Margaret Mungherera (25 Ogwekkumi 1957 – 4 Ogwokubiri 2017) yali mukugu ey'ebuuzibwako ku nddwadde z'omutwe era akwasaganya amalwaliro mu Uganda. Yaweereza ng pulezidenti w'ekitongole kya Uganda Medical Association nga y'alondebwa emirundi etaano era ku nkomerero yegatta ku World Medical Association okuva mu Gwekkumi 2013 okutuuusa mu Gwekkumi 2014. Yawanjagira okubunyisa enkola ezijjanjaba enddwadde z'obwongo okwetoloola Uganda, okusukka mu kibuga, okukyusa mu mbeera y'abasawo mu Uganda n'okufuna abasawo ab'omutindo okwetoloola Africa yonna.

Obuto bwe n'emisomo gye kyusa

Margaret Mungherera yazaalibwa mu Jinja, Uganda.[1] Taata we, eyali omukozi wa Gavumenti eya wummula, ng'abeera mu Disitulikiti y'e Butaleja mu Buvanjuba bwa Uganda. Yali omu ku baana bataano nga basatu ku bbo bafuuka basawo.[2]

Yasomera ku Nakasero Primary School ne Gayaza High School mu misomo gye egya Pulayimale ne Ssekendule.[3] Mu 1977, yegatta ku Ssetendekero wa Makerere okusoma obusawo. Yatikkirwa mu 1982 ne with a Diguli mu busawo ne Diguli mu kulongoosa. Oluvanyuma lw'omwaka ng'alimukutendekebwa ku Ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital, yegatta ku London School of Hygiene and Tropical Medicine, ng'eno yafunayo Dipuloma ya Diploma in Tropical Medicine and Hygiene mu 1984. Mu 1992, yafuna Diguli ey'okubiri mu busawo obw'enddwadde z'obwongo okuva ku Makerere Yunivasite. Ekifo kye yasalawo okufunamu obukugu kyali kya forensic psychiatry.[4]

Emirimu gye kyusa

Okuva mu 1992 okutuusa mu 2000, yaweereza nga omuteresi w'ebiwandiiko ku ddwaliro lya Butabika National Referral Hospital, ng'akwasaganya eby'okunoonyereza.

Nga yali afaayo nyo olw'ebbula ly'obuulirira abantu, abayamba okubudabuda abasobezebwako mu Uganda, Mungherera yatandiikawo ekitongole ky'obwannakyewa ekya Hope after Rape mu 1994.

Mu 1999, Yalondebwa ku bwa pulezidenti w'ekitongole ky'abasawo ekya Uganda Medical Association (UMA) era nga yaddamu okulondebwa emirundi emirala etaano. Okuva mu 2000 okutuusa mu 2003, ye yali y'ebuuzibwako ku nsonga z'obulwadde bw'obwongo ku ddwaliro ekkulu elya Mulago National Referral Hospital era yali avunanyizibwa mu kyambako mu kunonyereza. Okuva mu 2003, yaweereza nga omukugu ey'ebuuzibwako ku by'obulwadde bw'obwongo ku ddwaliro lya Mulago Hospital Complex, ng'avunaanyizibwa ku buweereza obw'amangu eri abalwadde abafu ye obuzibu ku bwongo. Okuva mu 2012, y'abadde akulira dipaatimenti etwala abasawo eya Directorate of Medical Services (Departments of Internal Medicine and Psychiatry) ku ddwaliro ekkulu ery'e Mulago National Referral Hospital.

Okuva mu Gwekkumi 2013 okutuusa mu Gwekkumi 2014 yaweereza nga pulezidenti omukyala eyasooka ow'ekibiina ekitaba abasawo ekya World Medical Association, nga yalondebwa abasawo 50 okuva mu nsi yonna.[5][6]

Mu Gwomwenda 2014, yali omu ku bakukunavu abayogera mu lukungaana lw'abasawo olwa Confederation of Medical Associations mu Asia ne mu lukiiko lwa Oceania General Assembly saako n'emu lutuula lwa 50th Council Meeting, Manila, mu Philippines.[7]

Mu Gwomukaaga 2015, oluvanyuma lw'emyaka 31 mu buwereeza, Mungherera yawummula okuva mu buwereza bwa Gavumenti ku myaka 57.[8]

Yafa Kkookolo w'omubyenda[9] mu ddwaliro lya Chennai, India, nga 4 Ogwokubiri 2017, ku myaka 59.

Ebitiibwa bye yafuna kyusa

Mu Gwekkuminogumu 2012, Mungherera Honorary Doctor of Philosophy okuva ku Kampala International University olw'amaanyi ge yasaamu mu ku lwanirira enkyukakyuka."[10]

Ebyawandiikibwa kyusa

Eby'emisomo kyusa

  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwamu kyusa

  1. http://www.thelancet.com/journals/lancet/article/PIIS0140-6736(17)30774-2/fulltext?elsca1=etoc
  2. https://web.archive.org/web/20160304195727/http://www.wma.net/en/60about/40leaders/CV_Mungherera.pdf
  3. http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Dr-Margaret-Mungherera--Influence-beyond-borders/-/689842/1603828/-/1so3o4/-/index.html
  4. https://web.archive.org/web/20150221035202/http://www.observer.ug/features-sp-2084439083/57-feature/29427-rejected-by-britain-ugandan-doctor-gets-world-recognition
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2015-09-23. Retrieved 2024-04-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.newvision.co.ug/news/636546-mungherera-new-world-medical-association-boss.html
  7. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC4375251
  8. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1329855/dr-mungherera-retires-civil-service
  9. http://allafrica.com/stories/201702160019.html
  10. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1310018/kiu-award-zziwa-mungherera-honourary-doctorate

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya kyusa