Martin Kayongo Mutumba

Kiraabu z'azze azannyira

kyusa

Gyeyasooka okuzannyira

kyusa

Mutumba yatandika okuzannya mu kiraabu ya Vasalunds IF ng'omwana omuto, nga mu mwaka gwa 1999 yeegata ku AIK, ng'omuvubuka eyali azannya omupiira. Kuntandikwa y'omwaka gwa 2002, yazannya omupiira gwe ogwali gusooka ng'azannyira ttiimu enkulu eya Kalmar FF, bweyazannya edakiika taano mu mupiira guno.

Mu mwaka gwa 2004, AIK yali eyagala Mutumba okuzannya ne FC Café Opera, ng'eno yali kiraabu eyal etwalibwa okubeera nga yeeyali eriikiriza AIK n'abazannyi.[1] Wabula eky'embi, Mutumba yamenyeka okugulu kwe, mu mpaka ezaali mukisaawe ky'omunda zeyali azannya n'egimu kumikwano gye nga sizoni tenatandika, nga teyasobola kuzannya mupiira gwonna ng'ali ne kiraabu eno eya Café Opera.[2] Yagamba nga bweyali takyayagala kuzannya mupiira, ekyamuvirako okutandika okubeera n'abantu abakyamu. Kino kyamuviirako okubeera mu bizibu era nebamuvunaana. Wabula ekooti y'omulamuzi yamuwa akakisa ak'okubiri ekyamuletera okusalawo okuddamu okuzannya omupiir.[3]

Kiraabu ya Inter Turku

kyusa

Mu mwaka gwa 2005, aba kiraabu ya AIK baamutunda mu ttiimu okuva mu ggwanga lya Finland gyebaali bayita FC Inter Turku eyali ezannyira mu kibinja kya Premier Division, Veikkausliiga.

Kiraabu ya Väsby United

kyusa

Sizoni y'eggwanga lya Finland bweyawumula mu masekati g'omwaka gwa 2007, Mutumba yagezaako okwegata ku ttiimu ya liigi ya Spain oba giyite La Liga gyebayita Deportivo de La Coruña,[4] kiraabu ye enkaddeAIK n'eya liigi ya Scotland nga kiraabu eno baali bagiyita Hibernian.[5] Mutumba ye kannyini yagmba yagaana diiru eyli emuweebwa kiraabu ya Deportivo La Coruña, ekyaetera banamawulire okuva mu Bungereza okugamba nti yali atadde omukono kundagaano etyali enyiimpi ne Hibernian. Mu mwaka gwa 2009 webaali bamusoya ebibuuzo, olupapula lw'amawulire okuva mu Sweden lwebayita Aftonbladet lwagamba nti, diiru ye ne Deportivo La Coruña yagaana olw'okuba yalina ebizibu n'eyali kituunzi we, nga yanyonyola nti baali bakyayogera kungeri ttiimu gyeyali ekulalulana, Fabril, azannyira mu kibinja kya Spain eky'okubiri 'Spanish Segunda B division'.[6] Munkomerero ya byonna, yateeka omukono kundagaano ne kiraabu okuva mu Superettan eya FC Väsby United, ng'eno gyeyali ng'alina endagaano mumwaka gwa 2004 nga kiraabu ekyamannyikiddwa nga "FC Café Opera“.

