Lumala Abdu, yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 21 mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 1997, munayuganda azannya omupiira ogw'ensiimbi ng'omuteebi mui kiraabu esingaanibwa mu Misiri eyitibwa Pyramids n'e ttiimu ya Uganda ey'eggwanga.

Bw'akoze mu kiraabu gy'azannyidde

kyusa

Mu myaka egyasooka

kyusa

Abdu yakula ne jjajja we omukyala mukyalo kyebayita Kataba okuva maama we bweyafa ng'akyalina emyezi mito ,kuba kitaawe yali tamannyikiddwa.[1] Bweyawezza emyaka 10, yaweebwa esaati y'omujoozi gwa Henrik Larsson- ng'ekirabo ky'amazaalibwa nga kino ssenga we yeyakikola. Neesuubi ery'okubeera n'obulamu obweyagaza, jjajja we yamusindika mu kibuga kya Kampala, bweyali awezezza emyaka 16. Abdu yakola emirimu mingi nga muno mwemwali ogw'okubeera kanaabwe oba ogw'okwooza emmotoka nga tanaba kusisinkana bazungu baali bava bulaaya, abaasobola okufunira ennyonyi eyamutwala ku kisaawe kya Sturup Airport.

Sweden

kyusa

Yalekebwa yekka ku nguudo z'ekibuga kya Malmö ng'eno gyeyakwataganira n'abavunaanyizibwa ku by'abantu abava mu mawanga g'ebweru nebasenga mu malala aba Migrationsverket. Bano baasobola okufunira Abdu weyali abeera mu kabuga akatono aka Bromölla. Eno gyeyatandikira okuzannyira kiraabu y'ekyalo eya Ifö/Bromölla eyali ezannyira mu kibiinja kya Sweden eky'okutaano, wabula oluvannyuma lw'okubeera nga yali tasobola kufuna ngato zakuzannyiramu mupiira, ye ne mukwano gwe baagenda mu kibiinja eky'omwenda mu kiraabu gyebaali bayita Gualövs GoIF. Eno baamufulirawo kapiteeni wa ttiimu, ng'oluvannyuma lw'okubateebera ggoolo 20 mu mipiira 10, ttiimu y'ekyalo nga nene eya Mjällby AIF yamuwa endagaano mu kyeya ky'omwaka gwa 2014.Yabazannyira omwaka gwonna ogwali gusigaddeyo ng'ali ne ttiimu y'abali wansi w'emyaka 17 ne 19. Nga sizoni eddako tenaba, Abdu yatwalibwa ku ttiimu enkulu eyali ezannyira mu kibiinja eky'okubiri eky'eggwanga lya Sweden gyebayita Superettan. Yakakasa bweyateeba ggoolo 3 mu mipiira 24 ng'alina emyaka 17 sizoni bweyali etandika. Engaambo z'ekitone kye zaabuna nga kiraabu nga Malmö FF ne Olympiacos zaali zaagala okumukaansa.

Kiraabu ya Kalmar FF

kyusa

Abdu yakomekerera ng'ali mu kiraabu y'ekibiinja kyawagulu ekya Sweden gyebayita Kalmar FF, nga mu sizoni ye eyali esooka yazannya emipiira 10 egya liigi.

Bweyagenda ku bwazike

kyusa

Nga beetegekera sizoni ya 2017, Abdu yawerezebwa ku bwazike mu ttiimu ya Superettan club gyebayita Varbergs BoIS. Oluvannyuma lw'ekitundu kya sizoni ng'ali ne kiraabu eno, yaddayo mu gybayita Kalmar F, abaddamu nebamugaba ku bwazike neera nga mukaseera kano, baamusindika mu kiraabu y'omusambi gweyali asinga okwegoomba Henrik Larsson gyeyali yatandikira eya Helsingborgs IF. Yazannya omupiira gwe ogwali gusooka webaali battunka ne GAIS. Emabega w'esaati ya Abdu kwaliko ekigambo ekigamba "Lumalinho".[2]

Kiraabu ya Pyramids FC

kyusa

Mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 2019, Abdu yeegata ku kiraabu y'ekibinja kyababinywera eya Misiri gyebayita Pyramids FC ng'eno gyeyakwataganira n'eyaliko omutendesi we mu ttiimu ya Uganda ey'eggwanga Sébastien Desabre.[3]

Engeri gy'abadde akola ku mutendera gw'ensi yonna

kyusa

Yazannya omupiira gwe ogwali gusooka ku ttiimu y'eggwanga eya Uganda mu mwezi ogw'omukaaga ng'enaku z'omwezi 9 mu mwaja gwa 2019 mu mupiira ogwali ogw'omukano nga battunkja n'eggwanga lya Turkmenistan, nga yagutandika.[4]

Ebibalo bye ku ttiimu z'abadde azannyira

kyusa

Mu kiraabu

kyusa

Template:Updated[5]

Appearances and goals by club, season and competition
Kiraabu Sizoni Liigi Ebikopo Continental Other Total
Ekibiinja Emirundi gy'azannye Ggoolo Emirundi gy'azannye Ggoolo Emirundi gy'azannye Ggoolo z'ateebye Emirundi gy'azannye Ggoolo z'ateebye Emirundi gy'azannye Ggoolo z'ateebye
Gualövs GoIF 2014 Division 7 Blekinge 10 20 10 20
Mjällby AIF 2015 Superettan 24 3 3 1 2 0 29 4
Kalmar FF 2016 Allsvenskan 10 0 5 2 15 2
Varbergs BolS (Ku banja) 2017 Superettan 10 1 10 1
Helsingborgs IF (Ku banja) 2017 Superettan 10 1 10 1
IFK Varnamo (Ku banja) 2017 Superettan 22 0 2 0 2 0 26 0
Syrianska FC (Ku banja) 2019 Superettan 9 1 9 1
Career total 95 26 10 3 0 0 4 0 109 29

Ku mutendera gw'ensi

kyusa

Template:Updated[6]

Emirundi gy'azannyidde ensi ye wamu ne ggoolo zaatebedde ttiimu y'egwanga n'omwaka
Ttiimu y'eggwanga Omwaka Emirundi gy'azannyidde Ggoolo z'ateebye
Uganda 2019 6 0
Omugate 6 0
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.svenskelitfotboll.se/foraldralos-och-overgiven-nytt-superlofte/
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.aftonbladet.se/sportbladet/fotboll/a/029pM/det-ar-en-saga
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.kingfut.com/2019/07/31/pyramids-sign-hassan-lumala/
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.national-football-teams.com/matches/report/23234/Uganda_Turkmenistan.html
  5. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named sw
  6. Template:NFT