Leila Kalanzi Kachapizo
Leila Kalanzi Kachapizo (yazaalibwa nga 5 Ogwekkumineebiri gwa 1979), MunnaUganda kazanyiikirizi , omuzannyi wa firimu, omukozi enviiri era omukozi ku ttivi ne leediyo.[1] Asinze kumanyika lwa kukola ku leediyo ne ttivvi ezenjawulo mu Ugandan.[2]
Obulamu bwe
kyusaKalanzi yazaalibwa nga 5 Ogwekkumineebiri 1979 mu kifo awatundibwa eddagala ekisangibwa ku Nakivubo Mews, mu disitulikiti y'eMasaka , mu masekkati ga Uganda. Yazaalibwa omukyala Hajjat Hamida Nalwoga. Baabazaala bana; okuli abawala basatu n'omulenzi omu kati omugenzi. Yakula na maama we ne baganda be. Kitaawe yabaleka akyali muto. Maama we yafuna akabenje naalumizibwa nnyo era yamala mu ddwaliro emyezi esatu.[3] Kitaawe Hajj Abdul Kalanzi yafa nga 23 Ogwekkumi, 2018 nga eky'avaako okufa kwe tekyamanyibwa. Yaziikibwa ku kyalo Nkoowe, ekisangibwa mu Disitulikiti y'eWakiso nga 24 Ogwekkumi, 2018.[4]
Omulimu gwe
kyusaOkusoma kwa Pulayimale yakumaliririza ku ssomero lya St. Anne's Preparatory erisangibwa e Kabowa. Oluvannyuma neyeeyunga ku Pride Academy ne Nakivubo Settlement gyeyalina okusomera okutuuka ku siniya ey'okuna.[3] Wabula ate, yafuluma essomero naatandika omulimu gw'okuzannya. Olw'ekigendererwa ekyo, yeeyunga ku kibiina ky'aBakayimbira drama actors.[5] Nga ali mu kibiina kino, yasisinkana omwami, Charles Senkubuge, eyayongera okumubangula mu mulimu ogwo.[6]
Yafuna omukisa okugendako ebweru mu nsi ya Netherlands nga bali ne John Segawa neekibiina kyonna okuzannya. Yakomawo e Uganda nga omulimu ogwamutwala tegunnaggwa. Bwe yakomawo, yafuna omulimu ku Radio Simba esangibwa e Bukoto ng'omuweereza. Nga wayise emyezi mitono nga ali ku mulimu guno, yakyusa nadda ku leediyo endala eya CBS radio esangibwa mu masekkati ga Uganda. Eno yakolerayo okumala emyezi mukaaga oluvannyuma naasalawo okuddayo e Netherlands okukola. Nga azzeeyo yeenyigira mu mirimu egy'abulijjo omwali okukola ku nviiri.[7] Ebyembi, yasibibwa olw'okulwa mu nsi eno era ne bamutika nebamukomyawo okwaboobwe.[6]
Nga akomyewo, yafuna omukisa okukola ku Bukedde FM. Mu Gw'okutaano gwa 2019, yafuna omulimu omulala ku ttivvi ya Sanyuka, oluvannyuma naavaayo olw'obukuubagano naabakulu.[6][8][9]
Firimu zaazannye eziragibwa ku ttivvi
kyusaOmwaka | Firimu | Ekifo | Notes |
---|---|---|---|
2021 | Sanyu | TV Series showing on Pearl Magic Prime | |
2008 | Emboozi Zabagalana | Bukedde TV 1 |
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-12. Retrieved 2022-12-12.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://entebbenews.net/bukedde-tv-kacapizo-flees-for-kyeyo/
- ↑ 3.0 3.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/forget-about-fetching-water-the-well-was-the-perfect-excuse-to-play-1536936
- ↑ https://newslexpoint.com/leila-kalanzi-dad-confirmed-dead/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/entertainment/two-theatre-giants-meet-on-stage-in-bunkenke-1477310
- ↑ 6.0 6.1 6.2 http://theguptareport.blogspot.com/2019/06/biography-inspiring-story-of-leila.html
- ↑ http://www.sunrise.ug/gossip/201906/leila-kalanzi-regrets-bleaching.html
- ↑ http://dev.pastoepizzas.com.br/leila-kalanzi-kachapizo-mulamu-akiguddeko-leero-luno-just-4-smile/
- ↑ https://i--kachapizo--latest--ugandan--comedy--comedy--fiesta-mp3hq-co.translate.goog/?_x_tr_hp=leila--kalanz&_x_tr_sl=ru&_x_tr_tl=en&_x_tr_hl=en&_x_tr_pto=nui,sc