Lilly Adong (yazaalibwa nga 2 Ogwokubiri mu mwaka gwa 1976) Munnayuganda ow'ebyobufuzi era mmemba wa Paalamenti okuva mu 2011, aweereza nga omubaka omukyaala akiikirira distulikitti y'e Nwoya mu Paalamenti ya Uganda.[1]

Lilly Adong
Member of the Parliament of Uganda
Incumbent
Assumed office

2011
Personal details
Born 2 February 1976
Citizenship Ugandan
Nationality Ugandan
Political party Independent politician
Education Makerere University

Institute of Housing & Urban Development Studies in Rotterdam

Law Development Center, Kampala

Uganda Management Institute
Occupation Politician

Munnabyabufuzi ayimiriddewo ku lulwe nga tali mu kibiina ky'abyabufuzi kyonna.

Emisomo kyusa

Adong yafuna diguli ye eya Bachelor's mu by'enjigiriza bya arts mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere] mu 2000. Mu 2003, yaweebwa dipulooma mu strategic environmental education okuva mu ttendekero lya Institute of Housing & Urban Development Studies mu Rotterdam.

Oluvanyuma, mu 2005, yafuna satifikeeti mu by'amateeka mu Law Development Center mu Kampala.[2]Mu 2008, yakola postgraduate dipulooma mu kugonjoola obutabanguko n'emisomo gy'eddembe ku Yunivasitte y'e Gulu. Mu 2010 yakola postgraduate dipulooma mu public administration ne management mu ttendekero lya Uganda Management Institute. Yakola masters mu public administration n'okudukanya emisomo ku ttendekero lya Uganda Management Institute mu 2014.

Obuvunaanyizibwa obulala kyusa

Yaweereza nga avunaanyizibwa ku kwetegekera ebigwa bitalazze District Disaster Preparedness Coordinator mu yafiisi ya prime minister mu Disituliktti y'e Amuru okuva mu 2009 okutuusa 2010.[3]

Okuva mu mwaka gwa 2003 okutuusa 2009, yaweereza nga omumyuuka w'omuwandisi omukulu mu Gavumenti za Wansi mu Amuru ne Distulikitti y'e Gulu.[1]

Okuva mu 2006 okutuusa mu 2007, yaweereza nga clerk wa council (Gavumenti ya wansi mu disitulikitti y'e Amuru ).[4]

Ebijuliziddwa kyusa