Martin Okoth Ochola yali muserikale wa poliisi mu Uganda. Ono weyannyukira obuweereza mu Poliisi ya Uganda nga ye 4 ogwokusatu 2024 ye yali ssaabadumizi w'ekitongole kya gavumenti kino ekivunaanyizibwa okukuuma obutebenkevu n'okukwasisa amateeka era nga obukulu buno yabuliko okuva nga 4 March 2018.[1] [2] Ochola okufuuka omuduumizi wa poliisi yadda mu bigere bya General Kale Kayihura . era nga mu biseera bya Kayihura ebyasembayo ng'omuduumizi wa Poliisi Ochola ye yali amumyuka oluvanyuma lw'okusikira Julius Odwee mu 2011.[3] [4]

Ensibuko n’obuyigirize

kyusa

Ochola yazaalibwa nga 19 Ogwomwenda 1958, ku kyalo Agumati, mu ggombolola Mulanda, e Budama mu Disitulikiti y’e Tororo . Yasomera mu Abweli Primary School, Rock View Primary School ne Kisoko Boys Primary School, eno gyeyava okwegatta ku ssomero lya Namilyango College, gye yamalira emisomo gya siniya. [5]

Ochola bweyava e Namilyango yegatta ku yunivasite y’e Makerere era natikkirwa diguli mu byamateeka (Bachelor of Laws) mu mwaka 1983 olwo nagenda ku Law Development Center okufuna obukugu obusobozesa munna mateeka okuwoza emisango mu kooti . [6]

Emirimu n'obuweereza

kyusa

Ochola oluvannyuma lwokumaliriza okusoma yakolako ng’omuyambi mu by’amateeka mu kampuni yabannamateeka eya Owori and company advocates e Mbale okumala emyezi nga ebiri. Oluvannyuma yafuna omulimu mu Kampala era nga yali akolera kitongole ekyali kiddukanya ekibuga ki Kampala City Council nga omuyambi ku nsonga zamateeka era omulimu guno yagukolera emyaka esatu[7]

ono oluvanyuma yeegatta ku Poliisi ya Uganda mu mwaka 1988 era oluvannyuma lwokumaliriza okutendekebwa yasindikibwa ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe nga avunaanyizibwa kubyokwerinda era bwatyo najja mpola nga alinnya amadaala mu poliisi era nga mu bimu ku bifo byeyalimu mulimu; okubeera omumyuka wa ssabadduumizi wa poliisi, akulira ekitongole ekyemirimu egyenkizo,okukulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzzi bw'emisango, omumyuka w'akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, yakolako mu ofiisi ya poliisi evunaanyizibwa ku byamateeka n'ebifo ebirala ebyenkizo.

Ebimujjukirwako

kyusa

Okot Ochola ajjukirwa olw'enkola ye eyemirimu etaalimu kwagala nnyo kubeera mu mawulire obutafaanana n'oyo gwe yaddira mu bigere. Mu biseera binji abamyuuka ba Ochola kubwa ssaabadduumizi ba Poliisi okwali Sabiiti Muzeyi, Gen.Paul Lokech, ne Tumisiime Katsigazi baalabikiranga nnyo mu mawulire okwogera ku nsonga ezikwata ku poliisi nga ye Ochola nga ssaabadduumizi tanyeze.[8]

Pulezidenti Yoweri Museveni okulonda Ochola era kwaggulawo essuula empya mu bukulembeze bwa Poliisi kuba ekitongole kino kyali kirudde nga obukulembeze bwakyo bumaamiddwa bannamagye okuva ku Gen Katumba Wamala ne Gen. Kale Kayihura eyamuddira mu bigere. Kino kyali bwekiti kuba Ochola ye yali mu poliisi omutendeke; okwawukana nebanne abaali bajjiddwa mu majje okujja okuduumira poliisi. Essuula eno yagenda mu maaso oluvannyuma lwa Ochola okuwummula kuba neyamusikira ku bukulu buno Abbas Byakagaba mu poliisi ataava mu maje ga Uganda.[9][10]

