Maria Musoke, oluusi ayittibwa Maria G.N. Musoke (yazaalibwa nga 19 Ogusooka mu 1955) Munnayuganda munnasayansi mu by'empuliziganya (information scientist) era omuyivu. Ye mukyaala eyasooka okufuna PhD mu Sayansi w'ebyempulizigannya (information Science).[1] Mukenkufu wa Sayansi w'ebyenpuliziganya era omumyuuka wa Vice Chancellor (Ogwokuttaano 2018–) mu Yunivasitte y'e Kyambogo mu Uganda. Era aweereza nga mmemba wa council (2019–2022) wa Uganda National Academy of Sciences.

Obulamu bwe n'emisomo

kyusa

Musoke yazaalibwa nga 19 Ogusooka mu mwaka gwa 1955 mu Disitulikitti y'e Masaka, Central Uganda. Yasomera ku Trinity College Nabbingo okusoma Ordinary level Certificate n'emisomo gy'ebibiina bya Advanced level (S1-S6). Olwo yayingira mu Yunivasitte y'e Makerere mu mwaka gwa 1974, okusoma essomabimera (botany), essomansolo (Zoology) n'ebyenjigiriza, naatikibbwa ne diguli ya Sayansi era ne Dipulooma mu by'Enjigiriza mu mwaka gwa 1978. Oluvanyuma yafuna Post Graduate Dipulooma mu Librarianship mu mwaka gwa 1980 bweya gimaliriza n'asoma diguli ya Master mu Librarianship ne Sayansi w'ebyenpuliziganya, nakuguka mu by'empuliziganya by'ebyobulamu mu Yunivasitte ya Wales, Great Britain. Mu mwaka gwa 2001, yattikibwa okuva mu Yunivasitte ya Sheffield, naafuuka omukyaala eyasookera ddala okufuna PhD mu sayansi w'Ebyempuliziganya mu Uganda.[2]

Emirimu emikenkufu

kyusa

Musoke yali librarian ku Albert Cook Medical Library mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere] nga tanafuukana librarian wa Libraray ya Yunivasitte y'e Makerere okuva mu mwaka gwa 2004 okutuusa 2014. Yali wakufuuka omukenkufu omukyaala asooka owa sayansi w'ebyem mu mwaka gwa 2010. Oluvanyuma yegatta East African School of Library and Information Science mu Yunivasitte y'e Makerere mu mwaka gwa 2015. Mu May 2018, yalondebbwa nga omumyuuka wa Vice-Chancellor avunaanyizibwa ku nsonga z'okusoma[3] ku Yunivasitte y'e Kyambogo.[4] Yalondebwa wamu ne Associate Prof. Annabella Habinka Basaza owa Yunivasitte y'e Mbarara ne Prof. John Robert Tabuti nga akiikirira Yunivasitte y'e Busitema Senate mu Gavumenti.[5] She has authored several publications.[6][7]

Musoke yafuna engule ya Honorary Fellowship award mu mwaka gwa 2018 okuva mu ttendekero lya Chartered Institute of Library and Information Professionals (CILIP) mu kusiimibwa ebikolwa bye mu mirimu gya Library ne Sayansi w'ebyempuliziganya. Ye mmemba ayimilidde ku kakiiko k'ebyobulamu n'obulamu bwa sayansi mu bitundu bya Libraries( Health and Biosciences Libraries Section) eya International Federation of Library Associations and Institutions (IFLA) (2011–), mmemba w'akakiiko akakola mu mawanga g'ebweru( International Working Committee) mu Big data mu Open data world (2015–) era mmemba wa Advisory Council ka Research4Life mu mwaka gwa 2013.

Ebifulumiziddwa

kyusa
  • (532–538). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  • (299–322). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  • (194–202). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  • (171–176). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  • (1–19). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  • (10–27). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)

Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipediya

kyusa
  • Maria Musoke publications indexed by Google Scholar
  1. https://www.hifa.org/support/members/maria
  2. https://news.mak.ac.ug/2016/09/prof-maria-musoke-a-solid-bridge-between-health-and-information-sciences/
  3. https://mulengeranews.com/maks-prof-maria-musoke-scoops-kyambogo-post/
  4. https://kyu.ac.ug/deputy-vice-chancellor-academic-affairs/
  5. https://www.must.ac.ug/associate-prof-anabella-to-sit-on-busitema-university-senate/
  6. https://doi.org/10.1111%2Fhir.12335
  7. https://www.worldcat.org/oclc/952248018