Lowilo CD Oketayot (yazaalibwa nga 24 Ogw'ekuminogumu mu 1969) Munnayuganda omukenkufu mu by'okulima, ow'ebyobufuzi, era omukozi w'amateeka.

Ebimukwaatako kyusa

Lowilo CD Oketayot (yazaalibwa nga 24 Ogw'ekkuminogumu mu 1969) Munnayuganda omukenkufu mu by'enimiro, munnabyabufuzi, eraomukozi w'amateeka. Mmemba wa Paalamenti ya Uganda akiikirira abantu b'omu Disitulikitti y'e Pader nga omubaka wa distulikitti okuva mu 2011.[1] Mmemba w'ekibbina kya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement](NRM),[2] ekibiina eky'obufuzi ekifuga mu Uganda [3] wansi w'obukulembeza bwa ssentebe Yoweri Kaguta Museveni, Pulezidenti w'eGwanga lya Uganda.

Emisomo kyusa

Oketayot yatandika emisom gye ejya pulayimale okuva mu somero lya Oppette Primary School natuula ebigezo bye ebimaliriza pulayimale ebya primary leaving examinations(PLE) mu 1982, yasoma emisomo jya O' level okuva mu somero lya Sacred Heart Secondary School Gulu eyo gye yakolera satifikeeti ye eya Uganda certificate of education(UCE) mu mwaka gwa 1986,[4] yewandiisa ku somero lya Kitgum High School okusoma emisomo gye egya A' level era n'amaliriza satifikeeti ye eya Uganda advanced certificate of education(UACE) mu mwaka gwa 1990. Yakola satifikeeti mu by'obulimi okuva mu Bukalasa agricultural college mu mwaka gwa 1994 era ne dipulooma mu by'obulimi mu ttendekero ly'elimu mu 1996. Yegatta kuYunivasitte y'e Makerere era n'atikibbwa ne diguli ya sayansi mu by'obulimi mu 2007 era n'agatako diguli ya master's degree mu by'enfuna y'ebyobulimi okuva mu Yunivasitte y'e Makerere mu 2015.

Emirimu kyusa

Oketayot abadde Mmemba wa Paalamenti ya Uganda okuva mu 2011,[5] Yali manager w'ebyobulimi mu ZOA Uganda okuva mu 2009 okutuusa 2010 n'akwasaganya eby'obulimu mu ZOA Uganda okuva mu 2008 okutuusa 2009.[6] Yakola nga avunaanyizibwa ku bya puloojyekiti mu AIDS care education and training(ACET) Uganda okuva mu 1996 okutuusa 2001, era n'akola nga offiisa wa pulogulaamu za ACET Uganda okuva mu mwaka gwa 2001 okutuusa 2003.

Mu Paalamenti ey'ekumi, yaweereza nga ssentebe w'akakiiko ku makolero g'ebyobulunzi bw'ebisolo n'ebyokuvuba ebya agriculture animal industry and fisheries.[7] era mmemba w'akakiiko k'ebya bizinensi.[8] Era akyiikirira ebintu by'omumambuka mu kibiina kya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) executive.[9]

Ebyawandiikibwa kyusa

  1. http://parliamentofuganda.nwtdemos.com/find-an-mp
  2. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=52
  3. https://www.nrm.ug/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2024-04-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=52
  6. https://issuu.com/zoa-vluchtelingenzorg/docs/zoa-vluchtelingenzorg-jaarverslag-eng-2009
  7. http://www.sunrise.ug/news/201808/agriculture-committee-strives-to-restore-sector-to-rightful-place.html
  8. https://www.parliament.go.ug/committee/2734/business-committee
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-06. Retrieved 2024-04-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)