Lillian Tindyebwa Munnayuganda, muwandiisi abeera mu Kampala. Ye muwandiisi w'ebitabo eby'amaanyi ng'akatabo ka Recipe for Disaster,[1] akafulumizibwa mu 1994 ng'ekitundu ku butabo bwa bw'abavubuka Fountain. Y'omu ku bammemba b'ekibiina kya FEMRITE,[2] era omutandisi w'ekitongole ky'abawandiisi ekya Uganda Faith Writers Association.[3]

Obuto bwe n'emisomo gye kyusa

Lillian Tindyebwa yagamba nti: "okuwandiika y'akuggya mu kusoma era yakula asoma bitabo ewaka. Taata wange omugenzi yali musomesa w'aLungereza newankubadde teyawandiika, yasoma nnyo. Bwennali mu pulayimale, nzijukira okusanga ekiwandiiko ekikadde ekikwata ku Bunyan's Pilgrims Progress mu bintu bye n'ekisoma. Nnali nalowooza okubeera omuwandiisi naddala mu siniya. Ku lw'ensonga ezitamanyikiddwa, olw'okubulwa abantu abamweombesa, Ssasobola kufuna mukisa kuwandiika okutuusa edda mu bulamu."

Alina Diguli ya MA in literature okuva ku Ssettendekero wa Makerere, Kampala, Uganda.

Emirimu gye egy'obuwandiisi kyusa

Akatabo ka Tindyebwa aka Recipe for Disaster (1994), akafulumizibwa aba Fountain Publishers, kakozesebwa mu masomero ga Ssekendule mu Uganda. K'ekamu ku butabo obw'obutundu obw'abavubuka (Fountain youth series). Awandiise obutabo bw'abaana busatu: A Day to Remember (2008), A Will to Win (2008) ne Maggie’s Friends (2008). Bwafulumizibwa aba Macmillan Publishers. Olugero lwe olumpi olwa "Looking for my Mother" lw'afulumizibwa mu kitabo ky'ebiwandiiko by'abawandiisi ab'amaanyi ekya FEMRITE, A Woman’s Voice. Endala emboozi enyimpi mu bitabo by'abawandiisi ebikungaanyiziddwa ebya FEMRITE mulimu: "Hard Truth" in Words from a Granary, "Endless Distance" in World of their Own, "Just a Note" and "Gift of a Letter", included in Talking Tales. True life stories of women, nga nakyo ky'afulumira mu bitabo bya FEMRITE mulimu "Betrayed by Fate", "Beyond the Dance and the Music", ekikwata ku FGM mu Kapchorwa, Buvanjuba bwa Uganda, ne "Dance with a Wolf" in I Dare to Say.[4][5] Yali musomesa mu musomo ogwali ku Littworld 2012, mu Nairobi.[6]

Emirimu emirala kyusa

Okuva mu 2009 yali mmemba ku kakiiko k'abalamuzi abaali mu mpaka za Burt Award for African Literature for Children's Book Project for Tanzania, nga z'avugirirwa aba CODE Canada.[7] Era yayambako mu kutendeka abawandiisi abaali bazetabyemu mu kuwandiika okw'ekikugu. Ye Dayilekita w'ekitongole ky'abawandiisi ekya Uganda Faith Writers Association,[8] Ekitongole ekitendeka n'okuzimba empandiiko y'Ekikulisitaayo n'okubifulumya.

Aweereza nga lekikyala w'essomo lya Litulikya n'ennimi ez'enjawulo ku Kabale Yunivasite mu Bukiikaddyobwobuggwanjuba bwa Uganda.[9]

Mufumbo eri Stephen era balina abaana bataano. Abeera mu Kampala, Uganda.

Ebitabo bye eby'afulumizibwa kyusa

Obutabo kyusa

  •  

Ebitabo by'abaana kyusa

  • A Time to Remember, Macmillan Publishers, 2008.
  • Maggie's Friends, Macmillan Publishers, 2008.
  • A Will to Win, Macmillan Publishers, 2008.

Emboozi ennyimpi kyusa

  • "Endless Distance", in  (2012). Word of Our Own and other stories. Femrite Publications. ISBN 9789970700257.
  • "Beyond the Music and the Dance", in  (2012). I Dare Say: African Women Share Their Stories of Hope and Survival. Chicago: Lawrence Hill Books. ISBN <bdi>978-1-56976-842-6</bdi>.
  • "Life Goes On", and "The Second family", in  (2011). Never Too Late. Femrite Publications. ISBN 9789970700233.
  • "The Hard Truth", in  (2010). Tales from my Motherland. The Jomo Kenyatta Foundation, Nairobi, Kenya. ISBN 9789966228451.
  • "One Day in the Classroom", in  (2009). The Butterfly Dance: words and sounds of colour. Femrite Publications. ISBN <bdi>978-9970-700-18-9</bdi>.
  • "Mocked by Fate", in  (2009). Beyond the Dance: Voices of women on female genital mutilation. Femrite Publications. ISBN 9789970700196.
  • "Just a Note", in  (2009). Talking Tales. Femrite Publications. ISBN 9789970700219.
  • "Hard Truth", in  (2001). Words from a Granary. Femrite Publications. ISBN 9789970700011.
  • "Looking for My Mother", in  (1998). A Woman's Voice. Femrite Publications. ISBN 9789970901036.
  • "Wind under my sails"

Ebitontome kyusa

Ebijuliziddwamu kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya kyusa

Lua error: Invalid configuration file.

  1. http://www.africabookclub.com/?p=12713
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2014-10-11. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://littworld.org/purpose-driven-publishing-in-uganda-an-interview-with-author-lillian-tindyebwa/
  4. http://www.transculturalwriting.com/Footsteps/?page_id=105
  5. http://afrolit.com/femrite-s-lillian-tindyebwa/1041/l.aspx
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2016-09-13. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://web.archive.org/web/20140517160436/http://www.codecan.org/burt-award/tanzania/jury
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2014-05-17. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. http://www.transculturalwriting.com/LUFWP/content/Lillian_Tindyebwa.htm