Okukomawo mu kiraabu ya AIK

kyusa

Mu mwezi ogw'ekuminoogumu, mu mwaka gwa 2008, yateeka omukono kundagaano ne kiraabi ya he signed with AIK neera.[7] Oluannyuma lw'okukomawo mu kiraabu eno , yagamba nti yeali agenze gyeyali ayagala okubeera, nga kyali tekiyinza kubeerawo kuddamu kugenda mu mawanga malala olwa ssente zebaali bagenda okumuwa, nga zino zaali tezikyasobola kumulimba limba. Mu mupiira ogwali gusembayo mu sizoni y'omwaka gwa 2009 AIK yakuba IFK Göteborg ggoolo 2–1 mu mupiira ogwali ogw'okusalawo ani yali agneda okuwangula liigi, nga baasobola okutwala ekikopo kya Allsvenskan , omulundi ogwali gusookera ddala mu myaka 11. Mu mupiira guno, Mutumba yayambako mune Antônio Flávio okuteeba bweyamuteerawo omupiira mu dakiika eya 55, nga yakwata omupiira guno mungeri y'ekukugu n'ateeba ggoolo ey'ekyenanyi mu mupiira ogwayita ku ggoolo kkipa wa IFK Gothenburg.[8] Enaku biri emabega ng'omupiira ogusembayo tegunabeerawo, Mutumba yeewaandikako mu kifuba ekigambi ekyali lisoma nti "AIK GULD (zaabu) 2LAX9 (2009, LAX kigambi kyalufuutifuuti ekitegeeza enkumu n'enkumu) .[9]

AIK yatandika bu bi sizoni ya 2010, nga bakola bubi wadde nga baali baakamala okubalangirira nga banantameggwa emyezi mitono emabega. Kiraabu yali ebulako katono okusalibwako, nga mukubeera nga yali ekola bubi, eyali agidukanya oba maneja waayoMikael Stahre yalekulira okugenda okwegata ku Panionios GSS ekyaletera ttiimu eno okubeera nga yali evumirirwa nnyo olw'okuba nga baali bakola bubi.

Kiraabu ya Videoton

kyusa

Ng'enaku z'omwezi 28, mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 2010, amawulire gaabyasanguza nga kiraabu okuva mu ggwanga lya Hungary eya Videoton FC bweyali enguze Bojan Djordjic ne Martin Mutumba bombi.[10] Akulira kiraabu eno okuva mu ggwanga lya Hungary yagerageranya Djordjic ku Roberto Baggio, ate Mutumba ku Ronaldinho.[11] Okugulibwa kw'abano kwaletawo okutebereza okw'enjawulo ku mikutu gy'amawulire, nadala nga kiraabu ya AIK yali ereese Alex Miller nga maneja okuva mu ggwanga lya Scotland, enaku biri ng'abaannyi bano tebanaba kugulibwa. kwali kusalawo kwa Miller okuleka abazannyi bano okugenda, naye ng'ekitongole kya AIK kigamba baali baweebwa omutemwa gw'ensiimbi gwebaali tebayiza kugaana kutunda baannyi bano.[10]

Omulundi ogw'okubiri ng'akomawo mu kiraabu ya AIK

kyusa

Mu mwaka gwa 2011, Mutumba yakaansibwa aba AIK omulundi ogwali ogw'okusatu, nebategeregana endagaano eyali ey'emyaka esatu ng'ali ne kiraabu eno.

Enamba ya Mutumba gy'abadde ayamba ku saati ye ng'alki mu kiraabu ya AIK ezze ekyusibwa kyusibwa. Kuba mu sizoni ya 2009, yali ayambala namba 19. Sizoni ya 2010 bweyatandika, yafuna namba omujoozi nga guliko namba 10. Wabula, okuva mu mwaka gwa 2011 okutuuka kati yali ayamba omujoozi namba 9. Engeri Mutumba gy'azannyamu yakukwata mpola, naye ng'asobola okusala nadala abazannyi bw'oba omugeragerannyiza ku bazannyi ba liigi ya Allsvenskan, nga kirabibwako nga Mutumba asaala mungeri y'okusaagirira abazibizi ba ttiimu ya Gefle nga AIK ewangula ggoolo 3-0. 

Kiraabu ya Çaykur Rizespor

kyusa

Ng'enaku z'omwezi 5, mu mwezi ogusooka, mu mwaka gwa 2014, Çaykur Rizespor yalangirira nga bweyali eguze Mutumba , neemuwa endagaano ya myaka ebiri n'ekitundu.

Kiraabu ya Rah Ahan

kyusa

Ng'enaku z'omwezi 3, mumwezi ogw'okusatu mu mwaka gwa 2015, yeegata ku Persian Gulf Pro League ng'azannyira kiraabu ya Rah Ahan.

