Lukia Isanga Nakadama
Lukia Isanga Nakadama, nga ebiseera ebisinga baliwandiika nga Rukia Isanga Nakadama, Munayuganda Omukyala eyeekolera bizineensi zze, nga musomesa wamu n'okubeera unabyabufuzi. Esaawa eno ye mumyuka wa Saabaminisita wa Uganda ow'okusatu, ng'era ye Minisita atalina kifo kyankalakalira kyatwala, okuva nga 9 Ogwomukaaga mu 2021.[1]
Nga tanafuna kifo ekyo, yali awereza nga Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kikula ky'abantu wamu n'eby'obuwangwa mu Kabineeti ya Uganda. Yaweebwa ekifo kino mu 2006.[2] Mu kukyusa kyusa kabineeti nga 16 Ogwokubiri mu 2009,[3]wamu n'eya 27 Ogwokutaano mu 2011,[4]yaddamu okufuna ekifo kye mu kabineeti. Ye mubaka wa Paalamenti Omukyala omulonde akiikirira Disitulikiti ye Mayuge. Abadde alondebwa ng'akomawo mu kifo kino okuviira ddala mu 2001.[5]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
kyusaIsanga Nakadama yazaalibwa nga 2 Ogwokubiri mu 1970. Yakuzibwa mu famire eyalimu abakyala abawera, nga yeeyali omwana ow'omukaaga, ku 12 maama we beyali yazaala. Taata we yalina abakyala babiri. Yasomera ku Nabisunsa Girls School, esomero lya gavumenti nga lirina eby'enjigiriza ebiri eby'awakati n'ebya wagul, nga lisinganibwa mu munisipaali y'e Nakawa mu bukiika ddyo bw'omubuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Yafuna satifikeeti mu Busomesa. gyeyayongerezaako mu 1999, okuva mutendekero lya Institute of Teacher Education Kyambogo (ITEK), nga kati kyafuuka kitundu ku Yunivasite y'e Kyambogo, nga y'emu ku yunivasite za Uganda omunaana eza gavumenti, okutuuka mu Gwokubiri mu 2015. Alina Dipulooma ku kwekaanya eby'amaguzi ebiyingira nokufuluma eggwanga, ng'eno yagifuna mu 2004, okuva ku Islamic University in Uganda (IUIU). alina ne Diguli mu by'enjigiriza mu kudukanya eby'embeera z'abantu okuva ku IUIU.[5]
Emirimu gye
kyusaMu kusooka mu 2001, yalinako bizineensi nga yabwanannyini, era nga omusomesa ku Hassantourabi Education Centre mu Disitulikiti ye Mayuge. Baasooka okumulonda mu Paalamenti mu 2001, nga Omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti ye gyebamuzaala ey'e Mayuge. Mu 2006, baddamu nebamulonda okusigala nga akiikirira konsitituweensi eno. Baamuteeka mu kifo kya kabineeti kyalimu kati mu 2006.[5]
Ebimukwatako ng'omuntu
kyusaRukia Nakadama wanzikiriza ya kiyisiraamu. Mukyala mufumbo, nga baawe ye Hajji Daudi Isanga. Ali mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement[5]
Laba ne bino
kyusaEbijuliziddwaamu
kyusa- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/105545
- ↑ https://web.archive.org/web/20150226063838/http://www.newvision.co.ug/D/8/17/713136
- ↑ https://web.archive.org/web/20150213214754/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671730
- ↑ https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
- ↑ 5.0 5.1 5.2 5.3 http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?details=t&j=87&const=Woman+Representative&dist_id=29&distname=Mayuge