Lambert Bainomugisha
Lambert Bainomugisha yazaalibwa nga 12 Ogwomusanvu mu 1961, nga Munnayuganda Munadiini mu Klezia, ng'akola nga Ssaabasuumba w'Obusaabasuumba bw'e Mbarara,mu Uganda, okuva mu 25 Ogwokuna mu 2020. Baamuteeka mu kifo kino mu butongole nga Ssaabasuumba w'Obusaabasuumba oluvannyuma nga 20, Ogwomukaaga mu 2020.[1]
Obulamu bwe n'okubeera faaza
kyusaBainomugisha yazaalibwa nga 12 Ogwomusanvu 1961 e Kashumba, esaawa eno gyebayita Disitulikiti y'e Isingiro mu bitundu by'Obugwanjuba bwa Uganda. Baamukakasa okubeera faaza nga 13 Ogwomusansu, 1991e Mbarara. Yawereza nga faaza mubu Ssaabadinkoni w'e Mbarara okutuusa nga 2 Ogwomusanvu, 2005. Ku lunaku lweyalondebwa okubeera omusuumba. [1] Ssaabsuumba Bainomugisha yalina diguli mu by'okumannya n'okutegeera amateeka akafuga n'okudukanya Eklezia, gyeyafuna okuva kutendekero lya Saint Paul University, mu kibuga Ottawa e Canada.[2]
Nga omusuumba
kyusaYaweebwa ogw'okubeera omuyambi w'omusuumba w'Obusaabadinkoni bw'Eklezia y'e Mbarara, nga 2 Ogwomusanvu, 2005.[3] Yatikirwa okubeera omusuumba nga 1 Ogwekumi, 2005 e Mbarara nga kino kyakolebwa Ssaabasuumba Paul Kamuza Bakyenga, Ssaabasuumba w'e Mbarara, nga ayambibwako Ssaabasuumba John Baptist Kakubi†, Ssaabasuumba Emeritus ow'e Mbarara ne Ssaabasuumba Callistus Rubaramira, omusuumba w'e Kabale.[1]
Yaweebwa ku ky'Obwa Ssaabasuumba mu busaabadinkoni bwebumu nga 25 Ogwokuna mu 2020, Paapa Francis yakiriza okulekulira kwa Paul Kamuza Bakyenga, eyali awezezza emyaka 75 egy'okuwumula, nga 30 Ogwomukaaga mu 2019.[4]Yateekebwa mu kifo nga Saabasuumba nga 20 Ogwomukaaga mu 2020 e Mbarara .[5][6]
Laba ne bino
kyusaEbijuliziddwaamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bbaino.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-18. Retrieved 2024-09-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.fides.org/en/news/5238-AFRICA_UGANDA_The_Pope_appoints_new_Auxiliary_of_Mbarara
- ↑ https://www.independent.co.ug/appointment-of-bishop-lambert-bainomugisha-excites-clergy-christians/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Mbarara-gets-new-archbishop/688334-5579802-1ofbkdz/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1521212/archbishop-bainomugisha-scientific-installation-underway