571.[1]

Mu 2008, Vicky yafa n'abafumbo awamu n'abantu abalala babiri oluvannyuma lw'emmotoka yaabwe okukoonagana ne loole ya Fuso e Rubaale ku luguudo lwa Kabale-Mbarara. Ababala abaafa kwaliko Mathias Mulumba ne mukyala we Winnie.[2] Winnie Kyokuhairwa yali wamu ne nnyazaala we era yaweebwa ekitanda mu ddwaliro lya Nkozi.

Palamenti era yasiima Viccy. ekyatwalibwa Nnampala wa gavumenti, Kabakumba Matsiko, eyategeeza nti omugenzi yali mukozi omunyiikivu, omukyamufu era omwesigwa eri ekibiina ekifuga ekya National Resistance Movement.[3] Vicky era yali amanyiddwa ababaka abalala ng'omuntu yagala eby'enkulaakulana era n'ogwo mukubiriza omukulu eyali akkiririza mu bumu bw'amaka n''emirembe, omukyala ow'amaanyi, omuteesa w'amateeka omukulu eyali eky'okulabirako eri abakyala bangi mu palamenti mu nkola y'ebibiina eby'enjawulo era omusabi eyalina enkolagana ku b'enju ye n'ekitundu.[3]

Ng'ali mu Palamenti, yaweereza ng'omubaka ku kakiiko ka palamenti ak'eby'okwerinda n'ensonga ez'omunda, eby'obugagga eb'omuttaka n'akakiiko akavunaanyizibwa ku kubalirira n'okulondoola eby'ensimbi.

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :2
  3. 3.0 3.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0