Margaret Nantongo Zziwa Munnayuganda Munnabyabufuzi era Mubazi w'amateeka. Yaweerezaako nga Sipiika wa Paalamenti ya East African Legislative Assembly (EALA) ey'okusatu mu Arusha, Tanzania. Yalondebwa mu kifo ekyo mu Ogwomukaaga 2012.[1] Yasongebwanu ennwe era nagyibwa mu offiisi nga 17 Ogwekkuminebiri 2014, nga ky'ava ku nneyisa ye n'okukozesa obubi ofiisi ye,[2] naye oluvanyuma yaliyiribwa olw'okuggyibwa mu ofiisi mu ngeri etaali ya mateeka.[3]

Obuto bwe n'emisomo gye kyusa

Yazaalibwa eri Charles Mugerwa ne Josephine Mugerwa ab'e Mpererwe, ekisangibwa mu kibuga kya Uganda ekikuli, Kampala, mu 1963. Margaret Zziwa alina Diguli esooka eya Bachelor of Arts mu Economics ne Dipuloma ey'enyogereza mu busomesa, nga zombi yazifunira ku Yunivasite y'e Makerere, Yunivasite ya Uganda esinga obukulu mu Yunivasite zonna. Ezimu ku Diguli y'eyokubiri gyeyafunira e Makerere, iyali ku kikula ky'abantu n'emisomo gy'abakyala eya Master of Arts in Gender and Women Studies. Era alina Diguli endala eya Master of Arts in Social Policy Studies, okuva ku University of Stirling mu Bungereza.[4] Oluvanyuma yaweebwa awaadi ya Doctor of Philosophy okuva ku University of Stirling.[5]

Ebikwata ku mirimu gye kyusa

Nga tannaba kwegatta mu byabufuzi, yali asomesa ssomo lya economics ne geography ku ssomera lya Kololo Senior Secondary School, elisangibwa mu makati g'ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala. Era yaweerezaako nga Omusomesa wa Yunivasite mu ssomero elisomesa ku kikula ky'abantu n'ebyenjigiriza by'abakyala ku Yunivasite ya Makerere.[5]

Wakati wa 1993 ne 1995, yaweereza nga mmemba kakiiko akabaga ssemateeka era nga kekabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995. Okuva mu 1996 okutuusa mu 2006, yaweereza ebisanja bibiri eby'omuddiringanwa mu Paalamenti ya Uganda nga Omubaka omukazi owa Disitulikiti y'e Kampala mu Paalamenti. Mu kalulu ka 2006 yafiirwa ekifo kye mu Paalamenti eri, Nabilah Naggayi Sempala.[6]

Okuva mu 2007, aweerezaako nga omu ku abazi b'amateka omwenda aba Uganda mu Paalamenti ya East African Legislative Assembly (EALA), ettabi ly'ababazi b'amateeka erya East African Community. Mu Gwomukaaga 2012, yalondebwa okuweereza nga Sipiika wa EALA mu kisanja eky'emyaka etaano.[7][8]

Obuvunaanyizibwa obulala kyusa

Zziwa mmemba ku kakiiko akakulembera essomero ly'eyatandikawo erya St. Margaret Secondary School. Era mmemba omutandiisi w'ekibiina ky'abayimbi ekya St. Francis Choir ku Kelziya ya St. Jude Catholic Church e Naguru, okuliraana ekibuga Kampala.[9]

Ebimukwatako eby'omunda kyusa

Zziwa mufumbo eri Francis Babu. Balina abaana bana. Wa nzikiriza y'eddini ya Bakatoliki. Mmemba wa kibiina ky'ebyobufuzi ekirimu bukulembeze bwa Uganda ekya National Resistance Movement okuva mu 1986.[10]Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya kyusa

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/East_African_Community
  2. https://web.archive.org/web/20190212130706/https://mobile.theeastafrican.co.ke/News/EALA-Speaker-out/-/433842/2559906/-/format/xhtml/-/116idg/-/index.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-12. Retrieved 2023-04-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://web.archive.org/web/20120609025439/http://www.newvision.co.ug/news/631703-how-zziwa-won-eala-speaker-post.html
  5. 5.0 5.1 http://wuf7.unhabitat.org/margaret-zziwa
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/AllAfrica.com
  7. https://web.archive.org/web/20140606230135/http://www.independent.co.ug/column/insight/5965-zziwa-ealas-first-female-speaker
  8. https://web.archive.org/web/20120615141036/http://www.newvision.co.ug/news/631907-eala-speaker-receives-heroic-welcome.html
  9. http://www.newtimes.co.rw/section/article/2012-06-23/89771/
  10. https://web.archive.org/web/20170510133622/http://www.theeastafrican.co.ke/news/2558-2357154-tcprckz/index.html

Ebijuliziddwamu eby'bweru wa Wikipediya kyusa

Template:EAC Speakers