Manjeri Kyebakutika
Manjeri Kyebakutika mubaka wa Paalamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi n' ogumu era munaby'abufuzi akikirira Ekibuga kya Jinja mu Busoga.[1][2] Ali wansi wekibiina ki National Unity Platform (NUP).[3][4]
Eby'obufuzi
kyusaManjeri yalondebwa ekwegatta ku Paalamenti y'omulundi ogwe kkumi n'ogumu nga omubaka akyikirira Ekibuga kye Jinja mu Paalamenti.[2] Manjeri yateekebwaawo nga omumumyuka w'akwasisa empisa mu Paalamenti ya Uganda eye kkumi n'emu.[5][6][7] Yakwatibwa olw'okwambala akakofira akamyufu aka NUP bweyali nga ayogerako eri banamawulire oluvanyuma lw'omukolo ogwokujaguza amattikira ga Kyabazinga agasooka mulubiri lwe mu Jinja.[4][8][9] Nga amaze okukwattibwa, Manjeri yawaabira Poliisi ya Uganda olw'okumutulugunya nebamuletera obuvune mukifuba ne mumugongo.[10]
Emirimu gye emirala
kyusaManjeri yategeeza Paalamenti ya Uganda ku butali butebenkevu mu Kibuga kye Jinja olw'akasattiro akaaletebwa ab'ebijambiya abaali batiisatiisa okutta abantu kyoka poliisi yali tetekawo basirikale okuziyiza obulumbaganyi buno.[1][11][12] Yasaba gavumenti edize ettwale lya Busoga n'obwa Kyabazinga ebintu byabwe omuli ettaka, ebibira, ofisi enkulu eza Disitulikiti, n'ebintu byabwe byonna ebikozesebwa ebitongole bya gavumenti.[13] Yeemulugunya eri gavumenti olw'obutafuula yunivaasite ya Busoga etendekero eryawaggulu erivunanyizibwa gavumenti.[13] Manjeri yagabira abantu baakikirira mu Paalamenti ya Uganda emmere n'ebiyambako mu kunaaba engalo.[14] Yawayo ensonga mu Paalamenti ya Uganda ekwata kubukambwe obukozesebwa abakozi ba Umeme e Jinja omuli okukuba abantu, okukozesa omukka ogubalagala okugumbulula abantu mu bikwekweto byabwe ku nkozesa y'amasanyalaze enkyaamu mu Kibuga e Jinja.[15]
Laba nabino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1
{{cite web}}
: Empty citation (help) Cite error: Invalid<ref>
tag; name ":0" defined multiple times with different content - ↑ 2.0 2.1
{{cite web}}
: Empty citation (help) Cite error: Invalid<ref>
tag; name ":1" defined multiple times with different content - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/how-bobi-wine-navigated-people-power-dp-block-interests-to-set-up-parliament-leadership-3435064
- ↑ 4.0 4.1
{{cite web}}
: Empty citation (help) Cite error: Invalid<ref>
tag; name ":2" defined multiple times with different content - ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/104382
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/69952-mpuuga-appointed-leader-of-opposition
- ↑ https://www.kfm.co.ug/news/nup-names-shadow-cabinet-matthias-mpuuga-appointed-lop.html
- ↑ https://www.independent.co.ug/jinja-nup-woman-coordinator-arrested-for-wearing-red-beret/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/66550-nup-jinja-coordinator-arrested-over-wearing-red-beret
- ↑ https://www.independent.co.ug/nup-coordinator-accuses-police-of-torture/
- ↑ https://parliamentwatch.ug/news-amp-updates/govt-to-brief-parliament-on-state-of-security/
- ↑ https://chimpreports.com/mps-task-government-as-machete-gangs-spread/
- ↑ 13.0 13.1 https://observer.ug/news/headlines/71189-busoga-mps-demand-return-of-kingdom-property
- ↑ https://redpepper.co.ug/2021/07/covid-19-crisis-jinja-city-woman-mp-kyebakutika-donates-food-hand-washing-kits/
- ↑ https://www.parliament.go.ug/news/5282/mps-condemn-brutality-umeme-staff