Mariam Ndagire
Mariam Ndagire (yazaalibwa 16 May 1971), muyimbi, musanyusa, muzannyi wa firimu, muwandiisi wa mizannyo, dayirekita wa firimu, era pulodyusa wa firimu Munnayuganda. [1] [2]
Yazaalibwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda, Sarah Nabbutto n'omulangira wa Buganda Kizito Ssegamwenge. Yasomera mu Buganda Road Primary School,
nga tannakyuka n’agenda mu Kampala High School, gye yamalira emisomo gye egya O-level. Emisomo gye egya A-Level, yasomera mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Trinity_College_Nabbingo Trinity College Nabbingo], mu Disitulikiti y’e Wakiso, gye yatikkirwa diguli ya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/High_School_Diploma High School Diploma] . [3]
Yagenda mu maaso n’afuna [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Marketing Dipulooma eya waggulu mu by’okutunda] okuva mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University_Business_School Makerere University Business School] e Nakawa. Oluvannyuma, yaweebwa Dipuloma mu by’okuyimba, amazina ne katemba, okuva mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadden'obunene mu Uganda.
Omulimu gw’okuyimbira ku siteegi
kyusaNdagire yatandika nga [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Theatre_actress muzannyi wa katemba], ku myaka 15, nga akyali muyizi mu Kampala High School . Yagenda mu maaso n’ayegata mu kibiina kya Black Pearls ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Omugave_Ndugwa Omugave Ndugwa] mu 1987, gye yazannyira mu mizannyo egiwerako okutuuka mu 1993. Ng'ali eyo, yawandiika omuzannyo gwe ogwasooka gwe yatuuma "Engabo Y'addako". Oluvannyuma Ndagire, ng’ali wamu ne Kato Lubwama ne Ahraf Simwogerere baatandikawo ekibiina kyabwe ekya Diamonds’ Ensemble era ne bawandiika emizannyo egiwerako. [4]
Ndagire ayagala nnyo okuyamba abavubuka okuzuula ebitone byabwe mu kuzanya emizanyo n'okuyimba; eyo y’ensonga lwaki yatandikawo The Next Ugandan Music, ekivvulu kya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/American_Idol American Idol]. Ndagire era yatandikawo omusomo omupya ogw’okutendeka abakola firimu mu kifo kye, ekya Mariam Ndagire Film and Performing Arts Center MNFPAC, ekitegeka emisomo gy'abakola firimu buli mwaka. Mubamu kubasinze okwetaba mu misomo gino kuliko Sarah Kisauzi Sentongo azanya mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Deception_NTV Deception], omuzannyo gwa NTV Uganda , n’omuwandiisi w’ebifaananyi Usama Mukwaya . [3] [4] [5]
Mu 2015 Ndagire yalondebwa ekitongole kya AFRICA MAGIC VIEWERS' CHOICE AWARDS AMVCA okubeera kukakiiko ka balamuzi
Mu 2019 Ndagire yalondebwa ku kakiiko k'abalamuzi akakulu mu kibiina kya GOLDEN MOVIE AWARDS AFRICA
Firimu ne ttivvi
kyusaOmwaka | Omutwe | Omulimu gw’okufulumya | Ebiwandiiko |
---|---|---|---|
2007 | Wansi Mu Luguudo Luno Ntambulira | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa, munnakatemba | Firimu enkulu |
2008 | Amaanyi g’Omugenyi | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa, munnakatemba | Firimu enkulu |
2009 | Emitima mu bitundutundu | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa, munnakatemba | Firimu enkulu |
2010 – egenda mu maaso | Tendo Bannyinaffe | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa, munnakatemba | Emizannyo gya TV |
2011 | Gye Tubeera | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa, munnakatemba | Firimu enkulu |
2012. Omuwandiisi w’ebitabo | Maama omwagalwa | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa, munnakatemba | Firimu enkulu |
2013 – okugenda mu maaso | Ekintu kyonna Okujjako Omukwano | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa | Emizannyo gya TV |
2013. Omuwandiisi w’ebitabo | Obuzibu Obulwawo | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa, munnakatemba | Firimu enkulu |
2013. Omuwandiisi w’ebitabo | Tosobola Kumenya Kiraamo Kyange | Omuwandiisi, dayirekita | Firimu ennyimpi |
2015 – okugenda mu maaso | J-Rose nga bwe | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa | Emizannyo gya TV |
2016 | Ekizibu kya Vicky | Dayirekita, pulodyusa | Firimu Ennyimpi |
2016 | Omusomo gwa Intimate Partner Violence | Dayirekita, pulodyusa | Firimu Ennyimpi |
2017 | Nsaali | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa | Firimu Enkulu |
2017 – agenda mu maaso | BA-SENGA | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa, munnakatemba | Emizannyo gya TV |
2017 | KAALA | Omufulumya | Firimu Ennyimpi |
2019 - agenda mu maaso | OMUKWANO GWAFFE OMUTUKUVU UGANDA | Dayirekita, pulodyusa | Embaga Pulogulaamu ya TV |
2020 | Ku Ludda Olulala | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa | Firimu Enkulu |
2021. Omuntu w’abantu | Mukyala Wa Bba Wange | Omuwandiisi, dayirekita, pulodyusa | Firimu Enkulu |
2022. 2022 | Kafa Coh | Asha Nkono (Muzannyi wa firimu) | Firimu Enkulu |
Engule n’okusunsulwa
kyusaYear | Nominated work | Award | Category | Result |
---|---|---|---|---|
2013 | WHERE WE BELONG | Uganda Film Festival Award | Firimu eky'asinze | Template:Nom |
2013 | WHERE WE BELONG | Uganda Film Festival Award | Empuliziganya eky'asinze | Template:Nom |
2017 | BA-AUNT | Pearl International Film Festival | Omuzannnyo gw'oku TV ogusinga | Template:WON |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Munakatemba asinga "Dinah Akwenyi" | Template:Nom |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Best Indigenous Language Film | Template:Nom |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Empuliziganya eky'asinze | Template:Nom |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Omuzannyo gw'okulutimbe ogusinga"Mariam Ndagire" | Template:Nom |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Direkita asinga "Mariam Ndagire" | Template:Nom |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Best Supporting Actor "Sebugenyi Rogers" | Template:Nom |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Munakatemba omuto asinga "Nalumu Shamsa" | Template:Nom |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Best Young Actor "Dinah Akwenyi" | Template:Nom |
2017 | NSAALI | Pearl International Film Festival | Best Feature Film | Template:Nom |
2018 | BA-AUNT | Zanzibar International Film Festival | Best TV Drama | Template:Nominated |
2021 | My Husband's Wife | Pearl International Film Festival | Best Actor "Sekimpi Johnmary" | Template:WON |
2021 | My Husband's Wife | Pearl International Film Festival | Best Ugandan Feature Film | Template:WON |
2021 | My Husband's Wife | Pearl International Film Festival | Best Costume | Template:Nom |
2021 | My Husband's Wife | Pearl International Film Festival | Best Screenplay "Mariam Ndagire" | Template:Nom |
2021 | My Husband's Wife | Pearl International Film Festival | Best Director "Mariam Ndagire" | Template:Nom |
2021 | My Husband's Wife | Pearl International Film Festival | Best Supporting Actress "Tania Shakira Kankindi" | Template:WON |
2021 | My Husband's Wife | Pearl International Film Festival | Best Uganda Feature Film | Template:Nom |
2022 | My Husband's Wife | Uganda Film Festival Awards | Best Editor "Suuna Peter" | Template:Nom |
2022 | My Husband's Wife | Uganda Film Festival Awards | Best Actor "Sekimpi JohnMary" | Template:Nom |
2022 | My Husband's Wife | Uganda Film Festival Awards | Best Screenplay "Ndagire Mariam" | Template:Nom |
2022 | My Husband's Wife | Uganda Film Festival Awards | Best Supporting Actress "Tania Shakira Kankindi" | Template:WON |
2022 | My Husband's Wife | Africa Magic Viewers' Choice Awards | Best Movie East Africa "Mariam Ndagire" | Template:Nom |
- Mulongo Wange (1997)
- Bamugamba (1998)
- Onkyaye (2000)
- Nkusibiddawo (2001)
- Kamuwaane (2002)
- Abakazi Twalaba (2003)
- Akulimbalimba (2004)
- Akalaboko (2007) [6]
- Maama (2007)
- Byonna Twala (2009) [7]
- Majangwa (2009) [8]
- Oly'omu (2012)
- Kiki Onvuma (2014) [9]
- Kibun'omu (2016)
- ↑ Serugo, Moses (28 February 2010). "Mariam Ndagire has more where that came from". The Observer (Uganda). Kampala. Retrieved 4 February 2018.
- ↑ Rafsanjan Abbey Tatya (15 October 2010). "Mariam Ndagire to release new movie". Daily Monitor. Kampla. Retrieved 4 February 2019.
- ↑ 3.0 3.1 Stanley Gazemba (14 August 2014). "Mariam Ndagire Biography". Johannesburg: Musicinafrica.net. Retrieved 4 February 2019.
- ↑ 4.0 4.1 Pat Robert Larubi (27 April 2018). "Strange But True, Mariam Ndagire Narrates Her Accidental Encounter With Music". Kampala: SoftPower Uganda. Retrieved 4 February 2019.
- ↑ Abu-Baker Mulumba (26 July 2012). "Ndagire opens Tanuulu". The Observer (Uganda). Kampala. Retrieved 4 February 2019.
- ↑ Zacht BGentle (6 February 2007). "Akalaboko (Your Present)" (Music Video) (in Ganda). Retrieved 4 February 2019 – via YouTube
- ↑ Paul Bill Migadde (8 October 2009). "Byonna Twala (Take Everything)" (Music Video) (in Ganda). Retrieved 4 February 2019 – via YouTube.
- ↑ Paul Bill Migadde (5 October 2009). "Majangwa" (Music Video) (in Ganda). Retrieved 4 February 2019 – via YouTube.
- ↑ Mariam Ndagire (10 March 2014). "Kiki Onvuma (Why Insult Me?)" (Music Video) (in Ganda). Retrieved 4 February 2019 – via YouTube.