Margaret Mbeiza Kisira (yazaalibwa nga 18 Ogw'ekumineemu mu 1973) Munnayuganda ow'amawoteeli, munnabyabufuzi era omukozi w'amateeka. Ye mubaka omukyaala akiikirira Disitulikitti ye Kaliro mu Paalamenti ya Uganda.[1][2] Mmemba w'ekibiina ekiri mu bufuzi ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement][3](NRM) mu Uganda[4] wansi wo bwa ssentebe w'ekibiina Yoweri Kaguta Museveni Pulezidenti wa Uganda.[5] Yalondebwa Pulezident Museveni kubwa state minisita w'okulondoola eby'enfuna ebya Economic monitoring mu 2009[6][7] okulondebwa kwe kwaziyizibwa Paalamenti ya Uganda.[8]

  1. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=174
  2. https://www.parliament.go.ug/find-an-mp
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-06. Retrieved 2024-04-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.nrm.ug/
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1512423/museveni-summons-nrm-leaders-national-conference
  6. https://www.independent.co.ug/mbeiza-explains-museveni-friend/
  7. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1226279/congs-mbeiza-kisira
  8. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1246721/mps-reject-mbeiza-appointment

Emisomo kyusa

Margaret Mbeiza yatandika emisomo gye egya pulayimale okuva mu somero lya Kaliro Church of Uganda Primary school eyo gye yatuulira ebigezo bye ebikomekereza pulayimale ebya primary leaving examinations (PLE) mu 1987, oluvanyuma yegatta ku somero lya Wanyange Girls secondary school okusoma emisom gye egya O'level education ara natuula ebigezo bye ebya Uganda Certificate of Education (UCE) examinations mu mwaka gwa 1991 bweyamaliriza ne yeewandiisa mu somero lya Budoni Secondary School okusoma emsiomo gye egya A'level education era natuula Uganda Advanced Certificate of Education(UACE) ye mu mwaka gwa 1998. Oluvanyuma yegatta ku Yunivasitte y'e Nkumba eyo gye yatikibwa ne diguli ya Sayansi mu by'obulambuzi eya bachelor's degree of science in tourism.[1]

Emirimu kyusa

Margaret Mbeiza yakolera mu yafiisi ya Pulezidenti nga resident district commissioner(RDC) wa Distulikitti y'e Mayuge okuva mu 2012 okutuusa 2015,[2] yaweereza nga omubaka wa Paalamenti omukyaala akiikirira Disitulikitti y'e Kaliro wakati 2006 ne 2011,[3] Yaweereza nga sipiika wa Gavumenti ya wansi mu Distulikitti y'e Kamuli wakati wa 2001 ne 2005. Kati ye mubaka wa Paalamenti omukyaala akiikirira Distitulikitti y'e Kaliro okuva mu 2016 okutuusa kati.[4] Mu Paalamenti aweereza ku kakiiko aka kwasaganya okuzimba ebizimbe bya Gavumenti aka physical infrastructure

Obulamu bwe kyusa

Muwuulu era ayagala nyo okuwulira omuziki n'ebyobulamu ne duyiro.[5]

Laba ne kyusa

Ebyawandiikibwa kyusa

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya kyusa

  1. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=174
  2. http://www.kfm.co.ug/news/rdcs-transferred.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-02. Retrieved 2024-04-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)