Maria Mutagamba
Maria Emily Lubega Mutagamba, yazaalibwa nga 5 Ogwomwenda mu 1952, nafa nga 24 Ogwomukaaga mu 2017, nga yali Munayuganda kafulu mu by'enfuna n'okubeera munabyabufuzi. Yeeyali Minisita w'eby'obulambuz, ebisolo n'ebintu by'edda mu Kabineeti ya Uganda okuva nga 15 Ogwomunaana mu 2012[1]okutuuka nga 6 Ogwomukaaga mu 2016.[2]
Okuva mu 2011 okutuuka mu 2012, yeeyali minisita avunaanyizibwa ku by'amazzi n'ebitundu eby'etolodde.[3] Yawerezaako nga omubaka Paalamenti omukyala omulonde eyali akiikirira Disitulikiti ye Rakai okuva mu 2001 okutuusa mu 2016.[4]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
kyusaMutagamba yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Rakai nga 5 Ogwomwenda mu 1952. Yasomera ku St. Aloysius Senior Secondary School e Bwanda, mu Disitulikiti y'e Kalungu okuva mu 1967 okutuuka mu 1970 ng'eno gyeyamalira S4. Oluvannyuma y'agenda ku Mount Saint Mary's College e Namagunga nga lino lisinganibwa mu Disitulikiti y'e Mukono okuva mu 1971 okutuusa mu 1972 ng'eno gyeyatuulira S6. Yagenda ku Yunivasite y'e Makerere okuva mu 1973, okutuusa mu 197, n'atukirwa ne Diguli mu by'enjigiriza mu by'enfuna. Alina ne Dipulooma mu bya kompuyuuta gyeyafuna okuva kutendekero lya ICL Computer School erisinganibwa e Nairobi mu Kenya, ng'eno yagifuna mu 1980, nga kuno kw'oteeka ne satifikeeti mu bukulembezze obw'awagulu gyeyafuna okuva kutendekero lya John F. Kennedy School of Government mu Cambridge, e Massachusetts, mu ggwanga lya Amerika, nga yagifuna mu 1997.[5] Mu 2013, yafuna weebwa ekitiibwa ky'okubeera nga yali akuguze mu by'amateeka okuva ku Yunivasite ya McMaster e Canada.[6]
Emirimu
kyusaMutagamba yawerezaako nga avunaanyzibwa ku by'emirimu mu Bank of Uganda, okuva mu 1976 okutuusa mu 1980, ng'era yeeyali akulira baanka eno okuva mu 1991 okutuusa mu 1999. Yaliko kubaali ku kakiiko k'abakungu abaali bavunaanyizibwa ku by'okukola amateeka, wakati wa 1994 okutuusa mu 1995. Mu 1999 okutuusa mu 200, yeeyali omumyuka w'omuwandiisi ow'ekibiina kya Uganda ekya Democratic Party. Mu 2000, yaweebwa eky'okubeera Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by'amazzi n'ebitundu eby'etolodde, ekifo kyeyalimu okutuusa mu 2012. Yeeyali akulembera akakiiko kaba minisita ku semazinga wa Afrika akaali kavunaanyizibwa ku by'amazzi okuva mu 2004, okutuusa mu 2012, ng'era ye mukwanaganya w'ekibiina ky'abakyala abakulembezze munsi yonna ku lw'amazzi n'obuyonjo, okuva mu 2005, okutuuka mu 2015. Yaliko n'omumyuka wa ssentebe w'ekitongole ky'amawanga amagate ekya United Nations Task Force on Integrated Water Resource Management. Yali asinga kumannyikwa olw'emirimu gye egyaali gyekuusa ku by'amazzi n'egyaGlobal Water Harvesting Network.[5][6]
Mutagamba yawerezaako nga minisita avunaanyizibwa ku by'obulambuzi, ebisolo by'okutrale n'ebintu by'edda okuva nga 15 Ogwomunaana mu 2012, okutuuka nga 6 Ogwomukaaga mu 2016 nga Ephraim Kamuntu amudira mu bigere. Nga akyali minisit, yali asinga kumannyikwa olw'okutumbuula eggi lya Uganda eryali lisinga okumannyikwa, enva endiirwa nga babizingidde wamu ne chapati abasinga kyebamanyi nga Rolex.[7] Yeeyaza engulu empaka z'obwa nnalulungi eya;i yeesimbawo ku ky'obulambuzi ekyali kyatandikawo mu 2010.[8] Yanyuka eby'obufuzi mu 2016 olw'embeera y'obulamu bwe okubeera nga yali etandise okusajuka.[9]
Ebimukwatako nga omuntu
kyusaYali yafumbirwa Tarsis Matthew Mutagamba eyali akola mu Baanka ya Uganda okumala emyaka 17 okutuusa bweyawumula mu 1980. Yeeyasooka okubeera nga y'akulira ababalirizi b'e bitabo mu Afrika.[10] Tarsis yafa olw'omutima okulemererwa nga 2 Ogwokubiri mu 2004, ng'alina emyaka 70, ng'alina abaana 16.[11]
Okufa
kyusaMutagamba yafa nga 24 Ogwomukaaga mu 2017 mu ddwaliro lya Case Medical Centre mu Kampala, okuva mu kubeera nga yali atawanyizibwa kkookolo w'ekibuumba,nga wadde yali atawanyizibwa amayinza agaali mulubuto. Yalina emyaka 64. Yali yatwalibwa mu ddwaliro wiiki satu nga tanaba kufa. Saabaminisita Ruhakana Rugunda yayita ''okufa kwe okufiirwa okwali okwa maanyi eri eggwanga lino".[9] Yazikibwa nga 28 Ogwomukaaga mu 2017 ku kyalo Gamba mu ggombolola lya Kakuuto mu Disitulikiti y'e Rakai. Okuziika kuno kwakubirizibwa Saabasuumba John Baptist Kaggwa owa Klezia y'esaza ly'abakatuliki ery'e Masaka ey'abalooma.[12]
Ebijuliziddwaamu
kyusa- ↑ https://web.archive.org/web/20120816235713/https://www.newvision.co.ug/news/634161-president-yoweri-museveni-reshuffles-cabinet.html
- ↑ https://wolfganghthome.wordpress.com/2016/06/06/ugandas-president-museveni-names-prof-ephraim-kamuntu-as-new-tourism-minister/
- ↑ https://web.archive.org/web/20141211124001/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Over-20-MPs-bow-out-of-2016-race/688334-2728402-9p2w28z/index.html
- ↑ 5.0 5.1 https://web.archive.org/web/20160613050227/http://www.tourism.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=61&Itemid=120
- ↑ 6.0 6.1 http://dailynews.mcmaster.ca/article/honorary-degrees-celebrate-local-heroes-international-leaders/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-04. Retrieved 2021-04-08.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1330268/miss-tourism-2013-kicks-thursday
- ↑ 9.0 9.1 http://www.monitor.co.ug/News/National/Former-tourism-minister-Maria-Mutagamba-dead/688334-3985994-1u8woy/index.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1109774/bishop-kakooza-mourns-mutagamba
- ↑ http://allafrica.com/stories/200401050552.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Bishop-Kaggwa-Mutagamba-Museveni-character/688334-3991248-oqdre4/index.html