Margaret Aachilla Aleper

Munnayuganda munnabyabufuzi

Margaret Aachilla Aleper (yazaalibwa 22 Ogwekkuminogumu 1963) munnabyabufuzi mu Uganda era ye mubaka Omukyala owa disitulikiti y'e Kotido mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi. Mmemba w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement .

Gyenvudde n'Okusoma

kyusa

Margaret Aleper Pulayimale yagimalira ku Kotido Mixed Primary School mu 1976. Mu 1980, yamaliriza ebbaluwa ye eya Uganda Certificate of Education mu Kangole Girls Senior Secondary School. Yaweebwa satifikeeti mu by’obusomesa mu guleedi ey’okusatu mu Moroto Teacher Training College/ Makerere University mu 1985. Mu 1997, yamaliriza Dipuloma mu by’enjigiriza by’abasomesa okuva mu Institute of Teacher Education, Kyambogo . Yafuna diguli ye esooka mu by'enjigiriza okuva mu yunivasite y'e Kyambogo mu 2004.

Emirimu

kyusa

Ebyafaayo by'eemirimu gye biwandiikiddwa wansi:

Obuvunaanyizibwa obulala

kyusa

Era akola nga mmemba omujjuvu wansi w'ebitongole bya Membership to Professional mu Uganda National Teachers Union .

Obukuubagano

kyusa

Ono yalonkomwa mu babaka ba Palamenti abalyamu Uganda olukwe . [1] Ono yagambibwa okubeera omu ku babaka ba Palamenti abaakuba akalulu "Yee" mu kusoma okw'omulundi ogw'okubiri mu bbago erikyusa Ssemateeka .

Laba ne

kyusa

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa