Template:Infobox school Makerere College School ssomero eriyambibwako gavumenti eririna amadaala okuli eya O ne A Level eryatandikibwawo Makerere University mu 1945. Mu 1945 Makerere University yali ekyakolera wansi wa University of London. Essomero liri ku campus enkulu eya Makerere University, okumpi ne College of Education and External Studies ku luguudo lwa Makerere Hill Road.

Ekifo

kyusa

Essomero lino liri mu ttendekero lya Makerere University, yunivasite esinga obukadde mu Uganda. Essomero liri mu nsonda y'obukiikaddyo bw'ebugwanjuba bw'ekisaawe kya yunivasite era liri ku nsalo ya yunivasite ey'ebyenjigiriza mu bukiikakkono, School of Fine Art mu buvanjuba, Makerere Hill Road mu bukiikaddyo, University Main Sports Grounds mu bugwanjuba, ne Mary Stuart Hall mu bukiikobukiikakkono bw'e bugwanjuuni. Ekifo kino kiri kkiro mmita nga 3.5 ( ze mmairo 2) mu bukiikakkono bw'ebugwanjuba bwa disitulikiti y'eby'obusuubuzi eya Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekisinga obunene. Ekifo ekikulu eky'essomero lya Makerere College School kiri 0°19'41.0"N, 32°34'04.0"E (Latitude:0.328056; 32.567778).

Ebirikwatako

kyusa

Essomero likola mu bifo bibiri: An A" Level Campus esangibwa mu Mulawa, Kira Town Council, Wakiso District, kumpi 14.5 kilometers (9 mi), mu bukiikakkono bwa buvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekibuga ekisinga obunene mu Uganda. Ekizimbe kya O-Level kye kisinga obunene, ekiri ku Makerere Hill, Kawempe Division, mu bukiikakkono bwa Kampala, ku ttaka lya Makerere University.