Lydia Chekwel (yazaalibwa nga 16 Ogwomunaana mu mwaka gwa 1964) Munnayuganda ow'ebyobufuzi era musomesa akiikirira Disitulikittie ya Kween nga omukyaala owa Disitulikitti omubaka Paalamenti ya Uganda ey'omwenda n'ekumi.[1][2][3] Yayimirira nga ow'ebyobufuzi ku lulwe mu Paalamenti ya Ugandaey'ekumi.[1] Naye, mu Paalamenti ey'omwenda, yali mu kibiina kya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement] eby'obufuzi.[1]

Emisomo kyusa

Mu mwaka gwa 1976, yamaliriza ebigezo bye ebya Primary Leaving Examinations okuva mu somero lya Moyok Primary School.[1] Mu mwaka gwa 1981, yafuna Uganda Advanced Certificate of Education okuva mu St Elizabeth Senior Secondary School, Kidetok.[1] Mu mwaka gwa 1988, yaweebwa Primary Teachers' Certificate okuva mu ttendekero lya Institute of Teacher Education Kyambogo era oluvanyuma nadayo mu Institute of Teacher Education Kyambogo okusoma Dipulooma mu Teacher Education mu mwaka gwa 2000.[1] Mu mwaka gwa 2008, yaweebwa diguli y'okusomesa okuva mu Yunivasitte ya Kyambogo.[1]

Emirimu gye nga taneegatta mu by'obufuzi kyusa

Okuva mu mwaka gwa 1988 okutuusa 2000, yali akola nga omusomesa ku Chemwania Primary School era okuvanyuma ne yegatta ku Kapchorwa Primary Teachers College nga tutor okuva mu mwaka gwa 2000 okutuusa 2011.[1]

Eby'obufuzi kyusa

Okuva mu mwaka gwa 2011 okutuusa kati, yali mmemba wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda.[1] Yaweereza ku professional body nga mmemba wa Red Cross era mmemba omujjuvu owa Teachers Association.[1] Yaweereza ne mu mirimu emirala mu Paalamenti ya Uganda ku kakiiko k'eddembe ly'abantu era ne ku kakiiko k'ebyokusoma n'emipiira.[1] Mmemba wa UWOPA eya Paalamenti ey'ekumi.[4]

Lydia Chekwel, akyaali omubaka omukyaala, okuva mu mwaka gwa 2011 avuganya muwala wa mulamu we, Rose Emma Cherukut, amanyikiddwa enyo nga Pakalast, eyali Resident District Commissioner (RDC) wa Kapchorwa.[5] Mu kulonda kwa 2021 elections, Chekwel yasalawo okuvuganya ku lulwe yekka nga amaze okuwangulwa Cherukut mu kulonda okusooka okw'ebibiina. Cherukut yafuna obululu 19,004 atte Chekwel n'afuna obululu 15,041.[5]

Obulamu bwe kyusa

Mufumbo eri Alfred Barteka, muganda wa Andrew Yesho, taata wa Ms Cherukut.[1][2] Lydia akola n'abakyaala n'abaana, asoma amawulire era alambula mu biseera bye eby'eddembe.[1] Alina okwagala okwenjawulo mu kulembera n'okubuulirira abakyaala n'abavubuka, okutegeka n'okuyamba abakyaala n'abavubuka, okuyamba entababuvobwawamu (communities) okuzimba amasomero n'Ekkanisa/Emizikitti.[1]

Laba ne kyusa

Ebijjuliziddwa wa bweru wa Wikipediya kyusa

Ebijuliziddwa kyusa