Obulamu bwe

kyusa

Bweyasooka okuteeka endagaano ne kiraabu ya AIK, yali akyali muvubuka, wabula kitaawe yalekulira omulimu gweyali akola, nga Mutumba eyali omwaka omutu yeeyali alabirira famire ne ssente zeyali afuna. Kiraabu eno bweyamuta n'agendam, famire yeesingaana ng'eri mu buzi bw'eby'efuna ebyaali bukalubye.[3]

Mu mwaka gwa 2003, Mutumba yaliko kukatabo kebayita ''Svartskallar – Så funar vi" ( "Wogs – Engeri gyetukolamu emirimu") nga kuno abantu 11 okuva mu buwangwa obw'enjawulo n'abava mu bitundu ebitono ddala baali boogera ku ki kyekitegeeza okubeera omugwiira mu bitundu by'eggwanga lya Sweden ebikulakulanye.[12]

Mutumba ayagala nnyo muziki ng'asinga kuwuliriza agwa mutuluba lya reggae, rap music ne samba. Omuyimbi afubutuka ebigambo oba muyite 'rapper', afulumizza ennyimba, ng'li wansi w'erinya moniker M9.[13] Alina ekiwandiiko kyebamuteekako oba giyite taatu gyebaamutekako ku ludda lwa kono wansi w'okutu nga kino kigamba nti "R-BY", ekijukizo eri Rinkeby, ekifo ekisingaanibwa mu kibuga kya Stockholm, ng'eno gyeyakulira era nga gy'akyabeera.[14] Enaku ng'omupiira gwa liigi ya sizoni ya 2009 ogwali gusalawo tegunaba, yeeteekako taatu oba ekiwandiiko ekyali kigamba nti; "A.I.K GULD 2LAX9" (AIK beebanantameggwa ba liigi ya 2009), ng'eno yali esala mu kifuba kye kyonna. Era mungeri etaategerekeka kino kyatukirira kuba liigi baagiwangula.

Kizibwe ow'okubiri ow'eyali omuzannyi w'omupiira Moses Nsubuga, ng'ono yazannyirako kiraabu ya IF Elfsborg , wabula nga yafiirwa okugulu kwe oluvannyuma lw'okufuna akabenje k'emmotoka mu mwaka gwa 1997.[15][16] Mu mwezi ogusooka mu mwaka gwa 2012, Mutumba yafuna ebipapula bya Uganda oba giyite paasipooti, era nebamuyita ne ku ttiimu ya Uganda ey'eggwanga eyali egenda okuzannya eggwanga lya Congo Brazzaville mu mupiira ogwali ogw'okusunsula amawanga agaali gagenda okwetaba mu mpaka z'okusaemazinga wa Afrika oba z'oyinza okuyita AFCON ow'omwaka gwa 2013. Wabula teyazannya, nge'dakiika zonna 90 yalimaka wabweru ng'ali ku katebe. Oluvannyuma mu mwezi ogw'omukaaga, Mutumba yazannya omupiira gwe ogwaali gusooka ku ttiimu ya Uganda ey'eggwanga webaali bagenze mu ggwanga lya Angola ng'enaku z'omwezi 3 muy mwezi ogw'omukaaga, mu mwaka gwa 2012 mu z'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu kikopo ky'ensi yonna oba kiyite World Cup eyali agenda okubeera e Brazil mu mwaka gwa 2014.

Ebibalo bye nga bw'azze akola gy'abadde azannyira

kyusa

Mu kiraabu

kyusa
Kiraabu Sizoni Liigi Ekikopo Mu bulaaya Omugatte
Ekibiinja Emirundi gy'abazannyidde Ggoolo Emirundu gy'azannye Ggoolo Emirundu gy'azannye Ggoolo Emirundi gy'abazannyidde Ggoolo
AIK 2002 Allsvenskan 1 0 0 0 0 0 1 0
2003 Allsvenskan 9 0 0 0 0 0 9 0
Omugate 10 0 0 0 0 0 10 0
FC Cafe Opera (ku bwazike) 2004 Superettan 0 0 0 0 0 0 0 0
FC Inter 2005 Veikkausliiga 16 2 0 0 0 0 16 2
2006 Veikkausliiga 17 1 0 0 0 0 17 1
2007 Veikkausliiga 25 4 0 0 0 0 25 4
Omugatte 58 7 0 0 0 0 58 7
Väsby United 2008 Superettan 29 4 0 0 0 0 29 4
AIK 2009 Allsvenskan 24 3 5 1 0 0 29 4
2010 Allsvenskan 13 0 1 0 0 0 14 0
Omugatte 37 7 6 1 0 0 43 4
Videoton FC 2010–11 Nemzeti Bajnokság I 3 0 0 0 0 0 3 0
AIK 2011 Allsvenskan 28 3 1 0 0 0 29 3
2012 Allsvenskan 25 2 1 0 9 0 35 2
Omugatte 53 5 2 0 9 0 64 5
Çaykur Rizespor 2014–15 Süper Lig 0 0 0 0 0 0 0 0
Rah Ahan 2014–15 Pro League 7 1 0 0 0 0 7 1
Brommapojkarna 2015 Superettan 11 0 0 0 11 0
Örgryte IS 2016 Superettan 7 2 1 0 0 0 8 2
2017 Superettan 15 2 0 0 0 0 15 2
Omugatte 22 4 1 0 0 0 23 4
Syrianska 2018 Division 1 Norra 17 3 0 0 0 0 17 3
Kiraabu zonna wamu omugatte 247 27 9 1 9 0 266 28

Kunsi

kyusa
Emirundi gy'azannye ne ggoolo z'ateebye ku ttiimu y'eggwanga n'emyaka[17]
Ttiimu y'eggwanga Omwaka Emirundi gy'azannye Ggoolo
Uganda 2012 2 0
2013 4 0
2014 1 0
Omugatte 7 0

By'awangude

kyusa

Mu kiraabu ya AIK

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20110718145618/http://www.privataaffarer.se/nyheter/Pressmeddelanden/pressmeddelande.xml?intPressReleaseID=86094
  2. Mutumba: "Jag trodde aldrig jag skulle spela igen"
  3. 3.0 3.1 {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.aftonbladet.se/sportbladet/fotbollsbladet/sverige/allsvenskan/aik/article4920185.ab
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.fotbollsverige.se/news_show_martin_mutumba_provspelar_for_deportivo.html?id=230711
  5. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221209214548/https://www.svenskafans.com/fotboll/aik/artikel.asp?id=205499
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.aftonbladet.se/sportbladet/fotboll/allsvenskan/aik/article4172339.ab
  7. Martin Kayongo-Mutumba återvänder till AIKTemplate:Dead link
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.thelocal.se/23008/20091101/
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.dn.se/sport/fotboll/mutumbas-aik-guld-2lax9-ny-trend/
  10. 10.0 10.1 {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.aftonbladet.se/sportbladet/fotboll/sverige/allsvenskan/aik/article7380809.ab
  11. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.aftonbladet.se/sportbladet/fotboll/sverige/allsvenskan/aik/article7388899.ab
  12. http://www.aftonbladet.se/sportbladet/fotbollsbladet/sverige/allsvenskan/aik/article4920185.abSvartskallar – Så funkar vi Template:Webarchive
  13. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20110721202149/http://www.frizon.info/index.aspx?page=artist&cat=M&id=1880
  14. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.aftonbladet.se/sportbladet/fotbollsbladet/sverige/allsvenskan/aik/article5832878.ab
  15. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20100820030025/http://www.aik.se/fotboll/aikindex.html?%2Ffotboll%2Fhistorik%2F500aikare%2Fmartmutu.html
  16. {{cite web}}: Empty citation (help)http://wwwc.aftonbladet.se/sport/9907/17/moses.html
  17. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.national-football-teams.com/player/47874/Martin_Kayongo_Mutumba.html