Ochola era ajjukirwa olw'okuggalawo mu butongole ekkomera lye Nalufenya mu kibuga Jinja. Ekkomera lino lyali lyegulidde erinnya mu biseera bya General Kayihura olw'ebyawulirwanga nti lyali lifuuse kifo kya kutulugunyizibwamu basibe abali batwalibwayo nga mubbo mwalimu bannabyabufuzi naddala ku ludda oluvuganya gavumenti, abateeberezebwa okuzza emisango nga abo abaali bavunaanibwa okutta Felix Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi ya Uganda nabalala ekikolwa kino kyawa Ochola obubonero naddala okuva mu balwanirizi b'eddembe[11][12].

Ochola era ajjukirwa ng'omuntu eyayagalanga okugoberera amateeka agafuga omulimu gwe. Kino kyeyoleka ku lunaku ekisanja kye nga ssabadduumizi lwe kyaggwaako bweyakomawo e Kampala okuwaayo ofiisi eri omumyuka we yadde nga yali afiiriddwa kitaawe nga tannaba na kuziikibwa. Mikwano gye gyategeeza nti teyayagala kunaanula kisanja kye yadde okuyisamu olunaku olumu yadde nga aba kukikola ssi yeyandibadde asoose kuba waliwo kko ekiseera nga ofiisi zabakungu mu poliisi ku madaala agawaggulu abazirimu bali wabweeru wamateeka.[13][14][15]

Ochola era ajjukirwa olw'ebigambo bye yayogera nti poliisi yali yakukuba bannamawulire bannamawulire 'okubazzaamu amagezi kulw'obulunji bwabwe' bino Ochola yabyogera nga ayanukula ku kwemulugunya kwabannamawulire abaali bagamba nti ab'ebyokwerinda baali basusse okubakolako obulumbaganyi nga bakola emirimu gyabwe mu kiseera kyakalulu ka 2021. Ebigambo bino bannamawulire tebyabasanyusa era nebazirako n'enkungaana za Poliisi wabula oluvannyuma embeera yadda mu nteeko.[16][17]

Laba ne;

kyusa

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/ochola-bids-farewell-as-he-retires-4545784
  2. Wasswa, Sam (4 March 2018). "Uganda Reacts to Kayihura, Tumukunde Exit". Kampala: Chimp Reports Uganda. Retrieved 5 March 2018.
  3. https://www.independent.co.ug/end-of-an-era-igp-martin-okoth-ocholas-legacy-and-the-road-ahead/
  4. Monitor Reporter (4 March 2018). "Museveni fires Kayihura, Tumukunde". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 5 March 2018.
  5. https://hicginewsagency.com/2024/03/06/martin-okoth-ochola-a-journey-through-the-ranks-of-ugandas-police-force/
  6. https://charmarnews.com/what-you-didnt-know-about-former-igp-ochola/
  7. https://charmarnews.com/what-you-didnt-know-about-former-igp-ochola/
  8. https://www.independent.co.ug/end-of-an-era-igp-martin-okoth-ocholas-legacy-and-the-road-ahead/
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-names-byakagaba-new-igp-4626432
  10. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/ochola-s-long-walk-to-become-igp-1743542
  11. https://www.hrw.org/news/2018/04/12/closing-nalufenya-will-not-end-torture-uganda
  12. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/why-igp-ochola-closed-nalufenya-1753222
  13. https://chimpreports.com/lawyers-want-senior-police-officers-with-expired-contracts-to-leave-office/
  14. https://spyreports.co.ug/igp-ochola-secretly-hands-over-office
  15. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-eulogises-former-igp-father-as-great-leader-4553644
  16. https://www.thecitizen.co.tz/tanzania/news/africa/-police-will-continue-beating-you-for-your-own-safety-uganda-s-igp-tell-journalists-3251298
  17. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/police-will-beat-you-for-own-safety-igp-ochola-tells-journalists-3251102