Louis A. Kasekende mukugu mu by'enfuna Munnayuganda, akola nga yakulira emirimu mu kitongole kya Macroeconomics and Financial Management, Institute of Eastern & Southern Africa (MEFMI), ekisangibwa mu Harare, Zimbabwe, okuva nga 1 Ogwokunna2021. [1]

Ekyo nga tekinnatuuka, yaliko omumyuka wa Gavana wa Bank of Uganda, banka enkulu mu ggwanga . Yatandika ekisanja kye eky’emyaka etaano mu kifo kino nga 18 Ogwoluberyeberye 2010. Guno gwali mulundi gwakubiri nga alondebwa mu kiffo kino, ng’aweereza mu kifo kye kimu okuva mu 1999 okutuuka mu 2002. [2]

Okusoma

kyusa

Kasekende alina diguli ya Bachelor of Arts ( BA ) mu by'enfuna okuva mu Makerere University, yunivasite esinga obukadde mu Uganda . Diguli ye eya Master of Arts ( MA ) ne Doctor of Philosophy ( PhD ), zombi mu by’enfuna, zaafunibwa okuva mu University of Manchester mu Bungereza . [3]

Ebyafaayo by’emirimu

kyusa

Okuva mu 1988 okutuuka mu 1994, Kasekende yakola ng’omusomesa ow’ekiseera mu Makerere University . Yeegatta ku Banka enkulu muUganda mu 1986 n’aweereza mu bifo eby’enjawulo omuli [4] Akulira eby’okunoonyereza, Avvunanyizibwa ku by’okunoonyereza n’enkola era n’omumyuka wa Gavana. Wakati wa 2002 ne 2004, Kasekende yasindikibwa gavumenti ya Uganda mu Bbanka y’ensi yonna okuweereza nga Akulira emirimu mu Banka y’ensi yonna, ng’akiikirira amawanga abiri mu abiri mu Afrika omuli ne Uganda, ku lukiiko olufuzi olwa banka eno.

Okuva mu Gwokutaano 2006 okutuuka mu 2009, yaweereza mu biffo ebyenjawulo okugeza African Development Bank (AfDB), mu Tunis, Tunisia, nga Akulira ebyensimbi . Mu kiseera kye, amanyiddwa olw’okukulembera mu kaweefube wa AfDB okuyamba ebyenfuna bya Afrika okugumira obuzibu bw’ebyenfuna by’ensi yonna. Mu Gwoluberyeberye 2010, Kasekende yaddamu okulondebwa okuba omumyuka wa Gavana wa Banka enkulu mu Uganda, okuweereza emyaka etaano egyaddirira. [5]

Mu Gwoluberyrberye 2020, ekisanja kye ekyokubiri eky’omuddiring’anwa ng’omumyuka wa Gavana wa Bank of Uganda bwe kyaggwaako, era nga tewali kiraga nti agenda kuddamu okulondebwa, Louis Kasekende wofiisi yagikwasa mukama we mu kiseera ekyo, omugenzi Emmanuel Tumusiime Mutebile, . n’ava mu bbanka enkulu. [6]

Ebimukwatako

kyusa

Kasekende mufumbo ne Edith Kasekende, era bonna bazadde ba baana basatu. Awandiise nnyo ku nsonga ez'enjawulo ez'ebyenfuna era emirimu gye gifulumiziddwa nnyo mu mikko n'ebitabo . [7]

Laba nabino

kyusa
  • Banka ya Uganda
  • Bbanka ya Africa ey'enkulaakulana
  • Bbanka y’ensi yonna
  • Emmanuel Tumusiime-Mutebile
  • Olukalala lwa banka mu Uganda

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/125391
  2. https://web.archive.org/web/20140810185306/http://www.newvision.co.ug/D/8/220/707335
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-03. Retrieved 2024-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://www.new-rules.org/what-we-do/fsb-unlocking-the-black-box/hlp-on-fsb-governance/346-louis-a-kasekende-
  5. http://allafrica.com/stories/201001280126.html
  6. https://www.pmldaily.com/news/2020/01/end-of-an-era-deputy-governor-kasekende-hands-over-office.html
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision