Lawrence Mukasa musumba wa Roman Catholic mu Uganda, akola nga Omusumba w'essaza ly'e Kasana-Luweero, okuva nga 5 Ogwomunana 2023. [1] Yalondebwa okuba omusumba era nga Paapa Francis yamulonda nga 29 Ogwokkuna 2023. Nga tannalondebwa ku bu busumba bwa Kasana-Luweero, Monseigneur Lawrence Mukasa yaliko Vicar-General w’essaza ly’e Kiyinda-Mityana, mu Uganda. [2]

Obulamu bwomubuto n’okusoma

kyusa

Mukasa yazaalibwa nga 14 Ogwokussatu 1957, [1] ku kyalo Nabwiri, mu Disitulikiti y’e Mityana mu Buganda e Uganda. [1] [2] Ekyalo Nabwiri, era kiyitibwa ekyalo Nabwiri-Kangundu. [lower-alpha 1] Ekifo kino kiri mu Ssaza ly’Abakatuliki b’e Kiyinda-Mityana . [3]

Yasomera mu Kakindu Primary School okuva mu 1964 okutuuka mu 1969 ne Nswanjere Preparatory Seminary okuva mu 1969 okutuuka mu 1970. Oluvannyuma yayingizibwa mu Seminariyo e Kisubi Minor , yasomerayo okuva mu 1971 okutuuka mu 1976., [2]

Yakkirizibwa mu National Major Seminary Katigondo, gye yasomera eby’obufirosoofo, wakati wa 1977 ne 1980. Oluvannyuma yakyuka n’agenda mu St. Mary’s National Seminary e Ggaba, mu Kampala, gye yasomera eby’eddiini okuva mu 1981 okutuuka mu 1984. Okuva mu 1990 okutuuka mu 1992, yasoma "Studies of History of the Church" mu Pontifical Gregorian University e Roma, Italy.

Obusaserdooti

kyusa

Yatuuzibwa ku busaserodooti nga 24 Ogwomukaaga 1984 ku Mwera Parish, nga yatuuzibwa Emmanuel Wamala, Omusumba w’e Kiyinda-Mityana. Omusasrodooti Lawrence Mukasa yaweereza mu mirimu egy’enjawulo nga Omusaserodooti w’essaza lyabakatuliki ly’e Kiyinda-Mityana. Yakola nga Vicar-General wa Kiyinda-Mityana okuva mu 2005 okutuuka mu 2023, lwe yalondebwa okuba omusumba w’e Kasana-Luweero. [2]

Nga omusumba

kyusa

Yalondebwa okuba omusumba w’essaza ly’e Kasana-Luweero, nga 29 Ogwokkuna 2023. Yatukuzibwa ng’omusumba nga 5 Ogwomunana 2023 e Kasana-Luweero, nga yatuzbwa Ssaabasumba Paul Ssemogerere owa Kampala, ng’ayambibwako SsaabasumbaLuigi Bianco omubaka wa Paapa mu Uganda n’Omusumba Joseph Anthony Zziwa owa Kiyinda-Mityana . [2]

Omusumba Lawrence Mukasa yassikira obusumba buno okuva ku Monsignor Francis Xavier Mpanga, omuddukanya w'essaza ly’e Kasana-Luweero. Omusaserodooti Mpanga yaweereza ng'omuddukanya obulabirizi okuva nga 28 Ogwoluberyeberye 2022 omusumba w'essaza eyasembayo Paul Ssemogerere lwe yasitulwa n'atuusibwa mu kifo ky'alimu kati nga Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya abakatoliki mu Kampala . [2]

Laba nabino

kyusa
  • Abajulizi ba Uganda
  • Obukatoliki bwa Roma mu Uganda

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 https://www.catholic-hierarchy.org/bishop/bmukasa.html
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/pope-appoints-mukasa-new-bishop-for-kasana-luweero-diocese-4217450
  3. https://ugandancatholicsonline.com/who-is-msgr-lawrence-mukasa-newly-appointed-bishop-of-kasana-luweero-diocese